1 Bassekabaka

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22


Chapter 1

1 Awo kabaka Dawudi yali mukadde era ng'akootakoota; ne bamubikkako ebyambalo, naye n'atafuna lubugumu.
2 Abaddu be kyebaava bamugamba nti Banoonyeze mukama wange kabaka omuwala omuto atamanyi musajja: ayimirirenga mu maaso ga kabaka, amuweereze; era agalamirenga mu kifuba kyo, mukama wange kabaka afune olubugumu.
3 Awo ne banoonya omuwala omulungi okubuna ensalo zonna eza Isiraeri, ne balaba Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka.
4 Awo omuwala yali mulungi nnyo; n'aweerezanga kabaka n'amujjanjabanga; naye kabaka n'atamumanya.
5 Awo Adoniya mutabani wa Kaggisi ne yeegulumiza ng'ayogera nti Nze ndiba kabaka: ne yeetegekera amagaali n'abeebagala embalaasi, n'abasajja ataano okuddukiranga mu maaso ge.
6 So kitaawe yali tamunyiizanga n'akatono ng'ayogera nti Kiki ekikukozezza bw'otyo? era yali musajja mulungi nnyo; era ye yaddanga ku Abusaalomu.
7 N'ateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ne Abiyasaali kabona: abo ne bamugoberera; Adoniya ne bamuyamba.
8 Naye Zadooki kabona ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ne Nasani nnabbi ne Simeeyi ne Leeyi n'abasajja ab'amaanyi aba Dawudi tebaali ne Adoniya.
9 Adoniya n'attira endiga n'ente n'ebya ssava awali ejjinja Zokeresi eririraanye e Enerogeri: n'ayita baganda be bonna abaana ba kabaka, n'abasajja ba Yuda bonna abaddu ba kabaka:
10 naye Nasani nnabbi ne Benaya n'abasajja ab'amaanyi ne Sulemaani muganda we n'atabayita.
11 Awo Nasani n'agamba Basuseba nnyina Sulemaani ng'ayogera nti Towulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi alidde obwakabaka, Dawudi mukama waffe nga takimanyi?
12 Kale nno jjangu, nkwegayiridde, nkuwe amagezi, owonye obulamu bwo ggwe n'obulamu bwa mutabani wo Sulemaani.
13 Genda oyingire eri kabaka Dawudi, omugambe nti Mukama wange, ai kabaka, tewalayirira muzaana wo nti Sulemaani mutabani wo talirema kulya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange? kale kiki ekimuliisizza obwakabaka Adoniya?
14 Awo, laba, bw'onooba ng'okyayogera eyo ne kabaka, nange naayingira oluvannyuma lwo, ne nnyweza ebigambo byo.
15 Awo Basuseba n'ayingira eri kabaka mu kisenge: era kabaka yali mukadde nnyo; ne Abisaagi Omusunammu yaweerezanga kabaka.
16 Awo Basuseba n'akutama n'avuunamira kabaka. Kabaka n'ayogera nti Oyagala ki?
17 N'amugamba nti Mukama wange, walayira Mukama Katonda wo eri omuzaana wo nti Sulemaani mutabani wo ye alirya obwakabaka: oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange.
18 Kale nno, laba, Adoniya yalidde obwakabaka; naawe, mukama wange kabaka, tokimanyi:
19 era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu omukulu w'eggye: naye Sulemaani omuddu wo tamuyise.
20 Naawe, mukama wange kabaka, amaaso ga Isiraeri yenna gali ku ggwe obabuulire alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka oluvannyuma lwe:
21 Bw'otookole bw'otyo, awo olulituuka, mukama wange kabaka bw'alyebakira awamu ne bajjajjaabe, nze ne mutabani wange Sulemaani tuliyitibwa aboonoonyi.
22 Kale, laba, bwe yali akyayogera ne kabaka, Nasani nnabbi n'ayingira.
23 Ne babuulira kabaka nti Laba, Nasani nnabbi. Awo bwe yayingira mu maaso ga kabaka, n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.
24 Nasani n'ayogera nti Mukama wange, ai kabaka, wayogera nti Adoniya ye alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange?
25 Kubanga aserengese leero, era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n'abakulu b'eggye ne Abisaayi kabona; era, laba, balya era banywera mu maaso ge, nga boogera nti kabaka Adoniya abeere omulamu.
26 Naye nze, nze omuddu wo, ne Zadooki kabona ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'omuddu wo Sulemaani tatuyise.
27 Ekigambo ekyo kikoleddwa mukama wange kabaka, n'ototegeeza baddu bo alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka oluvannyuma lwe?
28 Awo kabaka Dawudi n'addamu n'agamba nti Mpitira Basuseba. N'ajja awali kabaka n'ayimirira mu maaso ga kabaka.
29 Kabaka n'alayira n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyanunula emmeeme yange okugiggya mu kabi konna,
30 mazima nga bwe nnakulayirira Mukama, Katonda wa Isiraeri, nga njogera nti Sulemaani mutabani wo ye alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange mu kifo kyange; mazima bwe ntyo bwe nnaakola leero.
31 Awo Basuseba n'avuunama amaaso ge, ne yeeyanza kabaka, n'ayogera nti Mukama wange kabaka Dawudi abeere omulamu ennaku zonna.
32 Kabaka Dawudi n'ayogera nti Mpitira Zadooki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada. Ne bajja mu maaso ga kabaka.
33 Kabaka n'abagamba nti Mutwale wamu nammwe abaddu ba mukama wammwe, mwebagaze Sulemaani mutabani wange ennyumbu yange nze, mumuserengese e Gikoni:
34 kale Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukireko eyo amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: mufuuwe ekkondeere mwogere nti Kabaka Sulemaani abeere omulamu.
35 Ne mulyoka mwambuka nga mumugoberera, naye anajja n'atuula ku ntebe yange; kubanga ye anaaba kabaka mu kifo kyange: era mmutaddewo okuba omukulu wa Isirarei ne Yuda.
36 Benaya mutabani wa Yekoyaada n'addamu kabaka n'ayogera nti Amiina: Mukama, Katonda wa mukama wange kabaka, ayogere bw'atyo.
37 Nga Mukama bwe yabanga ne mukama wange kabaka, era abeerenga ne Sulemaani, afuule entebe ye enkulu okusinga entebe ya mukama wange kabaka Dawudi.
38 Awo Zadooki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi ne baserengeta ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya kabaka Dawudi, ne bamuleeta e Gikoni.
39 Awo Zadooki kabona n'aggya ejjembe ery'amafuta mu Weema, n'afuka amafuta ku Sulemaani. Ne bafuuwa ekkondeere; abantu bonna ne boogera nti Kabaka Sulemaani abeere omulamu.
40 Abantu bonna ne bambuka okumugoberera, abantu ne bafuuwa endere, ne basanyuka essanyu lingi, ettaka n'okwatika ne lyatika olw'oluyoogaano lwabwe.
41 Adoniya n'abagenyi bonna abaali naye ne baluwulira bwe baali nga bamala okulya. Awo Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly'ekkondeere, n'ayogera nn Eddoboozi lino ekibuga nga kiyoogaana lya ki?
42 Bwe yali ng'akyayogera, laba, Yonasaani mutabani wa Abyasaali kabona n'ajja: Adoniya n'ayogera nti Yingira; kubanga oli musajja mulungi, era oleese ebigambo ebirungi.
43 Yonasaani n'addamu n'agamba Adoniya nti Mazima mukama waffe kabaka Dawudi afudde Sulemaani kabaka:
44 era kabaka atumye naye Zadooki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi, era bamwebagazizza ennyumbu ya kabaka:
45 era Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni: era bambuse okuvaayo nga basanyuka n'okuwuuma ekibuga ne kiwuumira ddala. Eryo lye ddoboozi lye muwulidde.
46 Era Sulemaani atudde ku ntebe y'obwakabaka.
47 Era nate abaddu ba kabaka bazze okusabira mukama waffe kabaka Dawudi nga boogera nti Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani eddungi okusinga erinnya lyo, era afuule entebe ye enkulu okusinga entebe yo: kabaka n'akutamira ku kitanda kye.
48 Era bw'ati kabaka bw'ayogedde nti Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, awadde leero ow'okutuula ku ntebe yange, amaaso gange nga gakiraba n'okulaba.
49 Awo abagenyi ba Adoniya bonna ne batya, ne bagolokoka, ne bagenda buli muntu ewuwe.
50 Adoniya n'atekemuka olwa Sulemaani; n'agolokoka n'agenda n'akwata ku mayembe g'ekyoto.
51 Ne babuulira Sulemaani nti Laba, Adoniya atekemukidde kabaka Sulemaani: kubanga, laba, akutte ku mayembe g'ekyoto, ng'ayogera nti Kabaka Sulemaani andayirire leero nga tajja kutta muddu we n'ekitala.
52 Sulemaani n'ayogera nti Bw'alyeraga okuba omusajja omulungi, tewaliba luviiri lwe oluligwa wansi: naye obubi bwe bulirabika ku ye, alifa.
53 Awo kabaka Sulemaani n'atuma, ne bamuserengesa okuva ku kyoto. N'ajja n'avuunamira kabaka Sulemaani: Sulemaani n'amugamba nti Genda ewuwo.