Chapter 10
1 Awo kabaka omukazi w’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani olw'erinnya lya Mukama, n'ajja okumukema n'ebibuuzibwa ebizibu.
2 N'ajja e Yerusaalemi ng'alina abaddu bangi nnyo n'eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'ezaabu nnyingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi; awo bwe yajja eri Sulemaani, n'ateesa naye ebyo byonna ebyali mu mutima gwe.
3 Awo Sulemaani n'amutegeeza byonna bye yamubuuza: tewaali kintu ekyakwekebwa kabaka ky'ataamutegeeza.
4 Awo kabaka omukazi w'e Seeba bwe yamala okulaba amagezi gonna aga Sulemaani n'ennyumba gye yazimba,
5 n'emmere ey'oku mmeeza ye n'okutuula kw'abaddu be n'okuweereza kw'abaweereza be n'ebyambalo byabwe n'abasenero be n'olutindo lwe lwe yalinnyirangako okugenda mu nnyumba ya Mukama; kale nga temukyasigadde mwoyo mu ye.
6 N'agamba kabaka nti Ekigambo kye nnawulirira mu nsi yange kyali kya mazima eky'ebikolwa byo n'amagezi go.
7 Era naye sakkiriza bigambo ebyo okutuusa lwe najja amaaso gange ne gakiraba: era, laba, saabuulirwa kitundu: amagezi go n'omukisa gwo bisinga ettutumo lye nnawulira.
8 Abasajja bo balina omukisa, abaddu bo bano balina omukisa, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira amagezi go.
9 Mukama Katonda wo yeebazibwe akusanyukira okukuteeka ku ntebe ya Isiraeri: kubanga Mukama yayagala Isiraeri emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka okukola eby'ensonga n'eby'obutuukirivu.
10 Awo n'awa kabaka zaabu talanta kikumi mu abiri, n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: tewajja lwa kubiri bya kaloosa bingi ebyenkanidde awo ng'ebyo kabaka omukazi w'e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani.
11 Era n'empingu ya Kiramu eyaleeta zaabu okuva e Ofiri, n'eggya e Ofiri emitoogo mingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi.
12 Kabaka n'afuula emitoogo empagi z'ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka, n'ennanga n'entongooli z'abayimbi: tewajja mitoogo egifaanana bwe gityo so tegyalabika ne leero.
13 Awo kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, buli kye yasaba kyonna, obutassaako ebyo Sulemaani bye yamuwa olw'ekisa kye ekya kabaka. Awo n'akyuka n'addayo mu nsi ye ye, ye n'abaddu be.
14 Era ezaabu eyajja eri Sulemaani mu mwaka ogumu obuzito bwayo bwali talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,
15 obutassaako eyo abasuubuzi gye baaleetanga n'abatunzi gye baatundanga ne bakabaka bonna ab'eggwanga ettabule n'abakulu b'ensi.
16 Era kabaka Sulemaani n'aweesa obugabo bikumi bibiri bwa zaabu mpeese: buli kagabo n'akawaako sekeri za zaabu lukaaga.
17 N'akola engabo ebikumi bisatu bya zaabu mpeese; buli ngabo n'agiwaako laateri ssatu: kabaka n'azitereka mu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni.
18 Era kabaka n'akola entebe ey'obwakabaka ennene ya masanga n'agibikkako zaabu nnungi nnyo nnyini.
19 Entebe yaliko amadaala mukaaga, era entebe waggulu waayo yali nneekulunguivu ennyuma; era yaliko emikono eruuyi n'eruuyi awatuulibwa, n'empologoma bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g'emikono.
20 N'empologoma kkumi na bbiri zaayimirira eruuyi n'eruuyi ku madaala omukaaga tewaali eyakolebwa mu bwakabaka bwonna okugifaanana.
21 Era ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu nnongoofu: tewaali bya ffeeza; teyalowoozebwa nga kintu ku mirembe gya Sulemaani;
22 Kubanga kabaka yalina ku nnyanja empingu eya malikebu ey'e Talusiisi wamu n'empingu ya Kiramu; empingu ey'e Talusiisi yajjanga mulundi gumu buli myaka esatu ng'ereeta zaabu n'effeeza, amasanga n'enkobe ne bamuzinge.
23 Awo kabaka Sulemaani n'asinga bakabaka bonna ab'ensi obugagga n'amagezi.
24 Ensi yonna ne banoonya amaaso ga Sulemaani okuwulira amagezi ge, Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.
25 Ne baleeta buli muntu ekirabo kye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebyambalo n'ebyokulwanyisa n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu, ebyasalibwa ebya buli mwaka.
26 Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abasajja abeebagala embalaasi; era yalina amagaali lukumi mu ebikumi bina n'abasajja abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri be yateeka mu bibuga eby'amagaali n'awaali kabaka e Yerusaalemi.
27 Kabaka n'afuula ffeeza okuba ng'amayinja mu Yerusaalemi, n'emivule n'agifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu biwonvu olw'obungi.
28 N'embalaasi Sulemaani ze yalina zaggibwa mu Misiri: n'abasuubuzi ba kabaka ne baziweebwanga bisibo, buli kisibo n'omuwendo gwakyo.
29 Era eggaali lyalinnyanga nga liva mu Misiri nga lijjirira sekeri lukaaga eza ffeeza, n'embalaasi ng'ejjirira kikumi mu ataano; era bakabaka bonna ab'Abakiiti bwe batyo ne bakabaka ab'e Busuuli, baaziggyangamu mu mukono gwabwe.