Chapter 19
1 Awo Akabu n'abuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola era bwe yatta bannabbi bonna n'ekitala.
2 Awo Yezeberi n'atumira Eriya omubaka ng'ayogera nti Bakatonda bankole bwe batyo n'okukirawo, bwe sirifuula obulamu bwo okuba ng'obulamu bw'omu ku bo enkya bwe buliba nga kampegaano.
3 Awo bwe yalaba ekyo n'agolokoka n'agenda olw'obulamu bwe, n'ajja e Beeruseba ekya Yuda, n'alekayo omuddu we.
4 Naye ye yennyini n'atambula olugendo olw'olunaku lumu mu ddungu, n'ajja n'atuula wansi w'omwoloola: ne yeesabira okufa; n'ayogera nti Kinaamala; kaakano, ai Mukama, nziyaako obulamu bwange; kubanga sisinga bajjajjange obulungi.
5 N'agalamira ne yeebaka wansi w'omwoloola; kale, laba malayika n'amukomako, n'amugamba nti Golokoka olye.
6 N'atunula, kale, laba, omugaati nga guli awali omutwe gwe ogwokeddwa ku manda n'akasumbi ak'amazzi. N'alya n'anywa n'agalamira nate.
7 Malayika wa Mukama n'ajja nate omulundi ogw'okubiri n'amukomako n'ayogera nti Golokoka olye; kubanga olugendo lukuyinze obunene.
8 N'agolokoka n'alya n'anywa, n'atambula mu maanyi ag'emmere eyo ennaku amakumi ana emisana n'ekiro n'atuuka e Kolebu olusozi lwa Katonda.
9 N'atuukayo n'ayingira mu mpuku, n'asula omwo; kale, laba, ekigambo kya Mukama ne kimujjira, n'amugamba nti Okola ki wano, Eriya?
10 N'ayogera nti Nkwatiddwa obuggya bungi ku lwa Mukama Katonda ow'eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo, basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n'ekitala: nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n'obulamu bwange babunoonya okubuggyawo.
11 N'ayogera nti Fuluma oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama. Kale, laba, Mukama n'ayitawo, embuyaga nnyingi ez'amaanyi ne zimenya ensozi ne zaasa enjazi mu maaso ga Mukama; naye Mukama nga tali mu mbuyaga: awo oluvannyuma lw'embuyaga kikankano kya nsi; naye Mukama nga tali mu kikankano ky'ensi:
12 awo oluvannyuma lw'ekikankano muliro; naye Mukama nga tali mu muliro: awo oluvannyuma lw'omuliro ddoboozi ttono lya ggonjebwa.
13 Awo olwatuuka Eriya bwe yaliwulira, ne yeebikka amaaso ge mu munagiro, n'afuluma n'ayimirira mu mulyango gw'empuku. Kale, laba, ne wamujjira eddoboozi, ne lyogera nti Okola ki wano, Eriya?
14 N'ayogera nti Nkwatiddwa obuggya bungi ku lwa Mukama Katonda ow'eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo; basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n'ekitala; nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n'obulamu bwange babunoonya okubuggyawo.
15 Awo Mukama n'amugamba nti Genda oddeyo mu kkubo lyo eri eddungu ery'e Ddamasiko: kale bw'olituuka ofukanga amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w'e Busuuli:
16 ne Yeeku mutabani wa Nimusi omufukangako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: ne Erisa mutabani wa Safati ow'e Aberumekola omufukangako amafuta okuba nnabbi mu kifo kyo.
17 Awo olulituuka oyo anaawonanga ekitala kya Kazayeeri Yeeku anamuttanga: n'oyo anaawonanga ekitala kya Yeeku Erisa anaamuttanga.
18 Era naye ndyesigaliza akasanvu mu Isiraeri amaviivi gonna agatafukaamiriranga Baali na buli kamwa akatamunywegeranga.
19 Awo n'avaayo n'asanga Erisa mutabani wa Safati eyali ng'alima ng'alina mu maaso ge emigogo gy'ente kkumi n'ebiri, ye ng'alina ogw'ekkumi n'ebiri: awo Eriya n'asomoka okugenda gy'ali n'amusuulako omunagiro gwe.
20 Awo n'aleka ente, n'adduka mbiro okugoberera Eriya, n'ayogera nti Nkwegayiridde, ka mmale okunywegera kitange ne mmange, ndyoke nkugoberere. N'amugamba nti Ddayo; kubanga nkukoze ki?
21 N'addayo n'atamugoberera n'addira omugogo gw'ente n'azitta, n'afumba ennyama yaazo n'ebintu eby'ente, n'agabira abantu ne balya. Awo n'agolokoka n'agoberera Eriya n'amuweereza.