Chapter 4
1 Awo kabaka Sulemaani n'aba kabaka wa Isiraeri yenna.
2 Era bano be bakulu be yalina; Azaliya nutabani wa Zadooki, kabona;
3 Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, abawandiisi; Yekosafaati mutabani wa Akirudi, omujjukiza;
4 ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'eggye; ne Zadooki ne Abiyasaali be baali bakabona;
5 ne Azaliya mutabani wa Nasani ye yali omukulu w'abaami; ne Zabudi mutabani wa Nasani ye yali abona, mukwano gwa kabaka;
6 ne Akisaali ye yali saabakaaki; ne Adoniraamu mutabani wa Abuda ye yali omusolooza.
7 Era Sulenaani yalina abaami kkumi na babiri abaakulira Isiraeri yenna, abaalabiranga kabaka n'ab'omu nnyumba ye ebyokulya: buli muntu kyamugwanira okusolooleza omwezi gumu buli mwaka.
8 Ne gano ge mannya gaabwe: Benikuli, mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu:
9 Benidekeri, mu Makazi, ne mu Saalubinu ne mu Besusemesi ne mu Eronubesukanani:
10 Benikesedi, mu Alubbosi; Soko kyali kikye, n'ensi onna ey'e Kefera:
11 Beniyabiyadabu, mu kifo kyonna ekigulunivu eky'e Doli; ye yafumbirwa Tafasi muwala wa Sulemaani:
12 Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, n'e Besuseyani ekiri ku mabbali g'e Zalesani, wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola, okuyita ku Yokumeyamu:
13 Benigeberi, mu Lamosugireyaadi; ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase ebiri mu Gireyaadi byali bibye; essaza Alugobu eriri mu Basani lyali lirye, ebibuga ebinene nkaaga ebyalina bbugwe n'ebisiba eby'ebikomo:
14 Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu:
15 Akimaazi, mu Nafutaali; naye yafumbirwa Basemasi muwala wa Sulemaani:
16 Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi:
17 Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali:
18 Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini:
19 Geberi mutabani wa Uli, mu nsi ya Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w'Abamoli ne Ogi kabaka w'e Basani; naye yali omwami yekka eyali mu nsi.
20 Yuda ne Isiraeri baali bangi, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi, nga balya era nga banywa era nga basanyuka.
21 Awo Sulemaani n'afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga okutuuka ku nsi ey'Abafirisuuti, n'okutuuka ku nsalo ey'e Misiri: baaleetanga ebirabo, ne baweereza Sulemaani ennaku zonna ez'obulamu bwe.
22 Awo eby'oku lunaku olumu bye baasoloolezanga Sulemaani byali ebigero eby'obutta obulungi amakumi asatu, n'ebigero eby'obutta nkaaga;
23 ente eza ssava kkumi, n'ente ezaava mu ddundiro amakumi abiri, n'endiga kikumi, obutassaako njaza na mpeewo na nnangaazi na nkoko ze baasavuwazanga.
24 Kubanga yafuganga ensi yonna eri emitala w'eno w'Omugga, okuva e Tifusa okutuuka e Gaaza, ng'afuga bakabaka bonna abaali emitala w'eno w'Omugga: era yalina emirembe enjuyi zonna okumwetooloola.
25 Yuda ne Isiraeri yenna ne batuula mirembe, buli muntu wansi w'omuzabbibu gwe n'omutiini gwe, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, emirembe gyonna egya Sulemaani.
26 Era Sulemaani yalina ebisibo by'embalaasi obukumi buna olw'amagaali ge; n'abasajja abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri.
27 Abaami abo ne balabiranga kabaka Sulemaani n'abo bonna abajja ku mmeeza ya kabaka Sulemaani ebyokulya, buli muntu mu mwezi gwe: tebaaganyanga kintu kyonna kubulawo.
28 Era baaleetanga ne sayiri n'essubi olw'embalaasi n'ensolo ez'embiro mu kifo abaami gye bali, buli muntu ng'omulimu bwe gwali gwe yalagirwa.
29 Katonda n'awa Sulemaani amagezi n'okutegeera kungi nnyo, n'omwoyo omukulu, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja.
30 Amagezi ga Sulemaani ne gakira amagezi gonna ag'abaana b'ebuvanjuba, n'amagezi gonna ag'e Misiri.
31 Kubanga yakira abantu bonna amagezi; yakira Esani Omwezulaki ne Kemani ne Kalukoli ne Daluda, batabani ba Makoli: erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde.
32 N'ayogera engero enkumi ssatu: n'ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano.
33 N'ayogera ku miti, okuva ku muvule oguli ku Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe: yayogera ne ku nsolo n'ennyonyi n'ebyewalula n'ebyennyanja.
34 Awo ne wajja ku mawanga gonna okuwulira amagezi ga Sulemaani, nga bava eri bakabaka bonna ab'ensi, abaali bawulidde ku magezi ge.