Essuula 20
1 Ibulayimu n'ava eyo n'atambula okugenda mu nsi ey'obukiika obwa ddyo, n'atuula wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n'abeera mu Gerali.
2 Ibulayimu n'ayogera ku Saala mukazi we nti Ye mwanayinaze: ne Abimereki kabaka w'e Gerali n'atuma, n'atwala Saala.
3 Naye Katonda n'ajjira Abimereki mu kirooto eky'ekiro, n'amugamba nti Laba, ggwe oli mufu bufu, olw'omukazi gwe watwala; kubanga alina bba.
4 Era Abimereki yali nga tannamusemberera: n'ayogera nti Mukama, olitta eggwanga newakubadde nga ttuukirivu?
5 Teyaŋŋamba ye yennyini nti Ye mwannyinaze? naye omukazi, omukazi yennyini n'ayogera nti Ye mwannyinaze: nga nnina omutima omutuukirivu n'engalo ezitaliiko kabi bwe nnakola ekyo.
6 Katonda n'amugamba mu kirooto nti Weewaawo, mmanyi nga wakola ekyo ng'olina omutima omutuukirivu, era nange ne nkuziyiza okunnyonoona: kyennava nnema okukuganya okumukwatako.
7 Kale nno zzaayo mukazi w'omusajja; kubanga ye nnabbi, naye alikusabira, naawe oliba mulamu: era bw'otoomuzzeeyo, tegeera nga tolirema kufa, ggwe, n'ababo bonna.
8 Abimereki n'agolokoka enkya mu makya, n'ayita abaddu be bonna, n'abuulira ebyo byonna mu matu gaabwe: abasajja tre batya nayo.
9 Abimereki n’alyoka ayita Ibulayimu, n'amugamba nti Onkoze ki? nange nnakwonoona ntya, ggwe okundeetera nze n'obwakabaka bwange okwonoona okunene? Onkoze ebikolwa ebitagwana kukola.
10 Abimereki n'agamba Ibulayimu nti Walaba kiki, ekyakukoza ekyo?
11 Ibulayimu n'ayogera nti Kubanga nalowooza nti Mazima okutya Katonda tekuli mu kifo kino; nange balinzita olwa mukazi wange.
12 Era naye mazima ye mwanayinaze, mwana wa kitange, naye si mwana wa mmange; n'afuuka mukazi wange:
13 kale, Katonda bwe yantambuzatambuza okuva mu nnyumba ya kitange, ne ndyoka mmugamba nti Kino kye kisa kyo ky'ononjolesanga; mu buli kifo mwe tunaatuukanga, oyogeranga ku nze nti Ye mwannyinaze.
14 Ne Abimereki n'atwala endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, n'abiwa Ibulayimu, n'amuddiza Saala mukazi we.
15 Abimereki n'ayogera nti Ensi yange eri mu maaso go: tuula gy'onooyagala.
16 N'agamba Saala nti Laba, mpadde mwannyoko ebitundu lukumi ebya ffeeza: laba, ky'eky'okubikka ku maaso gy'oli eri abo bonna abali naawe; ne mu bigambo byonna ogattiddwa.
17 Ibulayimu n'asaba Katonda: Katonda n'awonya Abimereki, ne mukazi we, n'a bazaana be; ne bazaala abaana.
18 Kubanga Mukama yali asibidde ddala embuto zonna ez'omu nnyumba ya Abimereki, alwa Saala mukazi wa Ibulayimu.