Essuula 48
1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne bagamba Yusufu nti Laba, kitaawo alwadde: n'atwala naye abaana be abasajja bombi, Manase ne Efulayimu.
2 Ne bagamba Yakobo nti Laba, omwana wo Yusufu ajja gy'oli: Isiraeri ne yeekakaabiriza, n'atuula ku kitanda.
3 Yakobo n'agamba Yusufu nti Katonda Omuyinza w'ebintu byonna yandabikira e Luzi mu nsi ya Kanani, n'ampa omukisa,
4 n'aŋŋamba nti Laba, ndikwaza, ndikwongera, ndikufuula ekibiina ky'amawanga; era ndiwa ezzadde lyo eririddawo ensi eno okuba obutaka obw'emirembe n'emirembe.
5 Ne kaakano abaana bo abasajja bombi, abaakuzaalirwa mu nsi y'e Misiri nga sinnakujjira mu Misiri, bange; Efulayimu ne Manase banaabanga bange, nga Lewubeeni se Simyoni.
6 N'ezzadde lyo, ly'onoozaalanga oluvannyuma lw'abo, linaabanga liryo: banaatuumibwanga erinnya lya baganda baabwe mu busika bwabwe.
7 Nange, bwe nnava mu Padani, Laakeeri n'anfaako mu nsi ya Kanani mu kkubo, nga wakyaliyo ebbanga ddeneko okutuuka ku Efulasi: ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda e Efulasi (ye Besirekemu).
8 Isiraeri n'alaba abaana ba Yusufu, n'ayogera nti Bano be baani?
9 Yusufu n'agamba kitaawe nti Be baana bange Katonda be yampeera wano. N'ayogera nti Baleete, nkwegayiridde, nange naabasabira omukisa.
10 Era amaaso ga Isiraeri gaali gazibye olw'obukadde, n'okuyinza teyayinza kulaba. N'abamusembereza; n'abanywegera n'abawambaatira.
11 Isiraeri n'agamba Yusufu nti Nali sirowooza kulaba maaso go: era, laba, Katonda andabisizza n'ezzadde lyo.
12 Yusufu n'abaggya mu maviivi ge wakati; n'avuunama amaaso ge.
13 Yusufu n'abakwata bombi, Efulayimu n'omukono gwe ogwa ddyo awali omukono ogwa kkono ogwa Isiareri, ne Manase n'omukono gwe ogwa kkono awali omukono ogwa ddyo ogwa Isiraeri, n'abasembeza gy'ali.
14 Isiraeri n'agolola omukono gwe ogwa ddyo, n'agussa ku mutwe gwa Efulayimu, ye muto, n'omukono gwe ogwa kkono ku mutwe gwa Manase, ng'atereeza emikono gye ng'amanyi; kubanga Manase ye yali omubereberye.
15 Nasabira Yusufu omukisa n'ayogera nti Katonda wa bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka gwe baatambuliranga mu maaso ge, Katonda eyandiisanga ennaku zange zonna okutuusa leero,
16 malayika eyannunula mu bubi bwonna, awe omukisa abalenzi; n'erinnya lyange lituumibwenga ku bo, n'erinnya lya bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka; era bafuuke ekibiina ekinene wakati mu nsi.
17 Yusufu bwe yalaba nga kitaawe assizza omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efulayimu, n'anyiiga: n'asitula omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu okugussa ku mutwe gwa Manase.
18 Yusufu n'agamba kitaawe nti Nedda, kitange: kubanga oyo ye mubereberye; ssa omukono gwo ogwa ddyo ku mutwe gwe.
19 Kitaawe n'agaana n'ayogera nti Mmanyi, mwana wange, mmanyi: era naye alifuuka ggwanga, era naye aliba mukulu: naye omwana waabo ye alimusinga obukulu, n'ezzadde lye liriba mawanga mangi.
20 N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'ayogera nti Mu ggwe Isiraeri anaasabanga omukisa, ng'ayogera nti Katonda akufuule nga Efulayimu ne Manase: Efulayimu n'amusoosa Manase.
21 Isiraeri n'agamba Yusufu nti Laba, nfa: naye Katonda anaabanga wamu nammwe, alibazza nate mu nsi ya bajjajja bammwe.
22 Era nkuwadde ggwe omugabo gumu okusinga baganda bo, gwe nnaggya mu mukono gw'omu Amoli n'ekitala kyange n'omutego gwange.