Essuula 26
1 Ne wagwa enjala mu nsi, endala so si eyo ey'olubereberye eyagwa mu nnaku za Ibulayimu. Isaaka n'agenda eri Abimereki kabaka wa Abafirisuuti mu Gerali.
2 Mukama n'amulabikira, n'ayogera nti Toserengeta mu Misiri; tuula mu nsi gye nnakugambako:
3 beera mu nsi eno, nange naabeeranga wamu naawe, era naakuwanga omukisa; kubanga ggwe n'ezzadde lyo ndibawa mmwe ensi zino zonna, era naanywezanga ekirayiro kye nnalayirira Ibulayimu kitaawo;
4 era naayazanga ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, era ndiwa ezzadde lyo ensi zino zonna; ne mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa;
5 kubanga Ibulayimu yawuliranga eddoboozi lyange, ne yeekuumanga bye nnamukuutiranga, ebigambo byange, amateeka gange, n'ebiragiro byange.
6 Isaaka n'atuula mu Gerali:
7 abasajja baayo ne bamubuuza ku mukazi we; n'ayogera nti Ye mwannyinaze: kubanga yatya okwogera nti Mukazi wange; abasajja baawo baleme okunzita olwa Lebbeeka: kubanga yali mulungi okulaba.
8 Awo olwatuuka, bwe yali yaakamalayo ebiro bingi, Abimereki kabaka wa Abafirisuuti n'atunuulira mu ddirisa, n'alaba, era laba, Isaaka yali ng'azannya ne Lebbeeka mukazi we.
9 Abimereki n’ayita Isaaka n'amugamba nti Laba mazima ye mukazi wo: naawe wayogera otyo nti ye mwannyinaze? Isaaka n’amugamba nti Kubanga nali njogera nti Nneme okufa ku bubwe.
10 Abimereki n'ayogera nti Kino kiki ky'otukoze? omu ku bantu yaadisuze ne mukazi wo nga talowoozezza, naawe wandituleeseeko omusango.
11 Abimereki n'akuutira abantu bonna, ng'ayogera Buli anaakwatanga ku musajja oyo oba mukazi we talirema kuttibwa.
12 Isaaka n'asiga mu nsi eyo, n'afuna mu mwaka ogwo emirundi kikumi: Mukama n'amuwa omukisa.
13 Omusajja n'akula ne yeeyongerayongeranga okutuusa bwe yali omukulu ennyo:
14 era yaluna embuzi ze n'ente ze, n'abaddu baagi: n'akwasa Abafirisuuti obuggya.
15 Awo enzizi zonna abaddu ba kitaawe ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe, Abafirisuuti baali nga bazizibye era nga bazijjuzizza ettaka.
16 Abimereki n'agamba Isaaka nti genda tuveeko; kubanga otusinga nnyo amaanyi.
17 Isaaka n’avaayo, n'asimba eweema ze mu kiwonvu eky'e Gerali, n'atuula omwo.
18 Isaaka n'ayerula enzizi z'amazzi, ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe; kubanga Abafrrisuuti baaziziba Ibulayimu bwe yamala okufa: n'aziyita amannya gaazo ag'amannya bwe gaali kitaawe ge yazituuma.
19 Abaddu ba Isaaka ne basima mu kiwonvu, ne balaba omwo oluzzi Iw'amazzi amalamu.
20 N'abasumba ab'e Gerali ne bawakanya abasumba ba Isaaka, nga boogera nti' Amazzi gaffe: n'atuuma oluzzi erinnya lyalwo Eseki; kubanga baawakana naye.
21 Ne basima oluzzi olulala, era a'olwo ne baluwakaaira: n'alutuuma erinnya lyalwo Situna.
22 N'ajjulukuka okuvaayo, n'asima oluzzi olulala; n'olwo ne bataluwakanira; n'alutuuma erinnya lyalwo Lekobosi; n'ayogera nti Kubanga kaakano Mukama atugaziyizza, naffe tulyalira mu nsi.
23 N'avaayo n'aYambuka e Beeruseba.
24 Mukama n'amulabikira ekiro ekyo, n'ayogera nti Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo: totya, kubanga nze ndi wamu naawe era naakuwanga omukisa, era naayongeranga ezzadde lyo ku bw'omuddu wange Ibulayimu.
25 N'azimba ekyoto eyo, n'akoowoola erinnya lya Mukama, n'asimba eyo eweema ye: n'eyo abaddu ba Isaaka ne basimayo oluzzi.
26 Abimereki n'alyoka ava mu Gerali n’agenda gy'ali, ne Akuzasi mukwano gwe, ne Fikoli omukulu w'eggye lye.
27 Isaaka n'abagamba ati Kiki ekibaleese gye ndi, bwe muba nga munkyawa, era mwangoba gye muli?
28 Ne boogera nti Twalabira ddala nga Mukama ali naawe: ne twogera nti Wabeere nno ekirayiro gye tuli, wakati waffe naawe, era tulagaane endagaano naawe;
29 obutatukolerangako kabi, nga ffe bwe tutakukwatangako, era nga bwe tutakukoleranga kantu wabula ebirungi, era ne tukusindika n'emirembe; kaakano ggwe oyo Mukama gw'awa omukisa.
30 N'abafumbira embaga, ne balya ne banywa.
31 Ne bagolokoka enkya mu makya, ne balayiragana: Isaaka n'abasiibula, ne bamuvaako n'emirembe.
32 Awo olwatuuka ku lunaku olwo, abaddu ba Isaaka ne bajja, ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye, ne bamugamba ati Tulabye amazzi.
33 N'alutuuma Siba; erinnya ly'ekibuga kyeriva libeera Beeruseba ne leero.
34 Esawu bwe yali nga yaakamaze emyaka ana n'awasa Yudisi omwana wa Beeri Omukiiti, ne Basimansi omwana wa Eromi Omukiiti:
35 ne banakuwaza Isaaka ne Lebbeeka emmeeme zaabwe.