Essuula 21
1 Mukama n'ajjira Saala nga bwe yayogera, era Mukama n’akola Saala nga bwe yagamba.
2 Saala n'aba olubuto, n'azaalira Ibulayimu omwana ow'obulenzi ng'akaddiye, mu biro ebyo ebyateekebwawo Katonda bye yamugambako.
3 lbulayimu n'atuuma omwana we eyamuzaalirwa, Saala gwe yamuzaalira, erinnya lye Isaaka.
4 Ibulayimu n'akomola omwana we Isaaka nga yaakamaze ennaku munaana, nga Katonda bwe yamulagira.
5 Era Ibulayimu yali yaakamaze emyaka kikumi, omwana we Isaaka bwe yamuzaalirwa.
6 Katonda n'ayogera nti, Wabeewo abbanga wakati mu mazzi, lyawulenga amazzi n'amazzi.
7 N'ayogera nti Aluwa oyo eyandigambye Ibulayimu nga Saala aliyonsa abaana be? kubanga mmuzaalidde omwana ow'obulenzi ng'akaddiye.
8 Omwana n'akula, n'ava ku mabeere: Ibulayimu n'afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaviirako ku mabeere.
9 Saala n'alaba omwana wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu, ng'aduula.
10 Kyeyava agamba Ibulayimu nti Goba omuzaana ono n'omwana we: kubanga omwana w'omuzaana ono tajja kubeera musika wamu n'omwana wange, ye Isaaka.
11 N'ekigambo ekyo ne kiba kizibu nnyo mu maaso ga Ibulayimu olw'omwana we.
12 Katonda n'agamba Ibulayimu nti Kireme okuba ekizibu mu maaso go olw'omulenzi, n'olw'omuzaana wo; mu byonna Saala by'anaakubuuliranga, owuliranga eddoboozi lye; kubanga mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.
13 Era ne mu mwana w'omuzaana ndimuviisaamu eggwanga, kubanga ye lye zzadde lyo.
14 Ibulayimu n'agolokoka eakya mu makya, n'addira emmere n'ensawo ey'eddiba ey'amazzi, n'abiwa Agali, ng'abissa ku kibegabega kye, n'omwana, n'amusindika: n'agenda, n'atambuliratambulira mu ddungu ery'e Beeruseba;
15 N'amazzi ag'omu ddiba ne gaggwaamu, n’asazika omwana wansi w'ekisaka ekimu.
16 N'agenda, n'atuula wansi ng'amutunuulira walako, ug'ebbanga akasaale we kagwa: kubanga yayogera nti Nneme okulaba omwana ng'afa. N'atuula ng'amutunuulira, n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba. era n'emmunyeenye.
17 Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi; ne malayika wa Katonda n'ayita Agali ng'ayima mu ggulu, n’amugamba nti Obadde otya, Agali? totya; kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi w'ali.
18 Golokoka, oyimuse omulenzi, omukwate mu ngalo zo; kubanga ndimufuula eggwanga eddene.
19 Katonda n'azibula amaaso ge, n'alaba oluzzi lw'amazzi n'agenda, n'ajjuza eddiba amazzi, n'anywesa omulenzi.
20 Katonda n'aba wamu n'omulenzi, n'akula; n'atuulanga mu ddungu, n'afuuka omulasi w'obusaale.
21 N'atuulanga mu ddungu ery'e Palani: ne nnyina n'amuwasiza omukazi mu nsi y'e Misiri.
22 Awo mu biro ebyo Abimereki ne Fikoli omukulu w'eggye ne bagamba Ibulayimu nti Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola:
23 kale nno, ndayirira wano Katonda nga tonkuusekuusenga nze; newakubadde omwana wange, newakubadde omwana w'omwana wange: naye ng'ekisa bwe kiri kye nkukoze, naawe ononkolanga bw'otyo nze, n'ensi gye watuulamu.
24 Ibulayimu n'ayogera nti Nnaalayira.
25 Ibulayimu n'anenya Abimereki olw'oluzzi lw'amazzi abaddu ba Abimereki lwe baamuggyako olw'amaanyi.
26 Abimereki n'ayogera nti Simumanyi bw'ali eyakola bw'atyo; so tombuulirangako, so siwulirangako era, wabula leero.
27 Ibulayimu n'addira endiga n'ente, n'abiwa Abimereki, ne balagaana endagaano bombi.
28 Ibulayimu n'ateeka endiga enduusi musanvu ez'omu kisibo wamu zokka.
29 Abimereki n'agamba Ibulayimu nti Endiga ezo enduusi omusanw z'otadde awamu zokka amakulu gaazo ki?
30 N'ayogera nti Endiga ezo eaduusi omusanvu onooziweebwa mu mukono gwange, ekyo kibeere omujulirwa gye ndi, nga nze nnasima oluzzi olwo.
31 Kyeyava ayita ekifo ekyo Beeruseba; kubanga eyo gye baalayirira bombi.
32 Bwe batyo ne balagaanira endagaano mu Beeruseba: Abimereki n'agolokoka ne Fikoli omukulu w'eggye lye, ne baddayo mu nsi eya Abafirisuuti.
33 (Ibulayimu) n'asimba omumyulira mu Beeruseba, n'akoowoolera eyo erinaya lya Mukama, Katonda ataggwaawo.
34 Ibulayimu n'amala ennaku nnyiagi mu nsi eya Abafisuuti.