Essuula 34
1 Dina omwana wa Leeya, gwe yazaalira Yakobo, n'afuluma n'agenda okulaba abawala ab'omu nsi.
2 Sekemu omwana wa Kamoli Omukiivi, omukulu w'ensi, n'amulaba; n'amutwala, n'asula naye, n'amwata.
3 N’obulamu bwe ne bwegatta ne Dina omwana wa Yakobo, n’ayagala omuwala oyo, n’ayogera n’omuwala n’ekisa.
4 Sekemu n'agamba kitaawe Kamoli nti Mpasiza omuwala oyo.
5 Yakobo n'awulira nga yagwagwawaza Dina omwana we; n'abaana be baali n'ensolo ze mu ddundiro: Yakobo n'asirika okutuusa lwe badda.
6 Kamoli kitaawe wa Sekemu n'afuluma eri Yakobo okuteesa naye.
7 Abaana ba Yakobo ne bava mu ddundiro ne bayingira bwe baakiwulira: abasajja ne banakuwala, ne basunguwala nnyo, kubanga yali akoze eky'omuzizo mu Isiraeri bwe yasula n'omwana wa Yakobo; ekitagwanira kukola.
8 Kamoli n'ateesa nabo ng'ayogera nti Obulamu bw'omwana wange Sekemu bulumirwa omuwala wammwe: mbeegayirira mumumuwe okumuwasa.
9 Era mufumbiriganwenga naffe: mutuwenga ffe abawala bammwe, era muwasenga mmwe abawala baffe.
10 Era munaatuulanga wamu naffe: n'ensi eneebanga mu maaso gammwe; mutuulenga omwo mugulenga mwefunirenga ebintu omwo.
11 Sekemu n'agamba kitaawe ne baganda be nti Ndabe ekisa mu maaso gammwe, era kye munansalira kye nnaabawa.
12 Eby'obuko n'ekirabo bye munansaba bwe binenkana wonna, nange naabawa bwe ntyo nga bwe munaŋŋamba: naye mumpe omuwala okumuwasa.
13 Abaana ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne Kamoli kitaawe nga bakuusa ne boogera, kubanga yali agwagwawazizza Dina mwannyinaabwe,
14 ne babagamba nti Tetuyinza kukola kino, okumuwa mwannyinaffe atali mukomole; kubanga ekyo kyandibadde nsonyi gye tuli:
15 endagaano eno yokka ye ejja okubatukkirizisa: bwe munakkiriza okuba nga ffe, buli musajja mummwe okukomolebwanga;
16 ne tulyoka tubawanga abawala baffe, naffe tunaawasanga abawala bammwe, naffe tunaatuulanga wamu nammwe, era tulifuuka ggwanga limu.
17 Naye bwe mutaatuwulire, okukomolebwa; olwo tunaatwala omuwala waffe, ne tugenda.
18 Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamoli, ne Sekemu omwana wa Kamoli.
19 Omuvubuka n'atalwawo kukola ekyo, kubanga yasanyukira omuwala wa Yakobo: era yalina ekitiibwa okusinga ennyumba yonna eya kitaawe.
20 Kamoli ne Sekemu omwana we ne bajja mu wankaaki w'ekibuga kyabwe, ne bateesa n'abasajja ab'omu kibuga kyabwe, nga boogera
21 nti Abasajja abo tebaagala kulwana naffe; kale batuulenga mu nsi bagulenga omwo; kubanga, laba, ensi ngazi, eribamala; ffe tuwasenga abawala baabwe, era tubawenga bo abawala baffe,
22 Endagaano eno yokka ye ejja okubakkirizisa abasajja abo ffe okutuula nabo, okufuuka eggwanga erimu, buli musajja mu ffe bw'alikomolebwa, nga bo bwe bakomolebwa.
23 Ente zaabwe n'ebintu byabwe n'ensolo zaabwe zonna tebiriba byaffe? naye kyokka tubakkirize, nabo banaatuulanga naffe.
24 Ne Kamoli ne Sekemu omwana we bonna abaavanga mu wankaaki w'ekibuga kye ne babawulira; buli musajja n'akomolebwa, buli eyavanga mu wankaaki w'ekibuga.
25 Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, bwe baali nga balumwa, abaana ba Yakobo ababiri, Simyoni ne Leevi, bannyina Dina, ne baddira buli muntu ekitala kye, ne bazinduukiriza ekibuga, ne batta abasajja bonna.
26 Ne batta Kamoli ne Sekemu omwana we n'ekitata, ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu, ne bavaayo.
27 Abaana ba Yakobo ne babasanga nga babasse, ne banyaga ekibuga, kubanga baagwagwawaza mwannyinaabwe.
28 Baanyaga endiga zaabwe n'embuzi zaabwe n'endogoyi zaabwe, n'ebyo ebyali mu kibuga, n'ebyo ebyali mu nnimiro:
29 n'obugagga bwabwe bwonna, n'abaana baabwe bonna abato n'abakazi baabwe, ne babasiba ne babanyaga, byonna ddala ebyali mu mayumba.
30 Yakobo n'agamba Simyoni ne Leevi nti Munneeraliikirizza, okumpunyisa mu abo abatuula mu nsi, mu Bakanani ne mu Baperizi: nange, kubanga omuwendo gwange mutono, balikuŋŋaana bonna okunnumba, balinkuba: nange ndizikirizibwa, nze n'ennyumba yange.
31 Ne boogera nti Kirungi akole mwannyinaffe ng'omwenzi?