Essuula 28
1 Isaaka n'ayita Yakobo, n'amusabira omukisa, n'amukuutira, n'amugamba nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani.
2 Golokoka, ogende e Padanalaamu, eri ennyumba ya Bessweri kitaawe wa nnyoko; weewasize omukazi alivaayo ku bawala ba Labbaani mwannyina wa nnyoko.
3 Era Katonda Omuyinza w'ebintu byonna akwongerenga, ofuuke ekibiina ky'amawanga;
4 era akuwe omukisa gwa Ibulayimu, ggwe n'ezzadde lyo awamu naawe; osikire ensi gye watambuliramu, Katonda gye yawa Ibulayimu.
5 Isaaka n'asindika Yakobo: n'agenda e Padanalaamu eri Labbaani, omwana wa Bessweri Omusuuli, mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Yakobo ne Esawu.
6 Era Esawu n'alaba nga Isaaka yasabira Yakobo omukisa n'amusindika okugenda e Padanalaamu, okwewasizaayo omukazi; era bwe yamusabira omukisa n'amukuutira ng'ayogera nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani;
7 era nga Yakobo n'awulira kitaawe ne nnyina, era ng'agenze e Padanalaamu:
8 Esawu n'alaba ng'abawala ba Kanani tebaasanyusa Isaaka kitaawe;
9 Esawu n'agenda eri Isimaeri, n'awasa wamu n'abakazi be yalina Makalasi muwala wa Isimaeri omwana wa Ibulayimu, mwannyina Nebayoosi, okuba mukazi we.
10 Yakobo n'ava mu Beeruseba n'agenda eri Kalani.
11 N'atuuka mu kifo, n'asulawo n'akeesa obudde, kubanga enjuba yali egudde; n'atwala erimu ku mayinja ag'omu kifo, n'alyezizika wansi w'omutwe gwe, n'agalamira mu kifo ekyo okwebaka.
12 N'aloota ekirooto, era, laba, amadaala agaasimbibwa ku ttaka, n'entikko yaago ng'etuuse muggulu: era laba bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakka ku go.
13 Era, laba, Mukama ng'ayimiridde waggulu waago, n'ayogera nti Nze Mukama, Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka: ensi gy'ogalamiddeko, ndigikuwa ggwe n'ezzadde lyo;
14 n'ezzadde lyo linaabanga ng'enfuufu ey'oku nsi, era olibuna ebugwanjuba, n'ebuvanjuba, n'obukiika obwa kkono, n'obwa ddyo: ne mu ggwe ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.
15 Era, laba, nze ndi wamu naawe, era naakukuumanga gy'onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno; kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okukola bye nkugambyeko.
16 Yakobo n'azuukuka mu tulo, n'ayogera nti Mazima Mukama ali mu kifo kino; nange mbadde simanyi.
17 N'atya, n'ayogera nti Ekifo kino nga kya ntiisa (ekifo) kino ye nnyumba ya Katonda ddala mazima, era gwe mulyango gw'eggulu.
18 Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'addira ejjinja lye yeezizise wansi w'omutwe gwe, n'alisimba okuba empagi, n'alifukako amafuta ku ntikko yaalyo.
19 N'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Beseri naye erinnya ly'ekibuga olubereberye lyali Luzi.
20 Yakobo ne yeeyama obweyamo, ng'ayogera nti Katonda bw'anaabanga awamu nange era bw'anankuumiranga mu kkubo lino lye ŋŋendamu, era bw'anampanga emmere ey'okulya, n'engoye ez'okwambala,
21 n'okudda ne nzira mu nnyumba ya kitange n'emirembe, Mukama n'alyoka abeera Katonda wange,
22 n'ejjinja lino, lye nsimbye okuba empagi, liriba ennyumba ya Katonda: era ku byonna by'onompanga siiremenga kukuwa ggwe ekitundu eky'ekkumi.