Essuula 6
1 Awo abantu bwe baasooka okweyongera ku nsi, ne bazaala abaana ab'obuwala,
2 abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda.
3 Mukama n'ayogera nti Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n'emirembe, kubanga naye gwe mubiri: naye ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.
4 Mu biro ebyo waaliwo Abanefuli mu nsi, era oluvannyuma, abaana ba Katonda bwe baayingiranga eri abawala b'abantu, ne babazaalira abaana: bano be b'amaanyi abaasooka edda, abantu abaayatiikirira.
5 Mukama n'alaba obubi bw'omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo.
6 Mukama ne yejjusa kubanga yakola omuntu mu nsi, n'anakuwala mu mutima gwe.
7 Mukama n’ayogera nti Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi; okusookera ku muntu, n'ensolo, n'eky'ewalula n'ekibuuka waggulu; kubanga nejjusizza kubanga nabikola.
8 Naye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama.
9 Kuno kwe kuzaala kwa Nuuwa. Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye: Nuuwa n'atambulira wamu ne Katonda.
10 Nuuwa n'azaala abaana basatu, Seemu, Kaamu, ne Yafeesi.
11 Ensi n'eyonooneka mu maaso ga Katonda, ensi n'ejjula eddalu.
12 Katonda n'alaba ensi, ng'eyonoonese; kubanga ekirina omubiri kyonna kyali nga kimaze okwonoona ekkubo lyakyo ku nsi.
13 Katonda n'agamba Nuuwa nti Enkomerero ya buli ekirina omubiri etuuse mu maaso gange, kubanga ensi ejjudde eddalu ku lwabwe; kale, laba, ndibazikiriza wamu n'ensi.
14 Weekolere eryato n'omuti goferi; osalangamu ennyumba mu lyato, osiige munda ne kungulu envumbo.
15 Bw'otyo bw'okolanga: emikono ebikumi bisatu obuwanvu bw'eryato, n'emikono ataano obugazi bwalyo, n'emikono asatu obugulumivu bwalyo.
16 Osalangako ekituli ku lyato, era ng'omukono gumu bw'olimala waggulu; n'omulyango gw'eryato oguteekanga mu mbiriizi zaalyo okolanga eryato nga lirina ennyumba eya wansi, n'ey'okubiri, n'ey'okusatu.
17 Nange, laba, nze ndireeta amataba ag'amazzi ku nsi, okuzikiriza ekirina omubiri kyonna ekirimu omukka ogw'obulamu wansi w'eggulu; buli ekiri mu nsi kirifa.
18 Naye ndiragaana endagaano yange naawe; oliyingira mu lyato, ggwe n'abaana bo, ne mukazi wo, n'abakazi b'abaana bo wamu naawe.
19 Ne mu buli kiramu mu birina omubiri byonna, bibiri bibiri mu buli ngeri by'olireeta mu lyato, biryoke bibeere ebiramu awamu naawe; biriba ekisajja n'ekikazi.
20 Mu bibuuka mu ngeri yaabyo, mu nte mu ngeri yaazo, mu buli ekyewalula eky'omu nsi mu ngeri yaakyo, mu buli ngeri bibiri bibiri birijja gy'oli, bibe ebiramu.
21 Naawe weetwalire ku mmere yonna eriibwa, ogyekuŋŋaanyize; eriba mmere gy'oli ggwe nabyo.
22 Nuuwa n'akola bw'atyo; nga byonna Katonda bye yamulagira bw'atyo bwe yakola.