Chapter 10
1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo kabaka w'abaana ba Amoni n'afa, Kanuni mutabani we n'afuga mu kifo kye.
2 Dawudi n'ayogera nti Naakola Kanuni mutabani wa Nakasi eby'ekisa, nga kitaawe bwe yankola eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma abaddu be okumukubagiza olwa kitaawe. Abaddu ba Dawudi ne batuuka mu nsi ey'abaana ba Amoni.
3 Naye abakulu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni mukama waabwe nti Olowooza nga Dawudi amussaamu ekitiibwa kitaawo n'akutumira ab'okukukubagiza? Dawudi takutumidde baddu be okukebera ekibuga n'okukiketta n'okukimenya?
4 Awo Kanuni n'atwala abaddu ba Dawudi n'abamwako ekitundu ky'ebirevu byabwe n'abasalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku matako gaabwe, n'abasindika.
5 Awo bwe baakibuulira Dawudi, n'atuma okubasisinkana; kubanga abasajja abo ne bakwatibwa nnyo ensonyi. Kabaka n'ayogera nti Mubeere e Yeriko ebirevu byammwe bimale okukula, mulyoke mukomewo.
6 Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Dawudi ng'abatamiddwa, abaana ba Amoni ne batuma ne bagulirira Abasuuli ab'e Besulekobu, n'Abasuuli ab'e Zoba, abaatambula n'ebigere obukumi bubiri, ne kabaka w'e Maaka ng'alina abasajja lukumi, n'abasajja ab'e Tobu abasajja kakumi mu enkumi bbiri.
7 Awo Dawudi bwe yakiwulira, n'atuma Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi.
8 Awo abaana ba Amoni ne bafuluma ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu mulyango: n'Abasuuli ab'e Zoba n'ab'e Lekobu n'abasajja ab'e Tobu ne Maaka baali bokka ku ttale.
9 Awo Yowaabu bwe yalaba olutalo nga luli mu maaso ge n'ennyuma we, n'ayawulamu abasajja bonna aba Isiraeri abalonde n'abasimba ennyiriri okwolekera Abasuuli:
10 abantu bonna abalala n'abakwasa mu mukono gwa Abisaayi muganda we, n'abasimba ennyiriri okwolekera abaana ba Amoni.
11 N'ayogera nti Abasuuli bwe banannema, kale ggwe onombeera: naye abaana ba Amoni bwe banaakulema, kale najja ne nkuyamba.
12 Ddamu amaanyi twerage obusajja olw'abantu baffe n'olw'ebibuga bya Katonda waffe: era Mukama akole nga bw'asiima.
13 Awo Yowaabu n'abantu abaali naye ne basembera ku lutalo okulwana n'Abasuuli: ne badduka mu maaso ge.
14 Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, era nabo ne badduka mu maaso ga Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n' alyoka ava ku baana ba Amoni n'addayo n'ajja e Yerusaalemi.
15 Awo Abasuuli bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne bakuŋŋaana.
16 Awo Kadadezeri n'atuma n'aggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga: ne bajja e Keramu, Sobaki omukulu w'eggye lya Kadadezeri ng'abakulembedde.
17 Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna, n'asomoka Yoludaani n'ajja e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwolekera Dawudi ne balwana naye.
18 Abasuuli ne badduka mu maaso ga Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja ab'omu magaali lusanvu, n'abeebagala embalaasi obukumi buna, n'afumita Sobaki omukulu w'eggye lyabwe n'afiira eyo.
19 Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batabagana ne Isiraeri, ne babaweereza. Awo Abasuuli ne batya okweyongera nate okuyamba abaana ba Amoni.