Chapter 19
1 Awo ne babuulira Yowaabu nti Laba, kabaka akaaba amaziga akungubagira Abusaalomu.
2 Awo ku lunaku olwo okuwangula ne kufuuka okukungubaga eri abantu bonna: kubanga abantu ne bawulira nga boogera ku lunaku olwo nti Kabaka anakuwalira mutabani we.
3 Awo abantu ne badda mu kibuga ku lunaku olwo nga basooba, ng'abantu abakwaatiddwa ensonyi bwe basooba nga badduse mu lutalo.
4 Kabaka n'abikka ku maaso ge, kabaka n'akaaba n'eddoboozi ddene nti mwana wange Abusaalomu, ai Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!
5 Awo Yowaabu n'ayingira mu nnyumba eri kabaka, n'ayogera nti Oswazizza leero amaaso g'abaddu bo bonna, abaawonyezza leero obulamu bwo n'obulamu bwa batabani bo ne bawala bo n'obulamu bwa bakazi bo n'obulamu bw'abazaana bo;
6 kubanga oyagala abakukyawa n'okyawa abakwagala. Kubanga oyatudde leero ng'abakulu n'abaddu si kintu gy'oli: kubanga leero ntegedde, singa Abusaalomu abadde mulamu naffe fenna nga tufudde leero, kale wandikisiimye nnyo.
7 Kale nno golokoka ofulume oyogere n'abaddu bo bulungi: kubanga ndayira Mukama, bw'otoofulume, tewaabeere naawe ekiro kino omusajja n'omu: n'ekyo kirisinga obubi ennaku zonna ze waakalaba okuva mu buto bwo ne kaakano.
8 Awo kabaka n'agolokoka n'atuula mu mulyango. Ne babuulira abantu bonna nti Laba, kabaka atudde mu mulyango: abantu bonna ne bakiikira kabaka. Awo Isiraeri yali addukidde buli muntu mu weema ye.
9 Abantu bonna ne baba nga bawakana mu bika bya Isiraeri byonna nga boogera nti Kabaka ye yatuwonya mu mukono gw'abalabe baffe, n'atulokola mu mukono gw'Abafirisuuti; kale kaakano adduse Abusaalomu okuva mu nsi.
10 Ne Abusaalomu gwe twafukako amafuta okutufuga afiiridde mu lutalo. Kale nno kiki ekibalobera okwogera ekigambo eky'okukomyawo kabaka?
11 Awo kabaka Dawudi n'atumira Zadooki ne Abiyasaali bakabona ng'ayogera nti Mugambe abakadde ba Yuda nti Kiki ekibalwisa mmwe okukira bonna okukomyawo kabaka mu nnyumba ye? kubanga ebigambo bya Isiraeri yenna bituuse eri kabaka, okumuleeta mu nnyumba ye.
12 Mmwe muli baganda bange, mmwe muli magumba gange n'omubiri gwange: kale kiki ekibalwisa okukira bonna okukomyawo kabaka?
13 Era mugambe Amasa nti Toli magumba gange na mubiri gwange? Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, oba nga toliba mukulu wa ggye mu maaso gange ennaku zonna mu kifo kya Yowaabu.
14 N'akutamya emitima gy'abasajja bonna aba Yuda ng'omutima gw'omuntu omu; n'okutuma ne batumira kabaka nga boogera nti Komawo ggwe n'abaddu bo bonna.
15 Awo kabaka n'akomawo n'ajja ku Yoludaani. Abayuda ne bajja e Girugaali okugenda okusisinkana ne kabaka, okusomosa kabaka Yoludaani.
16 Awo Simeeyi mutabani wa Gera, Omubenyamini ow'e Bakulimu n'ayanguwa n'aserengeta wamu n'abasajja ba Yuda okusisinkana ne kabaka Dawudi.
17 Era ne waba naye abasajja lukumi aba Benyamini, ne Ziba omuddu w'ennyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano n'abaddu be amakumi abiri nga bali naye; ne basomoka Yoludaani kabaka nga waali.
18 Eryato ne liwunguka okuwungula ab'omu nnyumba ya kabaka n'okukola nga bw'anaasiima. Simeeyi mutabani wa Gera n'avuunamira kabaka ng'asomose Yoludaani.
19 N'agamba kabaka nti Mukama wange aleme okunzisaako obutali butuukirivu, so tojjukira ekyo omuddu wo kye yakola ng'agira ekyejo ku lunaku mukama wange kabaka lwe yava mu Yerusaalemi, kirumye omwoyo kabaka.
20 Kubanga omuddu wo amanyi nga nayonoona: laba, kyenvudde njija leero nga nze nsoose ennyumba yonnaeya Yusufu okuserengeta okusisinkana ne mukama wange kabaka.
21 Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'addamu n'ayogera nti Simeeyi tattibwe olwa kino kubanga yakolimira oyo Mukama gwe yafukako amafuta?
22 Dawudi n'ayogera nti Nfaayo ki eri mmwe, mmwe batabani ba Zeruyiya, mmwe okubeera leero abalabe bange? wanaabaawo anattibwa leero mu Isiraeri? kuba simanyi nga ndi kabaka wa Isiraeri leero?
23 Kabaka n'agamba Simeeyi nti Toofe. Kabaka n'amulayirira.
24 Awo Mefibosesi mutabani wa Sawulo n'aserengeta okusisinkana ne kabaka; era yali tanaabanga bigere newakubadde okumwa ebirevu newakubadde okwoza engoye ze okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe.
25 Awo olwatuuka bwe yatuuka e Yerusaalemi okusisinkana ne kabaka, kabaka n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okugenda nange, Mefibosesi?
26 N'ayogera nti Mukama wange, ai kabaka, omuddu wange yannimba: kubanga omuddu wo yayogera nti Naateeka amatandiiko ku ndogoyi ngyebagale ŋŋende ne kabaka; ku banga omuddu wo mulema.
27 Era yawaayiriza omuddu wo eri mukama wange kabaka; naye mukama wange kabaka aliŋŋanga malayika wa Katonda: kale kola ekiri mu maaso go ekirungi.
28 Kubanga ennyumba yonna eya kitange baali bafu bufu mu maaso ga mukama wange kabaka: naye n'otuuza omuddu wo mu bo abalya ku mmeeza yo ggwe. Kale nnina nsonga ki neeyongere okukaabira kabaka?
29 Kabaka n'amugamba nti Ekikwogeza ki nate ku bigambo byo? Nze njogera nti Ggwe ne Ziba mugabane ensi.
30 Mefibosesi n'agamba kabaka nti Weewaawo, atwale byonna, kubanga mukama wange kabaka atuuse mirembe mu nnyumba ye ye.
31 Awo Baluzirayi Omugireyaadi n'aserengeta okuva e Logerimu; n'asomoka Yoludaani wamu ne kabaka okumusomosa Yoludaani.
32 Era Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, nga yaakamaze emyaka kinaana: era yali amuliisizza kabaka bwe yali atuula e Makanayimu; kubanga yali musajja mukulu nnyo.
33 Kabaka n'agamba Baluzirayi nti Jjangu osomoke nange, nange ndikuliisiza wamu nange mu Yerusaalemi.
34 Baluzirayi n'agamba kabaka nti Ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwange zenkana wa, nnyambuke ne kabaka ŋŋende e Yerusaalemi?
35 Leero naakamaze emyaka kinaana: nnyinza okwawulamu ebirungi n'ebibi? omuddu we, awoomerwa bye ndya oba bye nnywa? nkyayinza okuwulira eddoboozi ly'abasajja abayimba n'abakazi abayimba? kale omuddu wo yandibeeredde ki nate azitoowerera mukama wange kabaka?
36 Omuddu wo ayagala okusomoka Yoludaani obusomosi wamu ne kabaka era olw'ekyo kabaka yandimpeeredde ki empeera eyenkanidde awo?
37 Nkwegayiridde, omuddu wo addeyo nate afiire mu kibuga ky'ewaffe, awali entaana ya kitange ne mmange. Naye, laba, omuddu wo Kimamu; oyo ye aba asomoka ne mukama wange kabaka; era omukolanga ky'olisiima.
38 Kabaka n'addamu nti Kimamu anaasomoka nange, era ndimukola ky'olisiima: era kyonna ky'olyagala okunteekako, ndikukikolera.
39 Abantu bonna ne basomoka Yoludaani kabaka n'asomoka: kabaka n'anywegera Baluzirayi n'amusabira omukisa; n'addayo mu kifo kye ye.
40 Awo kabaka n'asomoka n'agenda e Girugaali, Kimamu n'asomoka naye: abantu bonna aba Yuda ne basomosa kabaka era n'ekitundu ky'abantu ba Isiraeri.
41 Awo, laba, abasajja ba Isiraeri bonna ne bajja eri kabaka ne bagamba kabaka nti Baganda baffe abasajja ba Yuda bakubbidde ki, ne basomosa Yoludaani kabaka n'ab'omu nnyumba ye n'abasajja ba Dawudi bonna wamu naye?
42 Awo abasajja ba Yuda bonna ne baddamu abasajja ba Isiraeri nti Kubanga kabaka atuli kumpi mu luganda: kale musunguwalira ki olw'ekigambo ekyo? twali tulidde n'akatono ekintu kyonna ekya kabaka? oba atuwadde ekirabo kyonna?
43 Awo abasajja ba Isiraeri ne baddamu abasajja ba Yuda ne boogera nti Ebitundu kkumi ebya kabaka byaffe, era ffe tulina bingi mu Dawudi okukira mmwe: kale mwatunyoomera ki obutasooka kubuuza ffe nga muteesa naffe okukomyawo kabaka waffe? Ebigambo eby'abasajja ba Yuda ne bisinga obukambwe ebigambo eby'abasajja ba Isiraeri.