Chapter 7
1 Awo olwatuuka kabaka bwe yatuula mu nnyumba ye, era Mukama ng'amuwadde okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola,
2 awo kabaka n'agamba Nasani nnabbi nti Laba nno, nze ntuula mu nnyumba ey'emivule, naye essanduuko ya Katonda etuula munda w'ebitimbe.
3 Awo Nasani n'agamba kabaka nti Genda okole byonna ebiri mu mutima gwo; kubanga Mukama ali naawe.
4 Awo olwatuuka ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti
5 Genda obuulire omuddu wange Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ggwe olinzimbira ennyumba gye mba mbeeramu?
6 kubanga sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe nnaggya abaana ba Isiraeri mu Misiri, ne leero, naye natambuliranga mu weema ne mu nnyumba entimbe.
7 Mu bifo byonna mwe nnatambulira n'abaana ba Isiraeri bonna, nali njogedde ekigambo n'ekika kyonna ekya Isiraeri, kye nnalagira okulunda abantu bange Isiraeri, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule?
8 Kale nno bw'otyo bw'oba ogamba omuddu wange Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nakuggya ku kisibo ky'endiga, ng'ogoberera endiga, obeere omukulu w'abantu bange, owa Isiraeri:
9 era nabanga naawe buii gye wagendanga, era nzikirizza abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya ekkulu ng'erinnya bwe liri ery'abakulu abali mu nsi.
10 Era nditeekerawo abantu bange Isiraeri ekifo, ne mbasimba batuulenga mu kifo kyabwe bo, ne batajjulukuka nate; so n'abaana b'obubi nga tebakyababonyaabonya ng'olubereberye,
11 era ng'okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange Isiraeri; era ndikuwa okuwummula eri abalabe bo bonna. Era nate Mukama akubuulira nga Mukama alikukolera ennyumba.
12 Ennaku zo bwe ziriba nga zituukiridde naawe nga weebakidde wamu ne bajjajjaabo, ndissaawo ezzadde lyo eririddawo eririva munda yo, era ndinyweza obwakabaka bwe.
13 Oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe ennaku zonna.
14 Nze ndiba kitaawe naye aliba mwana wange: bw'anaabanga ng'akoze ekitali kya butuukirivu, naamukangavvulanga n'omuggo ogw'abantu n'enga ez'abaana b'abantu;
15 naye okusaasira kwange tekuumuvengako, nga bwe nnakuggya ku Sawulo, gwe nnaggyawo mu maaso go:
16 N'ennyumba yo n'obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso go: entebe yo erinywezebwa ennaku zonna.
17 Awo ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri n'okwolesebwa okwo kwonna, bw'atyo Nasani bwe yabuulira Dawudi.
18 Awo Dawudi kabaka n'alyoka ayingira n'atuula mu maaso ga Mukama; n'ayogera nti Nze ani, ai Mukama Katonda, n'ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano?
19 N'ekyo ne kiba nga kikyali kigambo kitono mu maaso go, ai Mukama Katonda; era naye oyogedde ku nnyumba y'omuddu wo okumala ebiro bingi ebiribaawo; n'ekyo ng'engeri y'abantu bw'eri, ai Mukama Katonda!
20 Era kiki Dawudi ky'ayinza okukugamba nate? kubanga omanyi omuddu wo, ai Mukama Katonda.
21 Olw'ekigambo kyo era ng'omutima gwo gwe bwe guli kyovudde okola ebikulu ebyo byonna, okutegeeza omuddu wo.
22 Ky'obeeredde omukulu, ai Mukama Katonda: kubanga tewali akwenkana, so tewali Katonda wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twakawulira n'amatu gaffe.
23 Era ggwanga ki erimu mu nsi erifaanana abantu bo, erifaanana Isiraeri, Katonda be yagenderera okwenunulira okuba abantu be, n'okwekolera erinnya, n'okubakolera ebikulu, n'okukolera ensi yo eby'entiisa, mu maaso g'abantu bo be weenunulira okuva mu Misiri, okubaggya mu mawanga ne bakatonda baabwe?
24 Ne weenywereza abantu bo Isiraeri okuba abantu gy'oli ennaku zonna; naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe.
25 Era kaakano, ai Mukama Katonda, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinyweze ennaku zonna, era kola nga bw'oyogedde.
26 Era erinnya lyo ligulumizibwe ennaku zonna, nga boogera nti Mukama ow'eggye ye Katonda afuga Isiraeri: n'ennyumba ey'omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.
27 Kubanga ggwe, ai Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, obikkulidde omuddu wo, ng'oyogera nti Ndikuzimbira ennyumba: omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okukusaba okusaba kuno.
28 Era nno, ai Mukama Katonda, ggwe Katonda, n'ebigambo byo mazima, era osuubizizza omuddu wo ekigambo ekyo ekirungi
29 kale nno kkiriza okuwa omukisa ennyumba ey'omuddu wo, ebeerenga mu maaso go ennaku zonna: kubanga ggwe, ai Mukama Katonda, okyogedde: era ennyumba y'omuddu wo eweebwenga omukisa gwo ennaku zonna.