Chapter 15
1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Abusaalomu ne yeetegekera eggaali n'embalaasi n'abasajja ataano okuddukiranga mu maaso ge.
2 Abusaalomu n'agolokokanga mu makya n'ayimirira ku kkubo erya wankaaki: awo olwatuuka omuntu yenna bwe yabanga n'ensonga eyali ey'okujja eri kabaka okusalirwa omusango, awo Abusaalomu n'amuyitanga n'amugamba nti Oli wa ku kyalo ki? N'ayogera nti Omuddu wo wa kika kimu kya Isiraeri.
3 Abusaalomu n'amugamba nti Laba, ebigambo byo birungi bya nsonga; naye tewali muntu kabaka gw'atikkidde okukuwulira.
4 Abusaalomu n'ayogeranga era nti Singa nze nfuuliddwa mulamuzi mu nsi, buli muntu alina ensonga yonna oba musango ajjenga gye ndi, nange nandimukoledde eby'ensonga!
5 Awo olwatuuka omuntu yenna bwe yasemberanga okumweyanza, n'agololanga omukono gwe n'amukwatako n'amunywegera.
6 Awo bw'atyo Abusaalomu bwe yakolanga Isiraeri yenna abajjanga eri kabaka okusalirwa emisango: awo Abusaalomu n'abba bw'atyo emyoyo gy'abasajja ba Isiraeri.
7 Awo olwatuuka emyaka ana bwe gyaggwa Abusaalomu n'agamba kabaka nti Nkwegayiridde ŋŋende nsasule obweyamo bwange, bwe nneeyama Mukama, e Kebbulooni.
8 Kubanga omuddu wo yeeyama obweyamo bwe nnali nga ntuula e Gesuli mu Busuuli, nga njogera nti Mukama bw'alinzirizaayo ddala e Yerusaalemi, kale ndiweereza Mukama.
9 Kabaka n'amugamba nti Genda mirembe. Awo n'agolokoka n'agenda e Kebbulooni.
10 Naye Abusaalomu n'atuma ababaka okubunya ebika byonna ebya Isiraeri ng'ayogera nti Bwemunaawulira eddoboozi ly'ekkondeere ne mulyoka mwogera nti Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni .
11 Era ne wagenda ne Abusaalomu abasajja ebikumi bibiri abaava e Yerusaalemi, abaayitibwa ne bagenda nga tebamanyiridde; so tebaategeera kigambo kyonna.
12 Awo Abusaalomu n'atumya Akisoferi Omugiro, eyateesanga ebigambo ne Dawudi, okuva mu kibuga kye, e Giro, ng'awaayo ssadaaka. Okwekoba okwo ne kuba n'amaanyi; kubanga abantu beeyongerayongeranga bulijjo abaali ne Abusaalomu.
13 Awo ne wajja omubaka eri Dawudi ng'ayogera nti Emyoyo gy'abasajja ba Isiraeri gigoberedde Abusaalomu.
14 Awo Dawudi n'agamba abaddu be bonna abaali naye e Yerusaalemi nti Tugolokoke tudduke; bwe tutadduke tewaabeewo ku ffe anaawona Abusaalomu: mwanguwe okugenda, aleme okututuukako amangu n'atuleetako akabi, n'atta ekibuga n'obwogi bw'ekitala.
15 Awo abaddu ba kabaka ne bagamba kabaka nti Laba, abaddu bo beeteseteese okukola kyonna mukama wange kabaka ky'anaayagala.
16 Kabaka n'afuluma n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bamugoberera. Kabaka n'aleka abakazi kkumi abazaana okukuuma ennyunba.
17 Awo kabaka n'afuluma, abantu bonna ne bamugoberera; ne babeera e Besu-meraki.
18 Abaddu be bonna ne bamuyitako ku mabbali; n'Abakeresi bonna n'Abaperesi bonna n'Abagitti bonna, abasajja lukaaga abaamugoberera okuva e Gaasi, ne bayita mu maaso ga kabaka.
19 Awo kabaka n'agamba Ittayi Omugitti nti Naawe ogendera ki naffe? ddayo obeere ne kabaka: kubanga oli mugenyi era eyagobebwa; ddayo ewuwo ggwe.
20 Ggwe eyajja olwa jjo, nandikutambuzizza eruuyi n'eruuyi wamu naffe leero, kubanga nze ŋŋenda gye nnyinza okugenda? ddayo, ozzeeyo ne baganda bo; okusaasira n'amazima bibeere naawe.
21 Ittayi n'addamu kabaka n'ayogera nti Mukama nga bw'ali omulamu ne mukama wange kabaka nga bw'ali omulamu, mazima mu kifo kyonna mukama wange kabaka w'anaabanga, oba okufa oba okuba omulamu, eyo n'omuddu wo gy'anaabanga.
22 Awo Dawudi n'agamba Ittayi nti Genda osomoke. Ittayi Omugitti n'asomoka n'abasajja be bonna n'abaana abato bonna abaali naye.
23 Ensi yonna ne bakaaba n'eddoboozi ddene, abantu bonna ne basomoka: ne kabaka naye n'asomoka akagga Kidulooni,abantu bonna ne basomokera awali ekkubo eridda mu ddungu.
24 Awo, laba, Zadooki naye n'ajja n'Abaleevi bonna nga bali naye, nga basitula essanduuko ey'endagaano ya Katonda; ne bassa essanduuko ya Katonda, Abiyasaali n'ayambuka okutuusa abantu bonna lwe baamala okuva mu kibuga.
25 Kabaka n'agamba Zadooki nti Situla essanduuko ya Katonda ogizzeeyo mu kibuga: bwe ndiraba ekisa mu maaso ga Mukama, alinkomyawo, aligindaga yo era n'ennyumba ye:
26 naye bw'alyogera bw'atyo nti Sikusanyukira n'akatono; laba, nze nzuuno, ankole nga bw'asiima.
27 Era kabaka n'agamba Zadooki kabona nti Ggwe toli mulabi? ddayo mu kibuga mirembe, ne batabani bo bombi naawe, Akimaazi mutabani wo ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali.
28 Laba, nze ndirindirira ku misomoko egy'omu ddungu okutuusa ekigambo lwe kiriva gye muli okuntegeeza.
29 Awo Zadooki ne Abiyasaali ne basitula essanduuko ya Katonda ne bagizza e Yerusaalemi: ne babeera eyo.
30 Awo Dawudi n'alinnya awayambukirwa ku lusozi olw'emizeyituuni, n'akaaba amaziga ng'alinnya; era yali yeebisse omutwe nga talina ngatto: n'abantu bonna abaali naye ne beebikka buli muntu omutwe ne balinnya, nga bakaaba amaziga nga balinnya.
31 Ne wabaawo eyabuulira Dawudi nti Akisoferi ali mu bo abeekobaanye ne Abusaalomu. Dawudi n'ayogera nti Nkwegayiridde, ai Mukama, fuula okuteesa kwa Akisoferi okuba obusirusiru.
32 Awo olwatuuka Dawudi bwe yatuuka ku ntikko awalinnyirwa, kwe baayimanga okusinza Katonda, laba, Kusaayi Omwaluki n'ajja okumusisinkana ng'ayuzizza ekizibawo kye n'ettaka nga liri ku mutwe gwe:
33 Dawudi n'amugamba nti Bw'onooyita nange, ononzitoowerera:
34 naye bw'onoddayo mu kibuga n'ogamba Abusaalomu nti Nze naabanga omuddu wo, ai kabaka; nga bwe nnabanga omuddu wa kitaawo mu biro eby'edda, bwe ntyo bwe naabanga omuddu wo kaakano: kale ononzitira okuteesa kwa Akisoferi.
35 Era tolina eyo wamu naawe Zadooki ne Abiyasaali bakabona? awo olunaatuukanga buli kigambo kyonna ky'onoowuliranga okuva mu nnyumba ya kabaka, onookibuuliranga Zadooki ne Abiyasaali bakabona.
36 Laba, balina eyo gye bali batabani baabwe bombi. Akimaazi mutabani wa Zadooki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali; era abo be munaantumiranga okuntegeeza buli kigambo kye munaawuliranga.
37 Awo Kusaayi mukwano gwa Dawudi n'ayingira mu kibuga; Abusaalomu n'ayingira mu Yerusaalemi.