Chapter 5
1 Awo ebika byonna ebya Isiraeri ne bajja eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti Laba, tuli magumba go era mubiri gwo.
2 Mu biro eby'edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, ggwe wafulumya n'oyingiza Isiraeri: Mukama n'akugamba nti Ggwe olirunda abantu bange Isiraeri, era ggwe oliba mukulu wa Isiraeri.
3 Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; kabaka Dawudi n'alagaanira nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama: ne bamufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri.
4 Dawudi yali yaakamaze emyaka asatu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka ana.
5 Yafugira Yuda e Kebbulooni emyaka musanvu ko emyezi mukaaga: ne mu Yerusaalemi yafugira Isiraeri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu.
6 Awo kabaka n'abasajja be ne bagenda e Yerusaalemi okulwana n'Abayebusi, abaatuula mu nsi: abaagamba Dawudi nti Bw'otolimalawo bazibe ba maaso n'abawenyera, toliyingira muno: nga balowooza nti Dawudi tayinza kuyingira muno.
7 Era naye Dawudi n'amenya ekigo kye Sayuuni; ekyo kye kibuga kya Dawudi.
8 Dawudi n'ayogera ku lunaku olwo nti Buli anatta Abayebusi, ayambuke awali olusalosalo atte abazibe b'amasso n'abawenyera emmeeme ya Dawudi b'ekyawa. Kyebaava boogera nti Waliwo abazibe b'amasso n'abawenyera; tayinza kuyingira mu nnyumba.
9 Dawudi n'abeera mu kigo n'akiyita ekibuga kya Dawudi. Era Dawudi yazimba okwetooloola okuva e Miro n'okuzza munda.
10 Awo Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba omukulu; kubanga Mukama, Katonda ow'eggye, yali naye.
11 Awo Kiramu kabaka w'e Ttuulo n'atumira Dawudi ababaka n'emivule n'ababazzi n'abazimbi b'amayinja; ne bazimbira Dawudi ennyumba.
12 Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isiraeri, era nga agulumizizza obwakabaka bwe ku lw'abantu be Isiraeri.
13 Awo Dawudi ne yeeyongera okuwasa abazaana n'abakazi ng'abaggya mu Yerusaalemi, ng'amaze okuva e Kebbulooni: Dawudi n'azaalirwa nate abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
14 Era gano ge mannya g'abo abaamuzaalirwa mu Yerusaalemi; Sammuwa ne Sobabu ne Nasani ne Sulemaani,
15 ne Ibali ne Eriswa; ne Nefegi ne Yafiya;
16 ne Erisaama ne Eriyada ne Erifereti.
17 Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga bamaze okumufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi; Dawudi n'akiwulira n'aserengeta mu mpuku.
18 Awo Abafirisuuti baali bazze ne bayanjaala mu kiwonvu Lefayimu.
19 Awo Dawudi n'abuuza Mukama nti Nnyambuke eri Abafirisuuti? on'obagabula mu mukono gwange? Mukama n'agamba Dawudi nti Yambuka: kubanga siireme kugabula Bafirisuuti mu mukono gwo.
20 Dawudi n'ajja e Baaluperazimu, Dawudi n'abakubira eyo; n'ayogera nti Mukama amenye abalabe bange, ng'amazzi bwe gamenya. Kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Baalupera.
21 Ne baleka eyo ebifaananyi byabwe, Dawudi n'abasajja be ne babitwala.
22 Awo Abafirisuuti ne beeyongera okwambuka olw'okubiri ne bayanjaala mu kiwonvu Lefayimu.
23 Awo Dawudi bwe yabuuza Mukana n'ayogera nti Toyambuka: weetooloole ennyuma waabwe obafulume mu maaso g'emitugunda.
24 Awo olunaatuuka bw'onoowulira eddoboozi ery'okutambula ku masanso g’emitugunda, n’olyoka ogolokoka: kubanga awo Mukama ng'akukulembedde okukuba eggye ly'Abafirisuuti.
25 Awo Dawudi n'akola bw'atyo nga Mukama bwe yamulagira; n'atta Abafirisuuti okuva e Geba okutuusa lwe yatuuka e Gezeri.