Chapter 6
1 Awo Dawudi n'akuŋŋaanya nate abasajja bonna abalonde aba Isiraeri, obukumi busatu.
2 Sawudi n'agolokoka n'agenda n'abantu bonna abaali naye, okuva e Baale Yuda okuggyayo ssanduuko ya Katonda okugirinnyisa, eyitibwa Erinnya lyennyini, erinnya lya Mukama ow'eggye atuula ku bakerubi.
3 Ne bateeka ssanduuko ya Katonda ku ggaali empya, ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi: Uzza ne Akiyo, batabani ba Abinadaabu, ne bagoba eggaali empya.
4 Ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi n'essanduuko ya Katonda: Akiyo n'akulembera ssanduuko.
5 Dawudi n'ennyumba yonna eya Isiraeri ne bakubira mu maaso ga Mukama ebintu eby'emiberosi eby'engeri zonna n'ennanga n'entongooli n'ebitaasa n'ensaasi n'ebisaala.
6 Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, Uzza n'agolola omukono gwe ku ssanduuko ya Katonda n'agikwatako; kubanga ente yeesittala.
7 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Uzza; Katonda n'amukubira eyo olw'ekyonoono kye; n'afiira awo awali ssanduuko ya Katonda.
8 Awo Dawudi n'anyiiga kuba Mukama awamatukidde Uzza: n'ayita ekifo ekyo Perezuzza, ne leero.
9 Dawudi n'atya Mukama ku lunaku olwo; n'ayogera nti Essanduuko ya Mukama erijja etya gye ndi?
10 Awo Dawudi n'atayagala kujjulula ssanduuko ya Mukama okugireeta gy'ali, mu kibuga kya Dawudi; naye Dawudi n'agikyamya n'agiyingiza mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
11 Awo essanduuko ya Mukama n'emala emyezi esatu mu nnyumba ya Obededomu Omugitti: Mukama n'awa omukisa Obededomu n'ennyumba ye yonna.
12 Awo ne babuulira kabaka Dawudi nti Mukama awadde omukisa ennyumba ya Obededomu n'ebibye byonna olw'essanduuko ya Katonda. Dawudi n'agenda n'aggya essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n'agirinnyisa mu kibuga kya Dawudi ng'asanyuka.
13 Awo olwatuuka abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baali batambudde ebigere mukaaga, n'awaayo ente n'ekya ssava.
14 Dawudi n'azinira mu maaso ga Mukama n'amaanyi ge gonna; era Dawudi nga yeesibye ekkanzu eya bafuta.
15 Awo Dawudi n'ennyumba yonna eya Isiraeri ne balinnyisa essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu era nga bafuuwa ekkondeere.
16 Awo olwatuuka essanduuko ya Mukama bwe yali ng'eyingira mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'abuuka ng'azinira mu maaso ga Mukama; n'amunyooma mu mutima gwe.
17 Ne bayingiza essanduuko ya Mukama, ne bagiteeka mu kifo kyayo wakati mu weema Dawudi gye yali agisimbidde: Dawudi n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama.
18 Awo Dawudi bwe yali amaze okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama ow'eggye.
19 N'agabira abantu bonna, ekibiina kyonna ekya Isiraeri, abasajja n'abakazi, buli muntu omugaati n'omugabo ogw'ennyama n'ekitole eky'ezabbibu enkalu. Awo abantu bonna ne baddayo buli muntu mu nnyumba ye.
20 Awo Dawudi n'akomawo okusabira ab'omu nnyumba ye omukisa. Awo Mikali muwala wa Sawulo n'afuluma okusisinkana ne Dawudi n'ayogera nti Kabaka wa Isiraeri ng'abadde wa kitiibwa leero, eyeebikkulidde leero mu maaso g'abazaana b'abaddu be, ng'omu ku basajja abataliiko kye bagasa bwe yeebikkula nga talina nsonyi!
21 Dawudi n'agamba Mikali nti Kyabadde mu maaso ga Mukama, eyannonda okusinga kitaawo n'okusinga ennyumba ye yonna okunfuula omukulu w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri: kyennaavanga nzannyira mu maaso ga Mukama.
22 Era neeyongeranga okwetoowaza okukirawo, era naabanga anyoomebwa mu maaso gange nze: naye abazaana b'oyogeddeko abo balinzisaamu ekitiibwa.
23 Mikali muwala wa Sawulo n'atazaala mwana okutuusa ku lunaku kwe yafiira.