Essuula 13
1 Okwagala ab'oluganda kubeerengawo.
2 Temwerabiranga kusembeza bagenyi: kubanga olw'okwo waaliwo abaasembeza bamalayika nga tebamanyi.
3 Mujjukirenga abasibe, ng'abasibirwa awamu nabo; era n'abalaba ennaku, kubanga nammwe muli mu mubiri.
4 Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n'ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n'abenzi Katonda alibasalira omusango.
5 Mubeerenga n'empisa ey'obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini yagamba nti Sirikuleka n'akatono, so sirikwabulira n'akatono.
6 N'okwaŋŋanga ne twaŋŋanga okwogera nti Mukama ye mubeezi wange; ssiritya: Omuntu alinkola ki?
7 Mujjukirenga abo abaabafuga, abaababuulira ekigambo kya Katonda; era nga mutunuulira enkomerero y'empisa zaabwe, mugobererenga okukkiriza kwabwe.
8 Yesu Kristo jjo ne leero aba bumu n'okutuusa emirembe n'emirembe.
9 Temutwalibwatwalibwanga kuyigiriza okw'engeri ennyingi okuggya: kubanga kirungi omutima okunywezebwa n'ekisa; so si kunywezebwa na mpisa ez'okulyanga, ezitagasa abo abazitambuliramu.
10 Tulina ekyoto abaweereza eby'omu weema kye batalagirwa kuliirangako.
11 Kubanga ebisolo biri, ebitwalibwamu omusaayi gwabyo kabona asinga obukulu mu kifo ekitukuvu olw'ekibi, emibiri gyabyo gyokerwa bweru wa lusiisira.
12 Era ne Yesu kyeyava abonabonera ebweru wa wankaaki, alyoke atukuze abantu n'omusaayi gwe ye.
13 Kale tufulume okugenda gy'ali ebweru w'olusiisira nga twetisse ekivume kye.
14 Kubanga wano tetulina kibuga ekibeerera, naye tunoonya ekigenda okujja.
15 Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey'ettendo, kye kibala eky'emimwa egyatula erinnya lye.
16 Naye okukola obulungi n'okukkaanya temwerabiranga: kubanga ssaddaaka eziri ng'ezo zisanyusa nnyo Katonda.
17 Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw'obulamu bwammwe, ng'abaliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n'essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.
18 Mutusabirenga: kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo omulungi, nga twagala okubanga n'empisa ennungi mu byonna.
19 Era okusinga ennyo mbeegayirira okukolanga bwe mutyo, ndyoke nkomezebwewo mangu gye muli.
20 Naye Katonda ow'emirembe, eyakomyawo okuva mu bafu omusumba w'endiga omukulu olw'omusaayi ogw'endagaano ey'olubeerera, ye Mukama waffe Yesu,
21 abatuukirize mu buli kigambo kirungi okukolanga by'ayagala, ng'akolera mu ffe ekisiimibwa mu maaso ge, ku bwa Yesu Kristo; aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
22 Naye mbabuulirira, ab'oluganda, mugumiikirizenga ekigambo eky'okubuulirira: kubanga mbawandiikidde mu bigambo bitono.
23 Mumanye nga muganda waffe Timoseewo yateebwa; bw'alijja amangu, ndibalabira wamu naye.
24 Mulamuse bonna abafuga, n'abatukuvu bonna. Ab'omu Italiya babalamusizza.
25 Ekisa kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.