Essuula 8
1 Kale mu bigambo bye twogedde kino kye kikolo: tulina kabona asinga obukulu, afaanana bw'atyo, eyatuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ey'Obukulu obw'omu ggulu,
2 omuweereza w'ebitukuvu, era ow'eweema ey'amazima, Mukama gye yasimba, si muntu.
3 Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa olw'omulimu ogw'okuwangayo ebirabo era ne ssaddaaka: kyekiva kimugwanira n'oyo okubeera n'ekintu eky'okuwaayo.
4 Kale singa yali ku nsi, teyandibadde kabona n'akatono, nga waliwo abawaayo ebirabo ng'amateeka bwe gali;
5 abaweereza eby'ekifaananyi n'ekisiikirize eky'ebyo eby'omu ggulu, nga Musa bwe yabuulirwa Katonda, bwe yali ng'agenda okukola eweema: kubanga ayogera nti Tolemanga kukola byonna ng'ekyokulabirako bwe kiri kye walagibwa ku lusozi.
6 Naye kaakano aweereddwa okuweereza okusinga okuwooma, era nga bw'ali omubaka w'endagaano esinga obulungi, kubanga yalagaanyizibwa olw'ebyasuubizibwa ebisinga obulungi.
7 Kuba endagaano eri ey'olubereberye singa teyaliiko kya kunenyezebwa, tewandinoonyezebbwa bbanga ery'ey'okubiri.
8 Kubanga bw'abanenya ayogera nti Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, Bwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri era n'ennyumba ya Yuda;
9 Si ng'endagaano gye nnalagaana ne bajjajja baabwe Ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'Emisiri: Kubanga abo tebaanywerera mu ndagaano yange, Nange ne mbaleka okubalaba, bw'ayogera Mukama.
10 Kubanga eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe, Era ne ku mutima gwabwe ndigawandiika; Nange nnaabeeranga Katonda gye bali, Nabo banaabeeranga bantu gye ndi:
11 So buli muntu tebaliyigiriza munne, Na buli muntu muganda we, ng'ayogera nti Manya Mukama: Kubanga bonna balimmanya, Okuva ku muto okutuuka ku mukulu mu bo.
12 Kubanga ndisaasira obutali butuukirivu bwabwe, N'ebibi byabwe siribijjukira nate.
13 Bw'ayogera nti Endagaano empya ey'olubereberye aba agikaddiyizza. Naye ekikulu era ekikaddiwa kiri kumpi n'okuggwaawo.