Essuula 1
1 Yakobo, omuddu wa Katonda ne Mukama waffe Yesu Kristo, eri ebika ekkumi n'ebibiri ebyasaasaana, mbalamusizza.
2 Mulowoozenga byonna okuba essanyu, baganda bange, bwe munaagwanga mu kukemebwa okutali kumu;
3 nga mutegeera ng'okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza.
4 Era omulimu gw'okugumiikiriza gutuukirirenga, mulyoke mubeere abaatuukirira, abalina byonna, abataweebuuka mu kigambo kyonna.
5 Naye oba ng'omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa.
6 Naye asabenga mu kukkiriza, nga taliiko ky'abuusabuusa: kubanga abuusabuusa afaanana ng'ejjengo ery'ennyanja eritwalibwa empewo ne lisuukundibwa.
7 Kubanga omuntu oyo talowoozanga ng'aliweebwa ekintu kyonna eri Mukama waffe
8 omuntu ow'emyoyo ebiri, atanywera mu makubo ge gonna.
9 Naye ow'oluganda omukopi yeenyumirizenga olw'obukulu bwe:
10 era n'omugagga yeenyumirizenga olw'okukopawala kwe: kubanga aliggwaawo ng'ekimuli ky'omuddo.
11 Kubanga enjuba evaayo n'omusana omungi n'ewotosa omuddo; n'ekimuli kyagwo ne kigwa n'obulungi bw'ekifaananyi kyagwo ne bubula: era n'omugagga bw'atyo bw'aliwotoka mu kutambula kwe.
12 Alina omukisa omuntu agumiikiriza okukemebwa: kubanga bw'alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey'obulamu, Mukama waffe gye yasuubiza abamwagala.
13 Omuntu yenna bw'akemebwanga, tayogeranga nti Katonda ye ankema kubanga Katonda takemeka na bubi, era ye yennyini takema muntu yenna:
14 naye buli muntu akemebwa, ng'awalulwa okwegomba kwe ye n'asendebwasendebwa.
15 Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto ne kuzaala okwonoona: n'okwonoona okwo, bwe kumala okukula; ne kuzaala okufa.
16 Temwerimbalimbanga, baganda bange abaagalwa.
17 Buli kirabo kirungi na buli kitone kituukirivu kiva waggulu, nga kikka okuva eri Kitaffe ow'ebyaka, atayinza kuba na kufuukafuuka newankubadde ekisiikirize eky'okukyuka.
18 Olw'okuteesa kwe yatuzaala n'ekigambo eky'amazima, tulyoke tubeere ng'omwaka omubereberye ogw'ebitonde bye.
19 Ekyo mukimanyi, baganda bange abaagalwa. Naye buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, alwengawo okwogera, alwengawo okusunguwala
20 kubanga obusungu bw'omuntu tebukola butuukirivu bwa Katonda.
21 Kale muteekenga wala obugwagwa bwonna n'obubi obusukkiridde, mutoolenga n'obuwombeefu ekigambo ekisigibwa ekiyinza okulokola obulamu bwammwe.
22 Naye mubeerenga bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi, nga mwerimbalimba.
23 Kubanga omuntu yenna bw'aba omuwulizi w'ekigambo, so nga si mukozi, oyo afaanana ng'omuntu eyeeraba amaaso ag'obuzaaliranwa bwe mu ndabirwamu:
24 kubanga yeeraba n'agenda, amangu ago ne yeerabira bw'afaananye.
25 Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag'eddembe n'anyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe.
26 Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, bw'ataziyiza lulimi lwe, naye nga yeerimba omutima gwe eddiini y’oyo teriiko ky'egasa.
27 Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga obutaba na mabala ag'omu nsi.