Essuula 7
1 Kubanga Merukizeddeeki oyo kabaka w’e Ssaalemi, kabona wa Katonda Ali waggulu ennyo, eyasisinkana Ibulayimu ng'akomawo ng'ava okutta bakabaka, n'amusabira omukisa,
2 era Ibulayimu gwe yagabira ekitundu eky'ekkumi ekya byonna (eky'oluberereberye, mu kutegeezebwa, kabaka wa butuukirivu, era eky'okubiri, kabaka w'e Ssaalemi, ye kabaka ow'emirembe;
3 atalina kitaawe, atalina nnyina, atalina bajjajjaabe, atalina lunaku lwe yasookerako newakubadde enkomerero y'obulamu, naye eyafaananyizibwa Omwana wa Katonda), abeera kabona ow'olubeerera ennaku zonna,
4 Kale mulowooze omuntu oyo bwe yali omukulu, Ibulayimu jjajja omukulu gwe yawa ekitundu eky'ekkumi ku munyago ogw'okwebonaanya.
5 N'abo ab'omu baana ba Leevi abaaweebwa obwakabona amateeka gabalagira okusoloozanga ebitundu eby'ekkumi mu bantu, be baganda baabwe, newakubadde ng'abo bava mu ntumbwe za Ibulayimu:
6 naye oyo, atabalibwa mu kika kyabwe, yasolooza Ibulayimu n'asabira omukisa nnannyini byasuubizibwa.
7 Naye, tekyegaanika n'akatono, omuto yasabirwa omukulu omukisa.
8 Era mu ekyo abaweebwa ebitundu eby'ekkumi be bantu abafa; naye mu kiri abiweebwa ye oyo ategeezebwa nga mulamu.
9 Era, okwogera bwe kuti, ne Leevi, aweebwa omusolo, yaguweerayo mu Ibulayimu;
10 kubanga yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeideeki bwe yamusisinkana.
11 Kale okutuukirira singa kwaliwo lwa bwakabona obw'Ekileevi (kubanga abantu baaweebwa amateeka mu biro byabwo), kiki ekyetaaza nate kabona ow'okubiri okuyimuka mu ngeri ya Merukizeddeeki, n'atabalirwa mu ngeri ya Alooni?
12 Kubanga obwakabona bwe buwaaayisibwa, era n'amateeka tegalema kuwaanyisibwa.
13 Kubanga oyo eyayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutavanga muntu yenna eyali aweerezza ku kyoto.
14 Kubanga kitegeerekese ga Mukama waffe yava mu Yuda; ekika Musa ky'atayogerako bigambo ya bakabona.
15 N'ebyo byeyogera nnyo okutegeerekeka, oba nga ayimuka kabona ow'okubiri ng'ekifaananyi kya Merukizeddeeki bwe kiri,
16 atalondebwa ng'amateeka bwe gali agalimu ekiragiro ky'omubiri, wabula ng'amaanyi bwe gali ag'obulamu obutakutuka:
17 kubanga ategeezebwa nti Oli kabona okutuusa emirembe gyonna Ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.
18 Kubanga ekiragiro ekyasooka kijjulukuka olw'obunafu n'obutagasa bwakyo
19 (kubanga amateeka tagaliiko kye gaatuukiriza), essuubi erisinga obulungi ne liyingizibwa, eritusembezesa eri Katonda.
20 Era bwe wataabula kulayira kirayiro
21 (kubanga bo baafuulibwa bakabona awatali kirayiro; naye oyo awamu n'ekirayiro yafuulibwa oyo amwogerako nti Mukama yalayira, era talyejjusa, nti Oli kabona okutuusa emirembe gyonna);
22 era ne Yesu bwe yafuuka bw'atyo omuyima w'endagaano esinga obulungi.
23 Nabo bangi baafuulibwa bakabona, kubanga okufa kwabalobera okubeereranga:
24 naye oyo, kubanga abeerera okutuusa emirembe gyonna, alina obwakabona obutavaawo.
25 Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolerezanga.
26 Kubanga kabona asinga obukulu afaanana bw'atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko kabi, ataliiko bbala, eyayawulibwa eri abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okukira eggulu;
27 atawalirizibwa, nga bakabona abasinga obukulu bali, okuwangayo ssaddaaka buli lunaku, okusooka olw'ebibi bye yennyini, oluvannyuma olw'ebyo eby'abantu: kubanga okwo yakukolera ddala omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini.
28 Kubanga amateeka galonda abantu okuba bakabona abasinga obukulu, abalina obunafu; naye ekigambo eky'ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kyalonda Omwana, eyatuukirizibwa okutuusa emirembe gyonna.