Abaebbulaniya

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13


Essuula 5

1 Kubanga buli kabona asinga obukulu, bw'aggibwa mu bantu, ateekebwawo ku bwa bantu mu bigambo ebiri eri Katonda alyoke awengayo ebirabo era ne ssaddaaka olw'ebibi:
2 ayinza okukwata empola abatamanyi n'abakyamye, kubanga era naye yennyini yeetooloddwa obunafu;
3 era olw'obwo kimugwanira nga ku lw'abantu, era bwe kityo ku lulwe yennyini, okuwangayo olw'ebibi.
4 So omuntu yenna teyeetwalira yekka kitiibwa ekyo, wabula ng'ayitiddwa Katonda, era nga Alooni.
5 Era bw'atyo Kristo teyeegulumiza yekka okufuuka kabona asinga obukulu, wabula oyo eyamugamba nti Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe:
6 era nga bw'ayogera awalala nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.
7 Oyo mu nnaku ze yabeereramu mu mubiri gwe, bwe yawaayo okwegayirira n'okusaba eri oyo eyayinza okumulokola mu kufa n'okukaaba ennyo n'amaziga, era bwe yawulirwa olw'okutya kwe Katonda,
8 newakubadde nga Mwana, naye yayiga okugonda olw'ebyo bye yabonaabona:
9 awo bwe yamala okutuukirizibwa, n'afuuka ensonga y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamuwulira;
10 Katonda gwe yayita kabona asinga obukulu ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.
11 Gwe tulinako ebigambo ebingi okwogera era ebizibu okutegeeza, kubanga mufuuse baggavu b'amatu.
12 Kubanga bwe kibagwanira okubeeranga abayigiriza olw'ebiro ebyayita, mwetaaga nate omuntu okubayigiriza ebisookerwako eby'olubereberye eby'ebigambo bya Katonda; era mufuuse abeetaaga amata, so si mmere nkalubo.
13 Kubanga buli anywa amata nga tannamanya kigambo kya butuukirivu; kubanga mwana muto.
14 Naye emmere enkalubo ya bakulu, abalina amagezi agayigirizibwa olw'okugakoza okwa wulanga obulungi n'obubi.