Essuula 8
1 Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu.
2 Kubanga etteeka ery'Omwoyo gw'obulamu mu Kristo Yesu lyanfuula ow'eddembe okunziya mu tteeka ly'ekibi n'ery'okufa.
3 Kubanga amateeka kye gatayinza, kubanga manafu olw'omubiri, Katonda, bwe yatuma Omwana we ye mu kifaananyi ky'omubiri ogw'ekibi era olw'ekibi, n'asalira omusango ekibi mu mubiri:
4 obutuukirivu bw'amateeka bulyoke butuukirizibwe mu ffe, abatatambula kugoberera mubiri, wabula omwoyo.
5 Kubanga abagoberera omubiri, balowooza bya mubiri: naye abagoberera omwoyo, bya mwoyo.
6 Kubanga okulowooza kw'omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw'omwoyo bwe bulamu n'emirembe:
7 kubanga okulowooza kw'omubiri bwe bulabe eri Katonda; kubanga tekufugibwa mateeka ga Katonda, kubanga n'okuyinza tegakuyinza:
8 n'abo abali mu mubiri tebayinza kusanyusa Katonda.
9 Naye mmwe temuli mu mubiri, wabula mu mwoyo, oba ng'Omwoyo gwa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw'ataba na Mwoyo gwa Kristo, oyo si wuwe.
10 Era oba nga Kristo ali mu mmwe, omubiri nga gufudde olw'ekibi; naye omwoyo bwe bulamu olw'obutuukirivu.
11 Naye oba nga Omwoyo gw'oyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era n'emibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bw'Omwoyo gwe atuula mu mmwe.
12 Kale nno, ab'oluganda, tulina ebbanja: omubiri si gwe gutubanja, okugobereranga omubiri:
13 kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa; naye bwe munaafiisanga ebikolwa by'omubiri olw'Omwoyo, muliba balamu.
14 Kubanga bonna abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda, abo be baana ba Katonda.
15 Kubanga temwaweebwa nate mwoyo gwa buddu okutya, naye mwaweebwa Omwoyo ow'okufuuka abaana, atukaabya nti Abba, Kitaffe.
16 Omwoyo yennyini wamu n'omwoyo gwaffe ategeeza nga tuli baana ba Katonda:
17 naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa.
18 Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe.
19 Kubanga okutunuulira ennyo okw'ebitonde kulindirira okubikkulirwa kw'abaana ba Katonda.
20 Kubanga ebitonde byateekebwa okufugibwa obutaliimu, si lwa kwagala kwabyo wabula ku bw'oyo eyabifugisa, mu kusuubira nti
21 era n'ebitonde byennyini nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery'ekitiibwa ky'abaana ba Katonda.
22 Kubanga tumanyi ng'ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano.
23 Era si ekyo kyokka, naye era naffe, abalina ebibala ebibereberye eby'Omwoyo, era naffe tusinda munda yaffe, nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw'omubiri gwaffe.
24 Kubanga twalokoka lwa kusuubira: naye ekisuubirwa ekirabika si kusuubira: kubanga ani asuubira ky'alabako?
25 Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n'okugumiikiriza.
26 Era bwe kityo Omwoyo atubeera obunafu bwaffe: kubanga tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira: naye Omwoyo yennyini atuwolereza n'okusinda okutayogerekeka;
27 naye akebera emitima amanyi okulowooza kw'Omwoyo bwe kuli, kubanga awolereza abatukuvu nga Katonda bw'ayagala.
28 Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi.
29 Kubanga bwe yamanya edda, era yabaawula dda okufaananyizibwa n'engeri y'Omwana we, abeerenga omubereberye mu b'oluganda abangi:
30 era be yayawula edda, abo era yabayita: era be yayita, yabawa abo era obutuukirivu: era be yawa obutuukirivu, yabawa abo era ekitiibwa.
31 Kale tunaayogera tutya ku ebyo? Katonda bw'abeera ku lwaffe, omulabe waffe ani?
32 Ataagaana Mwana we ye, naye n'amuwaayo ku lwaffe fenna, era talitugabira bintu byonna wamu naye?
33 Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda abawa obutuukirivu:
34 ani alibasalira omusango? Kristo Yesu eyafa, oba okusinga eyazuukira, ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, era atuwolereza.
35 Ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? kulaba nnaku, oba kulumwa, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala?
36 Nga bwe kyawandiikibwa nti Tuttibwa obudde okuziba, okutulanga ggwe: Twabalibwa ng'endiga ez'okusalibwa.
37 Naye mu ebyo byonna tuwangudde n'okukirawo ku bw'oyo eyatwagala.
38 Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi,
39 newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.