Essuula 15
1 Era ffe abalina amaanyi kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw'abo abatalina maanyi, so si kwesanyusanga fekka.
2 Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw'okuzimba.
3 Kubanga era ne Kristo teyeesanyusanga yekka: naye, nga bwe kyawandiikibwa, nti Ebivume byabwe abaakuvuma byagwa ku nze.
4 Kubanga byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n'okusuubira olw'okugumiikiriza n'olw'okusanyusa kw'ebyawandiikibwa.
5 Era Katonda w'okugumiikiriza n'okusanyusa abawe mmwe okulowoozanga obumu mwekka na mwekka mu ngeri ya Kristo Yesu:
6 mulyoke muwenga ekitiibwa Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo ogumu n'akamwa akamu.
7 Kale musembezaganyenga mwekka na mwekka, nga Kristo bwe yabasembeza mmwe, olw'ekitiibwa kya Katonda.
8 Kubanga njogera nti Kristo yali muweereza w'abakomole olw'amazima ga Katonda, okunyweza ebyasuubizibwa eri bajjajja,
9 era ab'amawanga balyoke bawenga Katonda ekitiibwa olw'okusaasira; nga bwe kyawandiikibwa nti Kye nnaavanga nkwatula mu b'amawanga, Era nnaayimbiranga erinnya lyo.
10 Era nate ayogera nti Musanyukenga, mmwe ab'amawanga, wamu n'abantu be.
11 Era nate nti Mutenderezenga Mukama, mmwe ab'amawanga mwenna; Era ebika byonna bimutenderezenga.
12 Era nate Isaaya ayogera nti Waliba ekikolo kya Yese, Era ayimirira okufuga ab'amawanga; Oyo ab'amawanga gwe balisuubira.
13 Era Katonda ow'okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n’emirembe olw'okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu.
14 Era nange nze ntegeeredde ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna, nga muyinza n'okubuuliriragana mwekka na mwekka.
15 Naye nneeyongedde okuguma katono okubawandiikira, nga kubajjukiza na olw'ekisa kye nnaweebwa Katonda
16 nze okubeeranga omuweereza wa Kristo Yesu eri ab'amawanga nga nkolera enjiri ya Katonda omulimu gwa kabona, ssaddaaka y'ab'amawanga eryoke esiimibwe ng'ekuzibwa Omwoyo Omutukuvu.
17 Kale okwenyumiriza ndi nakwo mu Kristo Yesu mu bya Katonda.
18 Kubanga siryaŋŋanga kwogera kigambo kyonna wabula Kristo bye yankoza, olw'okuwulira kw'ab'amawanga, mu kigambo ne mu kikolwa,
19 mu maanyi g'obubonero n’eby'amagero, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu; bwe kityo okuva mu Yerusaalemi n'okwetooloola okutuuka mu Iruliko, natuukiriza enjiri Kristo;
20 naye nga njagala ekitiibwa kino okubuuliranga enjiri, si awayatulibwa erinnya lya Kristo nnemenga okuzimba ku musingi gwa beene;
21 naye nga bwe kyawandiikibwa nti Baliraba abatabuulirwanga bigambo bye, Era abataawulira balitegeera.
22 Era kyennavanga nziyizibwa emirundi emingi okujja gye muli;
23 naye kaakati, kubanga sikyalina bbanga mu nsi zino, era kubanga, okuva mu myaka mingi nnali njagala okujja gye muli,
24 we ndigendera mu Esupaniya (kubanga nsuubira okubalaba nga mpitayo, mmwe mumperekereko okuntuusa eyo, bwe ndimala okubalabako n'okusanyukirako awamu nammwe);
25 naye kaakati ŋŋenda e Yerusalemi, okuweereza abatukuvu.
26 Kubanga ab'e Makedoni n'ab'e Akaya baasiima okusolooleza ebintu abaavu ab'omu batukuvu abali Yerusaalemi.
27 Kubanga basiima; era nga bababanja. Kuba oba ng'ab'amawanga basseekimu n'ebyabwe eby'omwoyo, babanja okubaweereza nate eby'omubiri.
28 Kale bwe ndimala ekyo, bwe ndibakwasiza ddala ebibala ebyo ndivaayo, okuyita ewammwe okugenda e Supaniya.
29 Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli ndijja mu mukisa gwa Kristo nga gutuukiridde.
30 Era mbeegayiridde, ab'oluganda, ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kw'Omwoyo, okufubiranga awamu nange mu kunsabira Katonda;
31 ndyoke mpone mu abo abatawulira mu Buyudaaya, n'okuweereza kwange kwe ntwala e Yerusaalemi kusiimibwe abatukuvu;
32 ndyoke njije gye muli n'essanyu olw'okwagala kwa Katonda, mpummulire wamu nammwe.
33 Era Katonda ow'emirembe abeerenga nammwe mwenna. Amiina.