Abaruumi

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16


Essuula 16

1 Mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, ye muweereza w'ekkanisa ey'omu Kenkereya:
2 mulyoke mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era mumuyambe mu kigambo kyonna ky'alyetaaga gye muli: kubanga naye yennyini yayamba bangi, era nange nzennyini.
3 Mumulamuse Pulisika ne Akula abaakolera awamu nange mu Kristo Yesu,
4 abaawaayo obulago bwabwe olw'obulamu bwange; be sseebaza nze nzekka, era naye n'ekkanisa zonna ez'ab'amawanga:
5 era mulamuse ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe. Mulamuse Epayineeto, gwe njagala, kye kibala eky'olubereberye eky'omu Asiya eri Kristo.
6 Mulamuse Malyamu, eyabakolera mmwe emirimu emingi.
7 Mulamuse Anduloniiko ne Yuniya, ab'ekika kyange, era abaasibirwa awamu nange, ab'amaanyi mu batume, era abansooka okubeera mu Kristo.
8 Mulamuse Ampuliyaato, gwe njagala mu Mukama waffe.
9 Mulamuse Ulubano, akolera awamu naffe mu Kristo, ne Sutaku gwe njagala.
10 Mulamuse Apere akkirizibwa mu Kristo. Mubalamuse ab'omu nnyumba ya Alisutobulo.
11 Mulamuse Kerodiyoni, ow'ekika kyange. Mubalamuse ab'omu nnyumba ya Nalukiso, abali mu Mukama waffe.
12 Mulamuse Terufayina ne Terufoosa abaakola emirimu mu Mukama waffe. Mulamuse Perusi omwagalwa, eyakola emirimu emingi mu Mukama waffe.
13 Mulamuse Luufo, eyalondebwa mu Mukama waffe, ne nnyina, ye mmange.
14 Mulamuse Asunkulito, Fulegoni, Kerume, Patuloba, Keruma, n'ab'oluganda abali awamu nabo.
15 Mulamuse Firologo ne Yuliya, Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa, n'abatukuvu bonna abali awamu nabo.
16 Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu. Ekkanisa zonna eza Kristo zibalamusizza.
17 Era mbeegayiridde, ab'oluganda, mutunuulirenga abo abaleeta eby'okwawukanya n'eby'okwesittaza, ebitali bya kuyigiriza kwe mwayiga: mubakubenga amabega abo.
18 Kubanga abaliŋŋanga abo si baddu ba Mukama waffe Kristo, naye ba mbuto zaabwe bokka; era n'ebigambo ebirungi n'eby'okunyumya obulungi balimbalimba emitima gy'abo abatalina kabi.
19 Kubanga okuwulira kwammwe kwabuna mu bonna. Kyenvudde mbasanyukira mmwe: naye njagala mmwe okubeeranga abagezi mu bulungi, era abasirusiru mu bubi.
20 Era Katonda ow'emirembe alibetenta Setaani wansi w'ebigere byammwe mangu. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
21 Timoseewo, akolera awamu nange, abalamusizza; ne Lukiyo ne Yasooni ne Sosipateri, ab'ekika kyange.
22 Nze Terutiyo, awandiise ebbaluwa eno, mbalamusizza mu Mukama waffe.
23 Gayo, ansuza nze n'ekkanisa yonna, abalamusizza. Erasuto, omuwanika w'ekibuga, abalamusizza, ne Kwaluto, ow'oluganda.
24 Ekisa kya Mukama waffe Kristo Yesu Kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.
25 Era oyo ayinza okubanyweza ng'enjiri yange n'okubuulirwa kwa Yesu Kristo bwe biri, ng'ekyama bwe kibikkuddwa ekyasirikirwa okuva mu biro eby'emirembe n'emirembe,
26 naye kaakati kirabise ne kitegeezebwa amawanga gonna mu byawandiikibwa bya bannabbi, nga bwe yalagira Katonda ataggwaawo, olw'okuwulira okuva mu kukkiriza;
27 Katonda ow'amagezi omu yekka aweebwenga ekitiibwa ku bwa Yesu Kristo emirembe egitaggwaawo.