Essuula 14
1 Naye atali munywevu mu kukkiriza mumusembezenga, naye si lwa kusala musango gwa mpaka.
2 Omulala akkiriza n'okulya n'alya byonna: naye atali munywevu alya nva.
3 Alya tanyoomanga atalya; era atalya tasaliranga musango alya: kubanga Katonda yamusembeza.
4 Ggwe ani asalira omusango omuweereza wa beene? eri mukama we yekka ayimirira oba agwa. Naye aliyimirira; kubanga Mukama waffe ayinza okumuyimiriza.
5 Omuntu omulala alowooza olunaku olumu okusinga olulala, omulala alowooza ennaku zonna okwenkanankana. Buli muntu ategeererenga ddala mu magezi ge yekka.
6 Alowooza olunaku, alulowooza ku bwa Mukama waffe: n'oyo alya, alya ku bwa Mukama waffe, kubanga yeebaza Katonda; n'oyo atalya, talya ku bwa Mukama waffe, era yeebaza Katonda.
7 Kubanga tewali muntu mu ffe eyeebeerera omulamu ku bubwe yekka, era tewali eyeefiira ku bubwe yekka.
8 Kubanga bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama waffe: oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama waffe: kale, bwe tuba abalamu, oba bwe tufa, tuba ba Mukama waffe.
9 Kubanga Kristo kyeyava afa n'abeera omulamu, alyoke abeerenga Mukama w'abafu era n'abalamu.
10 Naye ggwe kiki ekikusaliza omusango muganda wo? oba naawe kiki ekikunyoomesa muganda wo? kubanga fenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ey'emisango eya Katonda.
11 Kubanga kyawandiikibwa nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, buli vviivi lirinfukaamirira, Na buli lulimi lulyatula Katonda.
12 Kale bwe kityo buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda.
13 Kale tulemenga okusalira bannaffe emisango nate fekka na fekka: naye waakiri musale omusango guno, obutaleeteranga wa luganda ekyesittaza oba nkonge.
14 Mmanyi era ntegeeredde ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kintu kya muzizo mu buwangwa bwakyo: wabula eri oyo akirowooza nga kya muzizo, kiba kya muzizo.
15 Kuba oba nga muganda wo anakuwala olw'emmere, nga tokyatambulira mu kwagala. Tomuzikirizanga lwa mmere yo oyo Kristo gwe yafiirira.
16 Kale ekirungi kyammwe kiremenga okuvumibwa:
17 kubanga obwakabaka bwa Katonda si kwe kulya n'okunywa, wabula butuukirivu na mirembe na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu:
18 Kubanga aweereza Kristo bw'ati asanyusa nnyo Katonda, n'abantu bamusiima.
19 Kale bwe kityo tugobererenga eby'emirembe, n'eby'okuzimbagananga fekka na fekka.
20 Toyonoonanga mulimu gwa Katonda lwa mmere. Byonna birungi; naye kinaabanga kibi eri oyo alya nga yeesittala.
21 Kirungi obutalyanga nnyama newakubadde okunywanga omwenge, newakubadde okukolanga byonna ebyesitazza muganda wo oba ebimunyiiza oba ebimunafuya.
22 Okukkiriza kw'olina, beeranga nakwo wekka mu maaso ga Katonda. Oyo alina omukisa ateesalira musango mu kigambo ky'asiima.
23 Naye oyo abuusabuusa azza musango bw'alya, kubanga talya mu kukkiriza; na buli ekitava mu kukkiriza, kye kibi.