Essuula 6
1 Kale tunaayogeza tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga?
2 Kitalo. Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate?
3 Oba temumanyi nga ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu nga twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe?
4 Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya.
5 Kuba obanga twagattibwa wamu naye mu kifaananyi ky'okufa kwe, era tuligattibwa ne mu kifaananyi ky'okuzuukira kwe
6 bwe tumanya kino ng'omuntu waffe ow'edda yakomererwa wamu naye, omubiri gw'ekibi gulyoke guggibwewo, tuleme okubeeranga nate abaddu b'ekibi;
7 kubanga afa nga takyaliko musango eri ekibi.
8 Naye oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nga tulibeera balamu wamu naye;
9 bwe tumanyi nga Kristo yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga.
10 Kubanga okufa kwe yafa yafa ku kibi omulundi gumu: naye obulamu bw'alina, ali nabwo eri Katonda.
11 Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
12 Kale ekibi kiremenga okufuga nu mubiri gwammwe ogufa, okuwuliranga okwegomba kwagwo:
13 so temuwangayo bitundu byanmwe eri ekibi okubanga eby'okukoza obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abaamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubanga eby'okukoza obutuukirivu eri Katonda.
14 Kubanga ekibi tekiibenga mukama wammwe; kubanga amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa.
15 Kale tukole tutya? tukolenga ekibi, kubanga amateeka si ge atufuga, wabula ekisa? Kitalo.
16 Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu b'okuwulira, muli baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ab'okuwulira okuleeta obutuukirivu?
17 Naye Katonda yeebale, kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye mwawulira mu mutima engeri eyo y'okuyigirizibwa gye mwaweebwa;
18 kale bwe mwaweebwa eddembe kuva mu kibi, ne mufuuka abaddu b'obutuukirivu.
19 Njogera mu buntu olw'obunafu bw'omubiri gwammwe: kuba nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe okuba baddu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, bwe mutyo kaakano muwengayo ebitundu byanmwe okubanga abaddu eri obutuukirivu okutukuzibwa.
20 Kubanga bwe mwabanga abaddu b'ekibi, mwabanga ba ddembe eri obutuukirivu.
21 Kale bibala ki bye mwalina mu biro biri eby'ebigambo ebibakwasa ensonyi kaakano? kubanga enkomerero yaabyo kufa.
22 Naye kaakano bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, ne mufuuka abaddu ba Katonda, mulina ebibala byammwe olw'okutukuzibwa, n'enkomerero bulamu obutaggwaawo.
23 Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaavo mu Kristo Yesu Mukama waffe.