Chapter 11
1 Isiraeri bwe yali omwana omuto, namwagala, ne mpita omwana wange okuva mu Misiri.
2 Nga bwe beeyongera okubayita, bwe batyo bwe beeyongera okubavaako: baawangayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole.
3 Era naye nayigiriza Efulayimu okutambula; nabawambaatira mu mikono gyange; naye tebaamanya nga nze nabawonya.
4 Nabawalula n'emigwa egy'omuntu, n'ebisiba eby'okwagala; era nabanga gye bali ng'abo ababaggyako ekikoligo ekiri ku mba zaabwe, ne nteeka emmere mu maaso gaabwe.
5 Talidda mu nsi y'e Misiri; naye Omwasuli ye aliba kabaka we, kubanga baagaana okudda.
6 N'ekitala kirigwa ku bibuga bye, era kirirya ebisiba bye ne kimalawo olw'okuteesa kwabwe bo.
7 Era abantu bange bamaliridde okudda ennyuma okunvaako: newakubadde nga babayita okudda eri oyo ali waggulu, tewali n'omu akkiriza okumugulumiza.
8 Naakuwaayo ntya, Efulayimu? naakugabula ntya, Isiraeri? naakufuula ntya nga Aduma? naakussaawo ntya nga Zeboyimu? omutima gwange gukyuse munda yange, okusaasira kwange kwakidde wamu.
9 Sirituukiriza busungu bwange obukambwe, siridda kuzikiriza Efulayimu: kubanga nze Katonda so siri muntu; Omutukuvu ali wakati wo: so siriyingira mu kibuga.
10 Balitambula okugoberera Mukama, naye aliwuluguma ng'empologoma: kubanga aliwuluguma, n'abaana abato balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
11 Balijja nga bakankana ng'ennyonyi eva mu Misiri, era ng'ejjiba eriva mu nsi y'e Bwasuli: era ndibatuuza mu nnyumba zaabwe, bw'ayogera Mukama.
12 Efulayimu anneetooloozezza obulimba, n'ennyumba ya Isiraeri enneetooloozezza obukuusa: naye Yuda akyafuga awali Katonda, era mwesigwa awali Omutukuvu.