Koseya

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14


Chapter 10

1 Isiraeri muzabbibu ogwera, oguleeta ebibala byagwo: ng'ebibala bye bwe byali ebingi, bw'atyo bw'ayongedde ebyoto bye; ng'ensi ye bwe yeeyongera okuba ennungi, empagi ze baakola bwe zaabanga ennungi bwe zityo.
2 Omutima gwabwe gwawukanyeemu; kaakano banaalabika omusango nga gubasinze: alikuba ebyoto byabwe, alinyaga empagi zaabwe.
3 Mazima kaakano banaayogera nti Tetulina kabaka: kubanga tetutya Mukama; ne kabaka ayinza kutukolera ki?
4 Boogera ebigambo obugambo, nga balayira eby'obulimba mu kulagaana endagaano: omusango kyeguva gumerera mu mbibiro z'ennimiro ng'omususa.
5 Abali mu Samaliya entiisa eribakwata olw'ennyana ez'e Besaveni: kubanga abantu baakyo balikiwuubaalira, ne bakabona baakyo abaakisanyukira, baliwuubaalira ekitiibwa kyakyo, kubanga kikivuddeko.
6 Era nakyo kiritwalibwa e Bwasuli okuba ekirabo kya kabaka Yalebu: Efulayimu aliweebwa ensonyi, ne Isiraeri alikwatirwa ensonyi okuteesa kwe ye.
7 Samaliya, kabaka waamu azikiridde ng'ejjovu ku mazzi.
8 Era n'ebifo ebigulumivu eby'omu Aveni, okwonoona kwa Isiraeri, birizikirizibwa: amaggwa n'amatovu galimerera ku byoto byabwe; era baligamba ensozi nti Mutubikkeko; n'obusozi nti Mutugweko.
9 Ai Isiraeri, wayonoonanga okuva ku nnaku ez'e Gibeya: baayimirira eyo; olutalo lwe balwana n'abaana ab'obujeemu luleme okubatuukirako mu Gibeya.
10 Bwe ndiba nga njagadde, ndibakangavvula; n'amawanga galikuŋŋaanyizibwa okulwana nabo, bwe balisibibwa n'okusobya kwabwe kwombi.
11 Era Efulayimu nte nduusi eyigirizibwa, eyagala okusamba eŋŋaano; naye nninnye mu bulago bwe obulungi. Nditeeka ku Efulayimu alimwebagala; Yuda alirima; Yakobo alikuba amavuunike.
12 Mwesigire mu butuukirivu, mukungule ng'okusaasira bwe kuli; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime: kubanga obudde butuuse okunoonya Mukama, okutuusa lw'alijja n'abatonnyesaako obutuukirivu.
13 Mulimye obubi, mukungudde obutali butuukirivu; mulidde ebibala eby'obulimba: kubanga weesiganga ekkubo lyo, olufulube lw'abasajja bo ab'amaanyi.
14 Okusasamala kyekuliva kubeera mu bantu bo, n'ebigo byo byonna birinyagibwa, nga Sulumaani bwe yanyaga Beswaluberi ku lunaku olw'olutalo: nnyaabwe yatandaggirwa wamu n'abaana be.
15 Era bw'atyo Beseri bw'alibakola olw'obubi bwammwe obwenkanidde awo: emmambya bw'eriba ng'esala, kabaka wa Isiraeri alizikirizibwa ddala.