Chapter 4
1 Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaana ba Isiraeri: kubanga Mukama alina empaka n'abo abali mu nsi, kubanga tewali mazima newakubadde okusaasira newakubadde okumanya Katonda mu nsi.
2 Tewali kintu wabula okulayira n'okumenya endagaano n'okutta n'okubba n'okwenda; bawaguza, n'omusaayi gukoma ku musaayi.
3 Ensi kyeriva ewuubaala, na buli muntu agituulamu aliyongobera, wamu n'ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga; weewaawo, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja biriggibwawo.
4 Era naye waleme okubaawo omuntu awakana so waleme okubaawo anenya: kubanga abantu bo bali ng'abo abawakanya kabona.
5 Era olyesittala emisana, era ne nnabbi alyesittalira wamu naawe ekiro; era ndizikiriza nnyoko.
6 Abantu bange bazikiridde olw'okubulwa okumanya: kubanga ogaanyi okumanya nange ndikugaana ggwe, olemenga okubeera kabona gye ndi: kubanga weerabidde amateeka ga Katonda wo, nange ndyerabira abaana bo.
7 Nga bwe baayala, bwe batyo bwe bannyonoona: ndiwaanyisa ekitiibwa kyabwe okuba ensonyi.
8 Ekibi ky'abantu bange ye mmere yaabwe, ne beegomba obutali butuukirivu bwabwe.
9 Awo olulituuka ng'abantu bwe bali ne kabona bw'atyo: era ndibabonereza olw'amakubo gaabwe, era ndibasasula ebikolwa byabwe.
10 Awo balirya ne batakkuta; balyenda so tebalyala: kubanga baleseeyo okussaayo omwoyo eri Mukama.
11 Obwenzi n'omwenge n'omwenge omusu bimalawo okutegeera.
12 Abantu bange beebuuza ku kikonge kyabwe, n’omuggo gwabwe gwe gubabuulira: kubanga omwoyo ogw'obwenzi gubakyamizza, era bagenze nga benda okuva wansi wa Katonda waabwe.
13 Basalira ssaddaaka ku ntikko z'ensozi, ne bootereza obubaane ku busozi, wansi w'emyalooni n'emiribine n'emyera, kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi: bawala bammwe kyebava beefuula benzi, n'abagole bammwe benda.
14 Siribonereza bawala bammwe bwe beefuula abenzi, newakubadde bagole bammwe bwe bakabawala; kubanga bo bennyini beeyawula n'abakazi abatambuzi: n'abantu abaategeera balisuulibwa.
15 Ggwe, Isiraeri, newakubadde nga weefuula omwenzi, naye Yuda aleme okusobya; so temujjanga e Girugaali, so temwambukanga e Besaveni, so temulayiranga nti Nga Mukama bw'ali omulamu.
16 Kubanga Isiraeri akoze eby'obukakanyavu ng'ente enduusi enkakanyavu: kaakano Mukama alibaliisa ng'omwana gw'endiga mu kifo ekigazi.
17 Efulayimu yeegasse n'ebifaananyi; muleke.
18 Bye banywa bikaatuuse: benda olutata; abakulu be baagala nnyo ensonyi.
19 Empewo emusaanikidde mu biwaawaatiro byayo; era balikwatibwa ensonyi olwa ssaddaaka zaabwe.