Chapter 3
1 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Genda nate, oyagale omukazi ayagalibwa mukwano gwe, era omwenzi, era nga Mukama bw'ayagala abaana ba Isiraeri, newakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala ebitole by'ezabbibu enkalu.
2 Awo ne mmwegulira ne mmuwasa n'ebitundu ebya ffeeza kkumi n'ebitaano ne komeri eya sayiri ko ekitundu eky'ekomeri eya sayiri:
3 ne mmugamba nti Olibeerera awo ku lwange ennaku nnyingi; tolyefuula mwenzi, so toliba muka musajja yenna: nange bwe ndiba bwe ntyo gy'oli.
4 Kubanga abaana ba Isiraeri balibeerera awo ennaku nnyingi nga tebalina kabaka so nga tebalina mulangira so nga tebalina ssaddaaka so nga tebalina mpagi so nga tebalina kizibawo kya kabona newakubadde baterafi:
5 oluvannyuma abaana ba Isiraeri balikomawo ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe; era balijja eri Mukama nga batya n'eri obulungi bwe mu nnaku ez'oluvannyuma.