Chapter 9
1 Tosanyuka, ai Isiraeri, n'essanyu ng'amawanga; kubanga ogenze ng'oyenda okuva ku Katonda wo, weegomba empeera ku buli gguuliro.
2 Egguuliro n'essogolero tebiribaliisa, n'omwenge omusu gulimuggwaako.
3 Tebalibeera mu nsi ya Mukama; naye Efulayimu aliddayo mu Misiri, era baliriira mu Bwasuli emmere eteri nnongoofu.
4 Tebalifuka ebiweebwayo eby'omwenge eri Mukama, so talibasanyukira: ssaddaaka zaabwe ziriba gye bali ng'emmere y'abakungubazi; bonna abanaagiryangako baliba boonoonese: kubanga emmere yaabwe eriba ya kukkutibwa bukkutibwa; teriyingira mu nnyumba ya Mukama.
5 Mulikola ki ku lunaku olw'okukuŋŋaana okutukuvu, ne ku lunaku olw'embaga ya Mukama?
6 Kubanga, laba, bagenze okuva awali okuzikirira, era naye Misiri alibakuŋŋaanya, Menfisi alibaziika: ebintu byabwe ebya ffeeza ebisanyusa emyennyango giribyemala: amaggwa galiba mu weema zaabwe.
7 Ennaku ez'okubonererezaamu zituuse, ennaku ez'okusasuliramu zituuse; Isiraeri alikimanya: nnabbi musirusiru, omusajja alina omwoyo alaluse, olw'olufulube lw'obutali butuukirivu bwo, era kubanga obulabe bungi.
8 Efulayimu yabanga mukuumi eri Katonda wange: nnabbi, ekyambika eky'omutezi w'ennyonyi kiri mu makubo ge gonna, n'obulabe mu nnyumba ya Katonda we.
9 Beeyonoonye nnyo nnyini nga mu nnaku ez'e Gibeya: alijjukira obutali butuukirivu bwabwe, alibabonereza olw'ebibi byabwe.
10 Nasanga Isiraeri ng'ezabbibu mu ddungu; nalaba bajjajjammwe ng'esooka okwengera ku mutiini mu mwaka gwagwo ogw'olubereberye: naye ne bajja e Baalipyoli, ne beeyawulira ekyo ekikwasa ensonyi, ne bafuuka ab'emizizo ng'ekyo kye bayagala.
11 Efulayimu ekitiibwa kyabwe kiribuuka; kirigenda ng'ennyonyi: tewaliba kuzaala newakubadde ali olubuto newakubadde eggwako.
12 Newakubadde nga balera abaana baabwe; era naye ndibafiisiza, ne wataba muntu asigaddewo: weewaawo, era ziribasanga bwe ndibavaako.
13 Efulayimu asimbibwa mu kifo eky'okwesiima, nga bwe nnalaba Ttuulo: naye Efulayimu alifulumya abaana be eri omussi.
14 Bawe, ai Mukama: oliwa ki? bawe olubuto olutaasa n'amabeere amakalu.
15 Obubi bwabwe bwonna buli mu Girugaali; kubanga eyo gye nnabakyayira: olw'obubi obw'ebikolwa byabwe ndibagoba mu nnyumba yange: siribaagala nate; abakungu baabwe bonna bajeemu.
16 Efulayimu afumitiddwa, ekikolo kyabwe kikaze, tebalibala bibala: weewaawo newakubadde nga bazaala, era naye nditta ekibala eky'olubuto lwabwe ekyagalwa.
17 Katonda wange alibasuula kubanga tebaamuwulira: era baliba mmomboze mu mawanga.