Danyeri

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12


Chapter 8

1 Mu mwaka ogw'okusatu mu mirembe gya Berusazza kabaka okwolesebwa ne kunjijira, nze Danyeri, okuddirira okwo okwasooka okunjijira.
2 Ne ndaba mu ebyo ebyanjolesebwa: ne kiba bwe kiti; bwe nnalaba nali mu lubiri lw’e Susani, oluli mu ssaza Eramu: ne ndaba mu ebyo ebyanjolesebwa, era nnali ku mugga Ulaayi.
3 Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, ne ndaba, era, laba, endiga ensajja eyalina amayembe abiri n'eyimirira ku mabbali g'omugga: n'amayembe ago abiri gaali mawanvu: naye erimu lyasinga linnaalyo, era eryasinga lye lyaddirira okumera.
4 Ne ndaba endiga ensajja ng'esindika eri ebugwanjuba, n'eri obukiika obwa kkono, n'eri obukiika obwa ddyo: so mpaawo nsolo ezaayinza okuyimirira mu maaso gaayo, era mpaawo eyayinza okuwonya mu mukono gwayo: naye yakolanga nga bwe yayagalanga, ne yeegulumiza.
5 Bwe nnali nkebera, laba, embuzi ensajja n'eva ebugwanjuba n'ejja ng'eyita kungulu ku nsi yonna, n'etetuuka ku ttaka: era embuzi yalina ejjembe eryalabika ennyo wakati w'amaaso gaayo.
6 N'ejjira endiga ensajja eyalina amayembe abiri, gye nnalaba ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga, n'egifubutukira amaanyi gaayo nga gagiralusizza.
7 Ne ngiraba ng'esemberedde endiga ensajja, n’egisunguwalira, n'ekuba endiga ensajja, n'emenya amayembe gaayo abiri: so n'endiga ensajja teyaliimu maanyi okuyimirira mu maaso gaayo: naye n'egimegga wansi, n'egisambirira, era mpaawo eyayinza okuwonya endiga ensajja mu mukono gwayo.
8 Embuzi ensajja ne yeegulumiza nnyo: era mu maanyi gaayo ago, ejjembe lyayo ekkulu mwe lyamenyekera: ne mu kifo kyalyo ne mumera ana agaalabika ennyo agaatunuulira empewo ennya ez'omu ggulu.
9 Ne mu limu mu ago ne auva ejjembe ettono, eryafuuka eddene ennyo, nga lyolekedde obukiika obwa ddyo, n'eri obuvanjuba, n'eri ensi ey'ekitiibwa.
10 Ne lifuuka eddene, n'okutuuka eri eggye ery'omu ggulu: n'eby'omu ggye ebimu n'emmunyeenye ezimu ne libisuula wansi, ne libisambirira.
11 Weewaawo, lyekuza lyokka, era n'okutuuka eri omukulu w'eggye: ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna, n'ekifo eky'awatukuvu we ne kisuulibwa.
12 N'eggye ne liweebwayo eri eryo awamu n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna olw'okwonoona: ne lisuula amazima wansi: ne likola nga bwe lyagala ne liraba omukisa.
13 Ne ndyoka mpulira omutukuvu ng'ayogera: n'omutukuvu omulala n'agamba oyo eyali ayogedde, nti Ebikwolesebwa eby'oku kiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna birituusa wa okubaawo, n'okwonoona okuzisa, okuwaayo awatukuvu era n'eggye okusambirirwa n'ebigere?
14 N'aŋŋamba nti Birituusa amakya n'amawungeera enkumi bbiri mu bisatu: awatukuvu ne walyoka walongoosebwa.
15 Awo, nze, ye nze Danyeri, bwe nnamala okulaba ebyanjolesebwa ebyo, ne ndyoka nnoonya okubitegeera: era, laba, ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ng'eky'omuntu.
16 Ne mpulira eddoboozi ly'omuntu wakati w'emitala w'omugga Ulaayi, eryakoowoola, ne ligamba nti Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo ebimwolesebwa.
17 Awo n’asembera we nnali nnyimiridde: era bwe yajja, ne ntya, ne nvuunama amaaso gange: naye n'aŋŋamba nti Tegeera, ggwe omwana w'omuntu: kubanga ebyolesebwa bya kiseera kya nkomerero.
18 Awo, bwe yali ayogera nange, ne nneebaka otulo tungi nga nvuunama amaaso gange: naye n'ankomako, n'annyimiriza.
19 N'ayogera nti Laba, naakutegeeza ebiribaawo mu kiseera eky'enkomerero eky'okunyiigiramu: kubanga bya kiseera kya nkomerero ekyateekebwawo.
20 Endiga ensajja gy'olabye ebadde n'amayembe abiri, be bakabaka ab'Obumeedi n'Obuperusi.
21 N'embuzi ensajja ey'ekikuzzi ye kabaka w'e Buyonaani: n'ejjembe eddene eriri wakati w'amaaso gaayo ye kabaka ow'olubereberye.
22 N'eryo erimenyese ne mu kifo kyalyo ne muyimirira ana, obwakabaka buna buliva mu ggwanga, buliyimirira, naye nga tebulina buyinza bw'oyo.
23 Ne mu kiseera eky'enkomerero eky'obwakabaka bwabwe, aboonoonyi nga batuukiridde, kabaka ow'amaaso amakambwe, era ategeera ebigambo eby'ekyama, aliyimirira.
24 N'obuyinza bwe buliba bungi, naye si lwa buyinza bwe ye: era alizikiriza kitalo, era aliraba omukisa, era alikola by'alyagala: era alizikiriza ab'amaanyi n'abantu abatukuvu.
25 Era olw'amagezi ge alyeza enkwe mu mukono gwe: era alyegulumiza mu mutima gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nga mirembe: era aliyimirira okulwanyisa omulangira w'abalangira: naye alimenyeka awatali ngalo.
26 Era ebikwolesebwa eby'amakya n'amawungeera ebibuuliddwa bya mazima: naye ggwe bikka ku bikwolesebwa: kubanga bya nnaku eziri ewala.
27 Nange Danyeri ne nzirika, ne ndwala okumala ennaku si nnyingi; ne ndyoka ngolokoka, ne nkola emirimu gya kabaka: ne nneewuunya ebyanjolesebwa, naye mpaawo eyabitegeera.