Chapter 2
1 Ne mu mwaka ogw'okubiri mu mirembe gya Nebukadduneeza Nebukadduneeza n'aloota ebirooto: omwoyo gwe ne gweraliikirira, otulo twe ne tumubula.
2 Awo kabaka n'alagira bayite abasawo n'abafumu n'emmandwa n'Abakaludaaya, okubuulira kabaka ebirooto bye. Ne bayingira ne bayimirira mu maaso ga kabaka.
3 Kabaka n'abagamba nti Ndoose ekirooto, omwoyo gwange ne gweraliikirira okutegeera ekirooto.
4 Abakaludaaya ne balyoka bagamba kabaka mu lulimi Olusuuli nti Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna: obuulire abaddu bo ekirooto, naffe tunaalaga amakulu gaakyo.
5 Kabaka n'addamu n'agamba Abakaludaaya nti Ekigambo kinvuddeko: bwe mutantegeeze ekirooto n'amakulu gaakyo, munaatemebwatemebwa, n'ennyumba zammwe zirifuuka mmungo.
6 Naye bwe munaalaga ekirooto n'amakulu gaakyo, munaaweebwa nze ebirabo n'empeera n'ekitiibwa kingi: kale mundage ekirooto n'amakulu gaakyo.
7 Ne baddamu omulundi ogw'okubiri ne boogera nti Kabaka abuulire abaddu be ekirooto, naffe tunaalaga amakulu.
8 Kabaka n'addamu n'ayogera nti Ntegeeredde ddala nga mwagala okufuna ebbanga, kubanga mulabye ng'ekigambo kinvuddeko.
9 Naye bwe mutantegeeze ekirooto, waliwo etteeka limu gye muli: kubanga muteeseteese okulimba n'ebigambo ebivundu okwogera mu maaso gange okutuusa ebiro lwe biriwaanyisibwa: kale mumbuulire ekirooto, nange ndyoke ntegeere nga muyinza okundaga amakulu gaakyo.
10 Abakaludaaya ne baddiramu mu maaso ga kabaka, ne boogera nti Tewali muntu mu nsi n'omu ayinza okulaga ekigambo kya kabaka: kubanga tewali kabaka newakubadde omukungu newakubadde owessaza eyali abuuzizza ekigambo ekifaanana bwe kityo omusawo yenna newakubadde omufumu yenna newakubadde Omukaludaaya yenna.
11 Era ekigambo kino tekirabwanga kabaka ky'awaliriza, so tewali ayinza okukiraga mu maaso ga kabaka, wabula bakatonda abatatuula na balina emibiri.
12 Kabaka kyeyava asunguwala ne yeejuumuula nnyo, n'alagira okutta abagezigezi bonna ab'e Babulooni.
13 Etteeka ne liteekebwa, abagezigezi ne bagenda okubatta: ne banoonya Danyeri ne banne okubatta.
14 Awo Danyeri n'addamu n'amagezi n'obukabakaba Aliyooki omwami wa baserikale ba kabaka, eyajja okutta abagezigezi ab'e Babulooni:
15 n'addamu n'agamba Aliyooki omwami wa kabaka nti Kiki ekyanguyiriza bwe kityo etteeka eriva eri kabaka? Aliyooki n'alyoka ategeeza Danyeri ekigambo ekyo.
16 Danyeri n'ayingira ne yeegayirira kabaka okumuteekerawo olunaku, naye ng'aliraga kabaka amakulu.
17 Awo Danyeri n'agenda mu nnyumba ye, n'ategeeza ekigambo ekyo Kananiya, Misayeri ne Azaliya, banne:
18 basabe Katonda ow'omu ggulu okubasaasira olw'ekyama ekyo: Danyeri ne banne baleme okuzikirira awamu n'abagezigezi abalala ab'e Babulooni.
19 Ekyama ne kiryoka kibikkulirwa Danyeri mu kwolesebwa okw'ekiro. Danyeri n'alyoka yeebaza Katonda ow'omu ggulu.
20 Danyeri n'addamu n'agamba nti Lyebazibwenga erinnya lya Katonda emirembe n'emirembe: kubanga amagezi n'amaanyi gage:
21 era oyo ye awaanyisa ebiro n'ebiseera: aggyawo bakabaka, era assaawo bakabaka: awa amagezi abagezigezi, n'okumanya eri abo abamanyi okutegeera:
22 abikkula ebigambo eby'obuziba eby'ekyama: ebiri mu kizikiza abimanyi, era omusana gubeera naye.
23 Nkwebaza, nkutendereza, ai ggwe Katonda wa bajjajjange, ampadde amagezi n'amaanyi, era antegeezezza kaakano bye twakusabye: kubanga otutegeezezza ekigambo kya kabaka.
24 Danyeri kyeyava ayingira eri Aliyooki, kabaka gwe yali ateeseewo okuzikiriza abagezigezi ab'e Babulooni: n'agenda n'amugamba bw'ati nti Tozikiriza bagezigezi ab'e Babulooni: nnyingiza mu maaso ga kabaka, nange naalaga kabaka amakulu.
25 Awo Aliyooki n'ayanguwa n'ayingiza Danyeri mu maaso ga kabaka, n'amugamba bw'ati nti Ndabye omusajja ow'omu baana ab'omu bunyage bwa Yuda, anaategeeza kabaka amakulu.
26 Kabaka n'addamu n'agamba Danyeri, erinnya lye Berutesazza, nti Ggwe oyinza okuntegeeza ekirooto kye nnalaba, n'amakulu gaakyo?
27 Danyeri n'addiramu mu maaso ga kabaka, n'ayogera nti Ekyama kabaka ky'awalirizza, abagezigezi tebayinza kukiraga kabaka newakubadde abafumu newakubadde abasawo newakubadde abalaguzi:
28 naye waliwo Katonda mu ggulu abikkula ebyama, era ategeezezza kabaka Nebukadduneeza ebiribaawo mu nnaku ez'enkomerero. Ekirooto kyo, era omutwe gwo bye gwayolesebwa ku kitanda kyo, bye biibino
29 ggwe, ai kabaka, ebirowoozo byo ne bikujjira ku kitanda kyo, ebiribaawo oluvannyuma: naye abikkula ebyama akutegeezezza ebiribaawo.
30 Naye nze ekyama kino tekimbikkuliddwa nze olw'amagezi gonna ge nnina okusinga omuntu yenna omulamu, naye kyekivudde kimbikkulirwa kabaka ategeezebwe amakulu, naawe otegeere ebirowoozo eby'omu mutima gwo.
31 Ggwe, ai kabaka, watunula, era, laba, ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo, eky'amaanyi, ekyamasamasa ennyo nnyini ne kiyimirira mu maaso go: n'engeri yaakyo ya ntiisa.
32 Ekifaananyi ekyo, omutwe gwakyo gwa zaabu nnungi, ekifuba kyakyo n'emikono gyakyo bya ffeeza, olubuto lwakyo n'ebisambi byakyo bya kikomo, amagulu gaakyo ga kyuma,
33 ebigere byakyo ekitundu kya kyuma, n'ekitundu kya bbumba.
34 Watunula okutuusa ejjinja lwe lyatemebwa awatali ngalo, ne likuba ekifaananyi ebigere eby'ekyuma n'ebbumba, ne libimenyaamenya.
35 Ekyuma, n'ebbumba n'ekikomo, ne ffeeza, ne zaabu ne biryoka bimenyekamenyekera wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro ekyanda nga kituuse: empewo ne zibitwalira ddala bwe zityo n'okulaba ne bitalaba bbanga: n'ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi zonna.
36 Ekirooto kye kiikyo: era tunaayatula amakulu gaakyo mu maaso ga kabaka.
37 Ggwe, ai kabaka, oli kabaka wa bakabaka, Katonda ow'eggulu gwe yawa obwakabaka, n'obuyinza, n'amaanyi, n'ekitiibwa:
38 era abaana b'abantu gye batuula yonna, yagaba ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu ggulu mu mukono gwo, era yakubifuza ggwe byonna: ggwe oli mutwe gwa zaabu.
39 Era walikuddirira obwakabaka obulala, bw'osinga ggwe, bulibaawo: n'obwakabaka obulala obw'okusatu obw'ekikomo obulifuga ensi zonna.
40 N'obwakabaka obw'okuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma: kubanga ekyuma kimenyaamenya ebintu byonna, era kibijeemulula: era ng'ekyuma ekibetenta ebyo byonna, bwe bulimenyaamenya bwe bulibetenta bwe butyo.
41 Era kubanga walaba ebigere n'obugere, ekitundu kya bbumba ery'omubumbi, n'ekitundu kya kyuma, obwakabaka buliba bwawulemu: naye muliba mu bwo ku maanyi g'ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery'ettosi.
42 Era ng'obugere bwe bwali ekitundu kya kyuma, n'ekitundu kya bbumba, era n'obwakabaka bwe buliba bwe butyo, ekitundu kya maanyi, n'ekitundu kimenyefu.
43 Era kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery'ettosi, balyetabula n'ezzadde ly'abantu: naye tebaligattagana bokka na bokka, era ng'ekyuma bwe kiteetabula na bbumba.
44 Era mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow'eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n'okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.
45 Kubanga walaba ejjinja nga lyatemebwa mu lusozi awatali ngalo, era nga lyamenyaamenya ekyuma, n'ekikomo, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu: Katonda omukulu ategeezezza kabaka ebiribaawo oluvannyuma: era ekirooto kya mazima ddala, n'amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.
46 Awo kabaka Nebukadduneeza n'alyoka avuunama amaaso ge n'asinza Danyeri, n'alagira okumuwa ssaddaaka n'omugavu.
47 Kabaka n'addamu Danyeri n'ayogera nti Mazima Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama wa bakabaka; era ye mubikkuzi w'ebyama, kubanga oyinzizza okubikkula ekyama ekyo.
48 Kabaka n'alyoka afuula Danyeri omukulu, n'amuwa ebirabo bingi ebinene, n'amuwa okufuga essaza lyonna ery'e Babulooni, era okuba omwami omukulu ow'abagezigezi bonna ab'e Babulooni.
49 Danyeri n'asaba kabaka, n'akuza Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mu bigambo eby'essaza ery'e Babulooni: naye Danyeri n'abeera mu wankaaki wa kabaka.