Chapter 7
1 Mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Berusazza kabaka w'e Babulooni Danyeri n'aloota ekirooto n'omutwe gwe bye gwayolesebwa ku kitanda kye: n'alyoka awandiika ekirooto n'ayatula ebigambo nga bigattibwa wamu.
2 Danyeri n'ayogera nti Natunuulira mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era laba, empewo ez'omu ggulu ennya ne ziwamatuka ku nnyanja ennene.
3 N'ensolo nnya ennene ne ziva mu nnyanja ne zirinnya, ezitafaanana zokka na zokka.
4 Ey'olubereberye yaliŋŋanga mpologoma, era ng'erina ebiwaawaatiro by'empungu: ne ntunula okutuusa ebiwaawaatiro byayo lwe byamaanyibwa, n'eyimusibwa okuva ku nsi, n'eyimirizibwa n'ebigere bibiri ng'omuntu, n'eweebwa omutima gw'omuntu.
5 Era, laba ensolo endala, ey'okubiri, yaliŋŋanga ddubu, era yali egulumizibwa ku lubiriizi lumu, n'embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo amannyo nga gazikutte: ne bagigamba bwe bati nti Golokoka, olye ennyama ennyingi.
6 Oluvannyuma lw'ebyo ne ntunula, era, laba, endala, ng'engo, eyalina ebiwaawaatiro ebina eby'ennyonyi ku mabega gaayo: era ensolo yalina n'emitwe ena: n'eweebwa okufuga.
7 Oluvannyuma lw'ebyo ne ntunula mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ensolo ey'okuna, ey'entiisa era ey'obuyinza, era ey'amaanyi amangi ennyo: era yalina amannyo amanene ag'ekyuma: yalya, n'emenyaamenya, n'esambirira ebyasigalawo n'ebigere byayo: era teyafaanana ng'ensolo zonna ezaagisooka: era yalina amayembe kkumi.
8 Nakebera amayembe, era, laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne mu maaso gaalyo asatu ku mayembe ag'olubereberye ne gasimbulirwa ddala: era, laba, mu jjembe eryo mwalimu amaaso ng'amaaso g'omuntu, n'akamwa akoogera ebikulu.
9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n'omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n'atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng'omuzira; n'enviiri ez'oku mutwe gwe ng'ebyoya by'endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka.
10 Omugga gw'omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n'enkumi baamuweereza, n'obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa.
11 Ne ntunula mu biro ebyo olw'eddoboozi ery'ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n'omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n'eweebwayo okwokebwa omuliro.
12 N'ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n'ekiseera.
13 Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng'omwana w'omuntu n'ebire eby'omu ggulu, n'ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge.
14 N'aweebwa okufuga, n'ekitiibwa, n'obwakabaka, abantu bonna, amawenga n'ennimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw'emirembe gyonna okutaliggwaawo, n'obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.
15 Nange Danyeri, omwoyo gwange ne gunakuwala wakati mu mubiri gwange, n'ebyo omutwe gwange bye gwayolesebwa ne binneeraliikiriza:
16 Ne nsemberera omu ku abo abaali bayimiridde okumpi, ne mmubuuza amazima g'ebyo byonna. Awo n'ambuulira, n'antegeeza amakulu g'ebyo.
17 Ensolo ezo ennene, ezaali ennya, be bakabaka abana, abaliva mu nsi.
18 Naye abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo baliweebwa obwakabaka, era balirya obwakabaka emirembe n'emirembe; era n'okutuusa emirembe gyonna.
19 Ne ndyoka njagala okumanya amazima g'ensolo ey'okuna, etaafaanana ng'ezo zonna, ey'entiisa ennene, amannyo gaayo ga kyuma, n'enjala zaayo za kikomo: eyalya, n'emenyaamenya, n'esambirira ebyasigalawo n'ebigere byayo:
20 n'agayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, n'eddala eryamera, asatu ne gagwa mu maaso gaalyo: lye jjembe eryo eryalina amaaso, n'akamwa akayogera ebikulu, obukanu bwalyo bwasinga gannaago obugumu.
21 Ne ntunula, ejjembe eryo ne lirwana n'abatukuvu, ne libasinga:
22 okutuusa omukadde eyaakamala ennaku ennyingi lwe yajja, omusango ne gubasalirwa abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo; ebiro ne bituuka abatukuvu ne balya obwakabaka.
23 N'ayogera bw'ati nti Ensolo ey'okuna eriba bwakabaka obw'okuna mu nsi, obutalifaanana ng'obwakabaka bwonna, era obulirya ensi zonna, era obulizisambirira, era obulizimenyaamenya.
24 N'amayembe ago ekkumi, mu bwakabaka obwo muliva bakabaka kkumi abaligolokoka: n'omulala alibaddirira aligolokoka: naye talifaanana ng'ab'olubereberye, naye aliggyawo bakabaka basatu.
25 Era alyogera ebigambo ebibi eri Oyo Ali waggulu ennyo, era aliteganya abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo: era alirowooza okuwaanyisa ebiseera n'amateeka: era biriweebwayo mu mukono gwe okutuusa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera lwe biriggwaawo.
26 Naye omusango gulibaawo, era balimuggyako okufuga kwe, okukumalawo n'okukuzikiriza okutuusa enkomerero.
27 N'obwakabaka n'okufuga n'obukulu obw'obwakabaka obuli wansi w'eggulu lyonna, abantu ab'abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo balibiweebwa: obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n'amatwale gonna galimuweereza galimuwulira.
28 Ekigambo ekyo we kikoma wano. Nange Danyeri, ebirowoozo byange byanneeraliikiriza nnyo, n'amaaso gange ne gawaanyisibwa gye ndi: naye ne nzisa ekigambo ekyo mu mutima gwange.