Danyeri

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12


Chapter 5

1 Berusazza kabaka yafumbira embaga ennene abaami be lukumi, n'anywera omwenge mu maaso g'abo olukumi.
2 Berusazza, bwe yali ng'alega ku mwenge, n'alagira okuleeta ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi: kabaka n'abaami be, abakyala be n'abazaana be, babinywese.
3 Awo ne baleeta ebintu ebya ffeeza ebyaggibwa mu yeekaalu ey'ennyumba ya Katonda eyali mu Yerusaalemi: ne kabaka n'abaami be, abakyala be n'abazaana be, ne babinywesa.
4 Ne banywa omwenge, ne batendereza bakatonda aba zaabu n'aba ffeeza, ab'ebikomo, ab'ebyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja.
5 Mu ssaawa eyo ne walabika engalo z'omukono gw'omuntu, ne ziwandiika mu maaso g'ettabaaza ku ttaka ery'oku kisenge eky'olubiri: kabaka n'alaba ekitundu ky'omukono nga kiwandiika.
6 Awo amaaso ga kabaka ne gawaanyisibwa gy'ali, n'ebirowoozo bye ne bimweraliikiriza: n'ennyingo ez'omu kiwato kye ne ziddirira, n'amaviivi ge ne gakubagana.
7 Kabaka n'ayogerera waggulu okuyingiza abafumu, n'Abakaludaaya, n'abalaguzi. Kabaka n'ayogera n'agamba abagezigezi ab'e Babulooni nti Buli anaasoma okuwandiika kuno, era anandaga amakulu gaakwo, alyambazibwa olw'effulungu, era aliba n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, era aliba mukulu ow'okusatu mu bwakabaka.
8 Awo ne muyingira abagezigezi bonna aba kabaka: naye ne batayinza kusoma kuwandiika okwo, newakubadde okutegeeza kabaka amakulu.
9 Kabaka Berusazza n'alyoka yeeraliikirira nnyo, amaaso ge ne gawaanyisibwa gy'ali: abaami be ne babulwa amagezi.
10 Awo kaddulubaale n'ayingira mu nju ey'embaga olw'ebigambo bya kabaka n'abaami be; kaddulubaale n'ayogera nti Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna: ebirowoozo byo bireme okukweraliikiriza, so n'amaaso go galeme okuwaanyisibwa:
11 waliwo omusajja mu bwakabaka bwo, omuli omwoyo gwa bakatonda abatukuvu: ne mu mirembe gya kitaawo omusana n'okutegeera n'amagezi, ng'amagezi ga bakatonda, byalabikira mu oyo: ne kabaka Nebukadduneeza kitaawo, kabaka, kitaawo, n'amufuula omukulu w'abasawo, n'abafumu, n'Abakaludaaya, n'abalaguzi:
12 kubanga omwoyo omulungi ennyo, n'okumanya, n'okutegeera, n'okulootolola ebirooto, n'okulaga ebigambo eby'ekyama, n'okuzingulula ebyabuusibwabuusibwa, byalabikira mu Danyeri oyo, kabaka gwe yatuuma Berutesazza. Kale bayite Danyeri, naye anaalaga amakulu.
13 Awo Danyeri n'alyoka ayingizibwa mu maaso ga kabaka. Kabaka n'ayogera n'agamba Danyeri nti Ggwe Danyeri oyo, ow'omu baana ab'obunyage bwa Yuda, kabaka kitange be yaggya mu Yuda?
14 Nkuwuliddeko, ng'omwoyo gwa bakatonda guli mu ggwe, era ng'omusana n'okutegeera n'amagezi amalungi ennyo birabikira mu ggwe.
15 Ne kaakano abagezigezi, abafumu, bayingizibbwa mu maaso gange, basome okuwandiika okwo, era bantegeeze amakulu gaakwo: naye ne batayinza kulaga makulu ga kigambo ekyo.
16 Naye ggwe nkuwuliddeko, ng'oyinza okulootolola n'okuzingulula ebibuusibwabuusibwa: kale bw'onooyinza okusoma ebiwandiikiddwa ebyo, n'okuntegeeza amakulu gaabyo, onooyambazibwa olw'effulungu, era oliba n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwo, era oliba mukulu ow'okusatu mu bwakabaka.
17 Awo Danyeri n'addamu n'ayogerera mu maaso ga kabaka nti Ebirabo byo beera nabyo ggwe, n'empeera yo ogiwe omulala: era naye naasomera kabaka ebiwandiikiddwa, ne mmutegeeza amakulu.
18 Ai ggwe kabaka, Katonda Ali waggulu ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, n'obukulu:
19 era olw'obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna, amawanga, n'ennimi ne bakankana ne batya mu masao ge: yattanga gwe yayagalanga okutta; era yalamyanga gwe yayagalanga okulamya; era yagulumizanga gwe yayagalanga okugulumiza, era yatoowazanga gwe yayagalanga okutoowaza.
20 Naye omutima gwe bwe gwegulumiza, n'omwoyo gwe ne gukakanyala bw'atyo n'okukola n'akola eby'amalala, n'alyoka agobebwa ku ntebe ye ey'obwakabaka, ne bamuggyako ekitiibwa kye:
21 n'agobebwa okuva mu baana b'abantu: n'omutima gwe ne gufuusibwa ng'ogw'ensolo, n'abeera wamu n'entulege n'aliisibwa omuddo ng'ente, omubiri gwe ne gutoba omusolo ogw'omu ggulu: okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali waggulu ennyo ye afuga mu bwakabaka bw'abantu, era ng'akuza ku bwo buli gw'ayagala.
22 Naawe omwana we, ai Berusazza, tonnatoowaza mutima gwo, newakubadde nga wamanya ebyo byonna:
23 naye weegulumiza eri Mukama w'eggulu: ne baleeta ebintu eby'omu nnyumba ye mu maaso go, naawe n'abaami bo, abakyala bo n'abazaana bo, ne mubinywesa omwenge: n'otendereza bakatonda aba ffeeza, n'aba zaabu, ab'ebikomo, ab'ebyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja, abatalaba, so tebawulira, so tebategeera: ne Katonda oyo alina omukka gwo mu mukono gwe, era nannyini makubo go gonna, tomuwa kitiibwa:
24 ekitundu ky'omukono ne kiryoka kitumibwa okuva mu maaso ge, n'ebiwandiikiddwa ebyo ne biwandiikibwa.
25 Era ebiwandiikiddwa bye biibino, nti MENE, MENE, TEKEL, UFARSIN.
26 Amakulu g'ekigambo ge gano: MENE; Katonda abaze obwakabaka bwo, era abukomezza.
27 TEKEL; ogereddwa mu kigera, era olabise nga obulako.
28 PERES; obwakabaka bwo bugabiddwa, buweereddwa eri Abameedi n'Abaperusi.
29 Berusazza n'alyoka alagira, ne bayambaza Danyeri olw'effulungu, n'amwambika omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, n'alangirira ku ye nga ye anaabanga omukulu ow'okusatu mu bwakabaka.
30 Mu kiro ekyo Berusazza kabaka Omukaludaaya n'attibwa.
31 Daliyo Omumeedi n'aweebwa obwakabaka, bwe yali nga yaakamaze emyaka nga nkaaga mu ebiri.