Chapter 12
1 Era mu biro ebyo Mikayiri aliyimirira, omulangira omukulu ayimiririra abaana b'abantu bo: era waliba ekiseera eky'okunakuwaliramu, ekitabangawo kasooka wabaawo eggwanga okutuusa ku biro ebyo: era mu biro ebyo abantu bo baliwonyezebwa, buli alirabika nga yawandiikibwa mu kitabo.
2 Era bangi ku abo abeebaka mu nfuufu ey'oku nsi balizuukuka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n'abamu eri ensonyi n'okunyoomebwa okutaggwaawo.
3 N'abo abalina amagezi balyakaayakana ng'okumasamasa okw'omu bbanga: n'abo abakyusa abangi eri obutuukirivu ng'emmunyeenye emirembe n'emirembe.
4 Naye ggwe, Danyeri, bikka ku bigambo, osse akabonero ku kitabo, okutuusa ekiseera eky'enkomerero: bangi abaliddiŋŋana embiro, n'okumanya kulyeyongera.
5 Nze Danyeri ne ndyoka ntunula, era, laba, abalala babiri nga bayimiridde, omu ku lubalama lw'omugga emitala w'eno, n'omulala ku lubalama lw'omugga emitala w'eri.
6 N'omu n'agamba omusajja ayambadde bafuta, eyali waggulu w'amazzi g'omugga, nti Eby'ekitalo ebyo birituusa wa okukoma?
7 Ne mpulira omusajja ayambadde bafuta, eyali waggulu w'amazzi g'omugga, ng'agolola omukono gwe ogwa ddyo n'omukono gwe ogwa kkono eri eggulu, n'alayira oyo abeera omulamu emirembe gyonna, nga birituusa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera: era bwe balimalira ddala okumenyaamenya amaanyi ag'abantu abatukuvu, ebyo byonna ne biryoka biggwaawo:
8 Ne mpulira, naye ne sitegeera: ne ndyoka njogera nti Ai Mukama wange, ebiriva mu ebyo biriba bitya?
9 N'ayogera nti Kwata amakubo go Danyeri: kubanga ebigambo bibikkiddwako era bissibbwako akabonero okutuusa ekiseera eky'enkomerero.
10 Bangi abalyerongoosa, abalyetukuza, abaliwoomezebwa: naye ababi balikola ebibi: so ku babi tekuliba abalitegeera: naye abo abalina amagezi balitegeera.
11 Era kasooka ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna kiggibwawo, eky'omuzizo ekizikiriza ne kiyimirizibwa, walibaawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda.
12 Alina omukisa alindirira n'atuuka ku nnaku olukumi mu ebisatu mu asatu mu ettaano.
13 Naye ggwe kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero lw'eribaawo: kubanga oliwummula, era oliyimirira mu mugabo gwo, ennaku bwe zirikoma.