Essuula 7
1 Kale bwe tulina ebyasuubizibwa ebyo, abaagalwa, twenaazengako obugwagwa bwonna obw'omubiri n'obw'omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.
2 Mutukkirize: tetwonoonanga muntu yenna, tetuguliriranga muntu yenna, tetulyazaamaanyanga muntu yenna:
3 Soogedde kubanenya: kubanga edda nnayogera nga muli mu mitima gyaffe okufiira awamu nammwe n'okubeera abalamu awamu nammwe.
4 Njogera n'obuvumu bungi eri mmwe, nneenyumiriza nnyo ku lwammwe: njijudde nnyo essanyu, nsukkiridde okujaguza mu bibonoobono byaffe byonna.
5 Kubanga era bwe twajja mu Makedoni, omubiri gwaffe ne gutalaba kuwummula n'akatono, naye ne tubonaabona eruuyi n'eruuyi; ebweru yaliyo entalo, munda mwalimu okutya.
6 Naye asanyusa abawombeefu ye Katonda, n'atusanyusa ffe, olw'okujja kwa Tito;
7 so si lwa kujja kwe kwokka, era naye olw'okusanyusibwa kwe yasanyusibwa mu mmwe, bwe yatubuulira okwegomba kwammwe, okunakuwala kwammwe, okunyiikira kwammwe ku lwange; nange kyennava nneeyongera okusanyuka.
8 Kuba newakubadde nga nnabanakuwaza n'ebbaluwa yange, sejjusa, newakubadde nga namala okwejjusa; kubanga ndabye ng'ebbaluwa eyo yabanakuwaza, newakubadde nga yabanakuwaza kaseera.
9 Kaakano nsanyuse, sisanyuse kubanga mwanakuwazibwa, naye kubanga mwanakuwala n'okwenenya ne mwenenya: kubanga mwanakuwala eri Katonda, muleme okufiirwa mu kigambo kyonna ku bwaffe.
10 Kubanga okunakuwala eri Katonda kuleeta okwenenya okw'obulokozi okutejjusibwa: naye okunakuwala okw'omu nsi kuleeta okufa.
11 Kubanga, laba, okunakuwala okwo eri Katonda nga kwabaleetera okufuba okungi, era n'okuwoza ensonga yammwe, era n'okusunguwala, era n'okutya, era n'okwegomba, era n'okunyiikira, era n'okuwalana eggwanga! Mu byonna mwetegeeza nga muli balongoofu mu kigambo ekyo.
12 Kale newakubadde nga nnabawandiikira, ssaawandiika ku lw'oyo eyakola obubi; newakubadde ku lw'oyo eyakolwa obubi, wabula okunyiikira kwammwe ku lwaffe kulyoke kulabisibwe eri mmwe mu maaso ga Katonda.
13 Kyetwava tusanyusibwa: ne mu kusanyusibwa kwaffe, ne tweyongera nnyo okusanyuka olw'essanyu lya Tito, kubanga omwoyo gwe gwawummuzibwa mmwe mwenna.
14 Kuba oba nga nneenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe eri oyo, ssaakwatibwa nsonyi; naye nga bwe twababuulira byonna mu mazima, era bwe kutyo n'okwenyumiriza kwaffe eri Tito kwali kwa mazima.
15 N'okwagala kwe okw'omunda kweyongera nnyo nnyini okubeera gye muli, ng'ajjukira okugonda kwammwe mwenna, bwe mwamusembeza n'okutya n'okukankana.
16 Nsanyuse kubanga mu byonna nguma omwoyo mu mmwe.