2 Abakkolinso

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13


Essuula 6

1 Era bwe tukolera emirimu awamu naye tubeegayirira obutaweerwa bwereere kisa kya Katonda
2 (kubanga ayogera nti Mu biro eby'okukkirizibwamu nnakuwulira, Ne ku lunaku olw'obulokozi nnakuyamba: laba, kaakano bye biro eby'okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw'obulokozi):
3 nga tetuleeta nkonge yonna mu kigambo kyonna, okuweereza kwaffe kulemenga okunenyezebwa;
4 naye mu byonna nga twetendereza ng'abaweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi, mu bibonoobono, mu kwetaaga, mu nnaku,
5 mu kukubibwa, mu kusibibwa, mu kukaayana, mu kufuba, mu kutunula, mu kusiiba;
6 mu bulongoofu, mu kutegeera, mu kugumiikiriza, mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, mu kwagala okutaliimu bunnanfuusi;
7 mu kigambo eky'amazima, mu maanyi ga Katonda; olw'ebyokulwanyisa eby'obutuukirivu mu mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono,
8 olw'ekitiibwa n'olw'okunyoomebwa, elw'okuvumibwa n'olw'okusiimibwa; ng'abalimba, era naye ab'amazima;
9 ng'abatategeerebwa, era naye abategeerebwa ennyo; ng'abafa, era, laba, tuli balamu; ng'ababonerezebwa, era ne tutattibwa;
10 ng'abanakuwala, naye abasanyuka bulijjo; ng'abaavu, naye abagaggawaza abangi; ng'abatalina kintu, era naye abalina ddala byonna.
11 Akamwa kaffe kaasamiddwa eri mmwe, Abakkolinso, omutima gwaffe gugaziye.
12 Temufunze mu ffe, naye mufunze mu myoyo gyammwe.
13 Naye mulyoke munsasule bwe mutyo (mbabuulira ng'abaana bange), nammwe mugaziwe.
14 Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n'obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n'ekizikiza?
15 Era Kristo atabagana atya ne Beriyali? oba mugabo ki eri omukkiriza n'atali mukkiriza?
16 Era yeekaalu ya Katonda yeegatta etya n'ebifaananyi? kubanga ffe tuli yeekaalu ya Katonda omulamu; nga Katonda bwe yayogera nti Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.
17 Kale Muve wakati w'abo, mweyawule, bw'ayogera Mukama: So temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nange ndibasembeza.
18 Era nnaabeeranga Kitammwe gye muli, Nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, bw'ayogera Mukama Omuyinza w'ebintu byonna.