Essuula 12
1 Kiŋŋwanidde okwenyumiriza, newakubadde nga tekusaana; naye ka ŋŋende mu kwolesebwa n'okubikkulirwa kwa Mukama waffe.
2 Mmanyi omuntu mu Kristo, eyaakamala emyaka ekkumi n'ena (oba mu mubiri, ssimanyi; oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amanyi), okutwalibwa omuntu ali bw'atyo mu ggulu ery'okusatu.
3 Era, mmanyi omuntu ali bw'atyo (oba mu mubiri, oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amanyi),
4 bwe yatwalibwa mu lusuku lwa Katonda, n'awulira ebigambo ebitayogerekeka, ebitasaanira muntu kubyatula.
5 Ku bw'omuntu ali bw'atyo nneenyumirizanga: naye ku bwange ssiryenyumiriza, wabula mu by'obunafu bwange.
6 Kuba singa nayagala okwenyumirizanga, ssandibadde musirusiru; kubanga nandyogedde amazima: naye ndeka, omuntu yenna alemenga okundowooza okusinga bw'andaba oba bw'ampulira.
7 N'olw'obukulu obusinga ennyo obw'ebyo ebyabikkulibwa, nnemenga okugulumizibwa ennyo, kyennava mpeebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okunkubanga, nnemenga okugulumizibwa ennyo.
8 Olw'ekigambo ekyo nneegayirira Mukama waffe emirundi esatu, kinveeko.
9 N'aŋŋamba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu. Kyennaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze.
10 Kyenva nsanyukira eby'obunafu, okugirirwanga eky'ejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi.
11 Nfuuse musirusiru: mmwe mwampaliriza; kubanga nnagwanira okutenderezebwa mmwe; kubanga ssaasingibwa mu kigambo kyonna abatume abakulu ennyo, newakubadde nga nze siri kintu.
12 Mazima obubonero obw'omutume bwakolerwanga ewammwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero n'eby'amagero n'eby'amaanyi.
13 Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingiramu, wabula nze nzekka obutabazitoowereranga? munsonyiwe ekyonoono ekyo.
14 Laba, omulundi ogw'okusatu kaakano nneeteeseteese okujja gye muli; so siribazitoowerera: kubanga sinoonya byammwe, wabula mmwe: kubanga tekigwanira abaana okuterekeranga abakadde, wabula abakadde okuterekeranga abaana.
15 Era ndiwaayo era ndiweebwayo n'essanyu eringi olw'obulamu bwammwe. Bwe nsinga okubaagala ennyo, njagalibwa katono?
16 Naye si musango, nze ssaabazitoowerera, naye, bwe nnali omugerengetanya, nabateega mu lukwe.
17 Omuntu yenna gwe nnabatumira nnamufunya amagoba eri mmwe?
18 Nnabuulirira Tito, ne ntuma ow'oluganda awamu naye. Tito yafuna amagoba eri mmwe? tetwatambula n'Omwoyo omu? tetwatambulira mu kisinde kimu?
19 Obw'edda mulowoozezza nga ffe tubawoleza ensonga. Mu maaso ga Katonda twogerera mu Kristo. Naye byonna, abaagalwa, bya kubazimba mmwe.
20 Kubanga ntidde, bwe ndijja, mpozzi okubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe muleme okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; mpozzi okubeera eyo okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okulyolyoma, okugeya, okwegulumiza, okujeema;
21 bwe ndijja nate, Katonda wange aleme okuntoowaza eri mmwe, nange okubanakuwalira abangi abaayonoona edda ne bateenenya obugwagwa n'obwenzi n'obukaba bwe baakola.