2 Abakkolinso

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13


Essuula 13

1 Kaakano njija gye muli omulundi ogw'okusatu. Mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kirinywera.
2 Nnalaalika era ndaalika, nga bwe nnakola bwe nnali eyo omulundi ogw'okubiri, era ne kaakano bwe ntyo nga ssiriiyo, mbagamba abo abaayonoona edda n'abalala bonna, nti bwe ndijja nate, ssirisaasira;
3 kubanga munoonya ekitegeeza nga Kristo ayogerera mu nze; atali munafu eri mmwe, naye alina amaanyi mu mmwe:
4 kubanga yakomererwa olw'obunafu, naye mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Kubanga naffe tuli banafu mu ye, naye tuliba balamu awamu naye olw'amaanyi ga Katonda eri mmwe.
5 Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza; mwekeme mwekka. Oba temwetegeera mwekka nga Yesu Kristo ali mu mmwe? wabula nga muli abatasiimibwa.
6 Naye nsuubira nga mulitegeera nga ffe tetuli batasiimibwa.
7 Era tusaba Katonda mmwe mulemenga okukola obubi bwonna; si ffe okulabika ng'abasiimibwa, wabula mmwe okukolanga obulungi ffe ne bwe tulibeera ng'abatasiimibwa.
8 Kubanga tetuyinza kuziyiza mazima, wabula okugayamba.
9 Kubanga tusanyuka ffe bwe tuba abanafu, nammwe bwe muba n'amaanyi: era na kino tukisaba, mmwe, okutuukirira.
10 Kyenvudde mpandiika ebyo nga ssiri eyo, bwe mbeera eyo nneme okuba omukambwe, ng'obuyinza bwe buli Mukama waffe bwe yampa olw'okuzimba, so si lwa kumenya.
11 Eky'enkomerero, ab'oluganda, mweraba. Mutuukirire; musanyusibwe; mulowooze bumu; mubeere n'emirembe: ne Katonda ow'okwagala n'emirembe anaabanga nammwe.
12 Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu.
13 Abatukuvu bonna babalamusizza.
14 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okwagala kwa Katonda, n'okusseekimu okw'Omwoyo Omutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.