2 Abakkolinso

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13


Essuula 5

1 Kubanga tumanyi nti, oba ng'ennyumba yaffe ey'ensiisira ey'omu nsi eryabizibwa, tulina eyazimbibwa eva eri Katonda, ennyumba etaazimbibwa na mikono, ey'emirenbe n'emirembe, ey'omu ggulu.
2 Kubanga tusindira mu eno, nga twegomba okwambazibwa ennyunba yaffe eriva mu ggulu:
3 bwe tulyambazibwa, mpozzi tuleme okusangibwa nga tuli bwereere.
4 Kubanga ffe abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa; si kubanga twagala okwambula, wabula okwambazibwa, ogwo ogufa gulyoke gumirwe obulamu.
5 Naye eyatukolera ekyo ye Katonda, eyatuwa omusingo ogw'Omwoyo.
6 Kyetuva tuguma omwoyo ennaku zonna, era tumanya nga bwe tuba mu mubiri tuba wala Mukama waffe
7 (kubanga tutambula olw'okukkiriza, si lwa kulaba);
8 tuguma omwoyo, era kino kye tusinga okwagala, okuba ewala omubiri n'okubeera Mukama waffe gy'ali.
9 Era kyetuva tufuba, oba nga tukyali muno, oba nga tuli wala, okusiimibwa ye.
10 Kubanga ffe fenna kitugwanira okulabisibwa Kristo w'alisalira emisango; buli muntu aweebwe bye yakola mu mubiri, nga bwe yakola, oba birungi oba bibi.
11 Kale, bwe tumanya entiisa ya Mukama waffe, tusendasenda abantu, naye tulabisibwa eri Katonda: era nsuubira nga tulabisibwa ne mu myoyo gyammwe.
12 Tetwetendereza nate eri mmwe, wabula okubawa mmwe kye munaasinziirangako okwenyumirizanga ku lwaffe, mulyoke mubenga n'eky'okubaddamu abeenyumiriza mu maaso, so si mu mutima.
13 Kuba oba nga tulaluse, tulaluse eri Katonda; oba nga twegendereza, twegendereza eri mmwe.
14 Kubanga okwagala kwa Kristo kutuwaliriza, nga tulowooza bwe tuti ng'omu yabafiirira bonna, bonna kyebaava bafa;
15 naye yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bw'oyo eyabafiirira n'azuukira.
16 Okusooka leero kyetuva tulema okumanya omuntu yenna mu mubiri: okumanya newakubadde nga twamanya Kristo mu mubiri, naye kaakano tetukyamumanya nate bwe tutyo.
17 Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya.
18 Naye byonna biva eri Katonda, eyatutabaganya naye yekka ku bwa Kristo, n'atuwa ffe okuweereza okw'okutabaganya; nti
19 Katonda yali mu Kristo ng'atabaganya ensi naye yennyini, nga tababalira byonoono byabwe, era nga yatuteresa ffe ekigambo eky'okutabaganya.
20 Kyetuva tubeera ababaka mu kifo kya Kristo, Katonda ng'afaanana ng'abeegayirira mu ffe: tubeegayirira mu kifo kya Kristo mutabagane ne Katonda.
21 Ataamanya kibi, yamufuula ekibi ku lwaffe; ffe tulyoke tufuuke obutuukirivu bwa Katonda mu ye.