-
1 Awo bwe yamala okwogerera ebigambo bye byonna mu bantu, n'ayingira e Kaperunawumu.
2 Awo waaliwo omwami w'ekitongole omuddu we gwe yali ayagala ennyo yali ng'alwadde ng'agenda kufa.
3 N'oyo bwe yawulira ebigambo bya Yesu n'atuma bakadde b'Abayudaaya gy'ali ng'amusaba okujja okulokola omuddu we.
4 Nabo bwe bajja eri Yesu, ne bamwegayirira nnyo, ne bagamba nti Asaanidde ggwe okumukolera ekyo;
5 kubanga ayagala eggwanga lyaffe, n'ekkuŋŋaaniro ye yalituzimbira.
6 Awo Yesu n'agenda nabo. Awo bwe yali nga tali wala n'ennyumba, omwami oyo n'atuma mikwano gye gy'ali, ng'amugamba nti Ssebo, teweeteganya kujja, kubanga nze sisaanira ggwe kuyingira wansi wa kasolya kange:
7 era kyenvudde nnema okwesaanyiza nzekka okujja gy'oli, naye yogera kigambo bugambo, n'omwana wange anaawona.
8 Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala: bwe ŋŋamba omu nti Genda, agenda, n'omulala nti Jjangu, ajja, n'omuddu wange nti Kola kino, akola.
9 Yesu bwe yawulira ebyo n'amwewuunya n'akyukira ebibiina ebyali bimugoberera n'agamba nti Mbagamba nti Sirabanga kukkiriza kunene nga kuno newakubadde mu Isiraeri.
10 Awo abantu abaatumibwa bwe baakomawo mu nnyumba, ne basanga omuddu ng'awonye.
11 Awo olwatuuka bwe waayitawo ebbanga ttono n'agenda mu kibuga ekiyitibwa Nayini; abayigirizwa be n'ekibiina kinene ne bagenda naye.
12 Awo bwe yasembera ku wankaaki w'ekibuga, laba, omulambo nga gufulumizibwa ebweru, gwa mwana nnyina gwe yazaala omu, ne nnyina oyo nga nnamwandu; n'abantu bangi ab'omu kibuga omwo nga bali naye.
13 Awo Mukama waffe bwe yamulaba n'amusaasira, n'amugamba nti Tokaaba.
14 N'asembera n'akoma ku lunnyo: bali abaali beetisse ne bayimirira. N'agamba nti Omulenzi, nkugamba nti Golokoka.
15 Oyo eyali afudde n'agolokoka, n'atuula n'atanula okwogera. N'amuwa nnyina.
16 Obuti ne bubakwata bonna, ne bagulumiza Katonda; nga bagamba nti Nnabbi omukulu ayimukidde mu ffe: era Katonda akyalidde abantu be.
17 N'ekigambo kye ekyo ne kibuna mu Buyudaaya bwonna ne mu nsi yonna eriraanyeewo.
18 Awo abayigirizwa ba Yokaana ne bamubuulira ebigambo ebyo byonna.
19 Yokaana n'ayita abayigirizwa be babiri n'abatuma eri Mukama waffe; ng'agamba nti Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala?
20 Awo abantu abo bwe baatuuka gy'ali, ne bagamba nti Yokaana Omubatiza atutumye gy'oli ng'agamba nti Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala?
21 Awo mu kiseera ekyo n'awonya bangi endwadde n'okubonaabona ne dayimooni, n'abazibe b'amaaso bangi n'abawa okulaba.
22 Yesu n'addamu n'abagamba nti Mugende, mubuulire Yokaana ebyo bye mulabye, ne bye muwulidde; abazibe b'amaaso balaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukira, abaavu babuulirwa enjiri.
23 Era alina omukisa oyo atalinneesittalako.
24 Awo ababaka ba Yokaana bwe baamala okugenda n'atanula okwogera n'ebibiina ebya Yokaana nti Kiki kye mwagenderera mu ddungu okulaba? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo?
25 Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba, abambala engoye ez'obuyonjo, abalya emmere ennungi, baba mu mpya za bakabaka.
26 Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi.
27 Oyo ye yawandiikibwako nti Laba, nze ntuma omubaka wange mu maaso go, Alirongoosa oluguudo lwo gy'ogenda.
28 Mbagamba nti Mu abo abazaalibwa abakazi, temuli asinga Yokaana obukulu: naye omuto mu bwakabaka bwa Katonda ye mukulu okusinga ye.
29 N'abantu bonna bwe baawulira n'abawooza ne bakkiriza Katonda okuba omutuukirivu abaabatizibwa mu kubatiza kwa Yokaana.
30 Naye Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka ne beegaanira okuteesa kwa Katonda kubanga tebaabatizibwa ye.
31 Kale abantu b'emirembe gino naabafaananya ki? era balinga ki?
32 Balinga abaana abatuula mu katale, nga bayitaŋŋana; abagamba nti Tubafuuyidde emirere ne mutazina; tukubye ebiwoobe, ne mutakaaba maziga.
33 Kubanga Yokaana Omubatiza yajja nga talya mmere so nga tanywa mwenge; ne mugamba nti Aliko dayimooni.
34 Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne mugamba nti Laba, omuntu omuluvu, omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi.
35 Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'abaana baago bonna.
36 Awo Omufalisaayo omu n'amuyita okulya naye. N'ayingira mu nnyumba ey'Omufalisaayo oyo n'atuula ku mmere.
37 Kale, laba, omukazi eyali mu kibuga omwo, eyalina ebibi, bwe yamanya ng'atudde ku mmere mu nnyumba ey'Omufalisaayo, n'aleeta eccupa ey'amafuta ag'omugavu,
38 n'ayimirira emirannamiro ku bigere bye ng'akaaba, n'atanula okumutonnyeza amaziga ku bigere bye n'abisangula n'enviiri ez'oku mutwe gwe, n'anywegera ebigere bye n'abisiiga amafuta ago.
39 Awo Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba, n'ayogera munda mu ye nti Omuntu ono, singa abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako bw'ali, era bw'afaanana, ng'alina ebibi.
40 Yesu n'addamu n'amugamba nti Simooni, ndiko kye njagala okukubuulira. N'agamba nti Omuyigiriza, yogera.
41 Waliwo omuntu eyawolanga, naye yalina b'abanja babiri; omu ng'abanjibwa eddinaali bitaano, n'omulala ataano.
42 Awo bwe baali nga tebalina kya kumusasula n'abasonyiwa bombi. Kale ku abo alisinga okumwagala aluwa?
43 Simooni n'addamu n'agamba nti Ndowooza oyo gwe yasinga okusonyiwa ennyingi: N'amugamba nti Osaze bulungi.
44 N'akyukira omukazi oyo, n'agamba Simooni nti Olaba omukazi ono? Nnyingidde mu nnynmba yo, n'otompa mazzi ga bigere byange: naye ono atonnyezza amaziga ge ku bigere byange, n'abisiimuuza enviiri ze.
45 Tonnywegedde ggwe: naye ono we nnaakayingirira tannalekayo kunywegera bigere byange.
46 Tonsiize mafuta ku mutwe gwange: naye ono ansiize amafuta ag'omugavu ku bigere byange.
47 Kyenva nkugamba nti Asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi; naye asonyiyibwa akatono, okwagala kwe kutono.
48 N'amugamba nti Osonyiyiddwa ebibi byo.
49 Awo abaali batudde ku mmere naye ne batanula okwogera bokka na bokka nti Ono y'ani asonyiwa n'ebibi?
50 N'agamba omukazi nti Okukkiriza kwo kukulokodde; genda mirembe.