Lukka

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24

  • 1 Awo Yesu bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu n'akomawo ng'ava ku Yoludaani, Omwoyo n'amutwala mu ddungu,
    2 n'amalayo ennaku amakumi ana, ng'akemebwa Setaani. So teyalyanga kintu mu nnaku ezo; awo bwe zaggwa, enjala n'emuluma.
    3 Setaani n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.
    4 Yesu n'amuddamu nti Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka.
    5 N'amulinnyisa; n'amulaga obwakabaka bwonna obw'omu nsi mu kaseera katono.
    6 Setaani n'amugamba nti Nnaakuwa ggwe obuyinza buno bwonna, n'ekitiibwa kyamu; kubanga nnaweebwa nze: era ngabira buli gwe njagala.
    7 Kale bw'onoosinza mu maaso gange, buno bwonna bunaaba bubwo.
    8 Yesu n'addamu n'amugamba nti Kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo, gw'oweerezanga yekka.
    9 N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya yeekaalu, n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, yima wano, weesuule wansi;
    10 kubanga kyawandiikibwa nti Alikulagiririza bamalayika be bakukuumire ddala;
    11 Era nti Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.
    12 Yesu n'addamu n'amugamba nti Kyayogerwa nti Tokemanga Mukama Katonda wo.
    13 Setaani bwe yamala buli kikemo n'amulekako ekiseera.
    14 Awo Yesu n'akomawo e Ggaliraaya mu maanyi ag'Omwoyo: ettutumu lye ne ligenda nga libuna mu nsi zonna eziriraanyeewo.
    15 N'ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe bonna nga bamutendereza.
    16 N'ajja e Nazaaleesi gye yakulira; ku lunaku olwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro nga bwe yali empisa ye, n'ayimirira okusoma.
    17 Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n'abikkula ekitabo, n'alaba ekitundu awaawandiikibwa nti
    18 Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, Kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu ebigambo ebirungi: Antumye okutendera abanyage okuteebwa, N'okuzibula abazibe b'amaaso, Okubata ababetentebwa,
    19 Okutendera omwaka gwa Mukama ogwakkirizibwa.
    20 N'abikkako ekitabo, n'akiddiza omuweereza n'atuula; abantu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro ne bamusimbako amaaso.
    21 N'atanula okubagamba nti Leero ebyawandiikibwa bino bituukiridde mu matu gammwe:
    22 Bonna ne bamutegereza, ne beewuunya olw'ebigambo eby'ekisa ebivudde mu kamwa ke: ne bagamba nti Ono si ye Mwana wa Yusufu?
    23 N'abagamba nti Temulirema kuŋŋamba lugero luno nti Omusawo, weewonye wekka: byonna bye twawulira nga bikolerwa e Kaperunawumu, bikolere na wano mu kyalo kyannyo.
    24 N'agamba nti Mazima mbagamba nti Tewali nnabbi akkirizibwa mu kyalo kyabo.
    25 Naye mazima mbagamba nti Waaliwo bannamwandu bangi mu Isiraeri mu biro bya Eriya, eggulu lwe lyaggalirwa emyaka esatu mu emyezi mukaaga, enjala nnyingi bwe yagwa ku nsi yonna;
    26 Eriya teyatumibwa eri omu ku bo wabula e Zalefasi, mu nsi ya Sidoni, eri omukazi nnamwandu.
    27 Era waaliwo abantu bangi abagenge mu Isiraeri mu biro bya Erisa nnabbi; tewali n'omu ku bo eyalongoosebwa, wabula Naamani yekka Omusuuli.
    28 Ne bajjula obusungu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro bwe baawulira ebigambo ebyo;
    29 ne bayimuka, ne bamusindikira ebweru w'ekibuga ne bamutwala ku bbanga ly'olusozi lwe baakubako ekibuga kyabwe, bamusuule wansi.
    30 Naye n'abayitamu wakati n'agenda.
    31 N'aserengeta e Kaperunawumu, ekibuga eky'e Ggaliraaya: n'abayigirizanga ku lunaku olwa ssabbiiti:
    32 ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe, kubanga ekigambo kye kyalina obuyinza.
    33 Awo mu kkuŋŋaaniro mwalimu omuntu eyaliko dayimooni; n'akaaba n'eddoboozi ddene
    34 nti Woowe, Otuvunaana ki ggwe, Yesu Omunazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nkumanyi ggwe bw'oli, Omutukuvu wa Katonda.
    35 Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti Sirika, muveeko. Dayimooni bwe yamusuula wakati n'amuvaako nga tamukoze kabi.
    36 Okuwuniikirira ne kubakwata bonna ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti Kigambo ki kino? kubanga alagira n'obuyinza n'amaanyi badayimooni ne bavaako.
    37 Ettutumu lye ne lyatiikirira mu buli kifo eky'ensi eriraanyeewo.
    38 N'ayimuka n'ava mu kkuŋŋaaniro n'ayingira mu nnyumba ya Simooni. Awo nnyina mukazi wa Simooni yali ng'akwatiddwa omusujja mungi, ne bamwegayirira ku lulwe.
    39 N'ayimirira w'ali, n'aboggolera omusujja; ne gumuwonako amangu ago n'agolokoka n'abaweereza.
    40 Awo enjuba bwe yali ng'egwa, bonna abaalina abalwadde ab'endwadde ezitali zimu ne babamuleetera, buli omu ku abo n'amussaako emikono gye, n'abawonya.
    41 Ne badayimooni ne babavaako bangi, ne bakaaba nga bagamba nti Ggwe oli Mwana wa Katonda: N'ababoggolera, n'atabaganya kwogera, kubanga baamanya nga Ye Kristo:
    42 Awo obudde bwe bwakya, n'avaayo n'agenda mu kifo etali bantu: ebibiina ne bimunoonya ne bajja w'ali, ne baagala okumugaana aleme okubavaako.
    43 Naye n'abagamba nti Kiŋŋwanidde okubuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala; kubanga kye kyantumya.
    44 Awo nabuuliranga mu makuŋŋaaniro g'e Ggaliraaya.