-
1 Awo olwatuuka bwe yali ng'ali mu kifo ng'asaba, bwe yamala, ku bayigirizwa be omu n'amugamba nti Mukama waffe, tuyigirize okusaba, era nga Yokaana bwe yayigirizanga abayigirizwa be.
2 N'abagamba nti Bwe musabanga, mugambanga nti Kitaffe, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje.
3 Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey'olunaku.
4 Era otusonyiwe ebyonoono byaffe; kubanga naffe tumusonyiwa buli gwe tubanja. So totutwala mu kukemebwa.
5 N'abagamba nti Ani ku mmwe alina ow'omukwano aligenda ewuwe ettumbi, n'amugamba nti Mukwano gwange, mpola emigaati esatu;
6 kubanga mukwano gwange azze, ava mu lugendo, nange sirina kya kussa mu maaso ge;
7 n'oli ali munda n'addamu n'agamba nti Tonteganya; kaakano oluggi luggale, abaana bange nange tumaze okwebaka, siyinza kugolokoka kukuwa?
8 Mbagamba nti Newakubadde nga tagolokoka n'amuwa kubanga mukwano gwe, naye olw'okutayirira kwe anaagolokoka n'amuwa byonna bye yeetaaga.
9 Nange mbagamba mmwe nti Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo.
10 Kubanga buli muntu yenna asaba aweebwa; n'anoonya alaba; n'eyeeyanjula aliggulirwawo.
11 Era ani ku mmwe kitaawe w'omuntu omwana we bw'alimusaba omugaati, alimuwa ejjinja? oba ekyennyanja, n'amuwa omusota mu kifo ky'ekyennyanja?
12 Oba bw'alisaba eggi, n'amuwa enjaba?
13 Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abamusaba.
14 Yali ng'agoba dayimooni omusiru. Awo dayimooni bwe yamuvaako, kasiru n'ayogera, ebibiina ne byewuunya.
15 Naye abamu ne bagamba nti Agoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.
16 N'abalala, ne bamwagaza akabonero akava mu ggulu, nga bamukema.
17 Naye ye, bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti Buli bwakabaka bwonna bwe bwawukanamu bwo bwokka buzikirira; n'ennyumba bw'eyawukanamu ennyumba eyo egwa.
18 Ne Setaani bw'ayawukanamu ye yekka, obwakabaka bwe buliyimirirawo butya? kubanga mugamba nti ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli.
19 Era oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? kyebaliva baba abalamuzi bammwe.
20 Naye bwe mba ngobesa dayimooni engalo ya Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde.
21 Omuntu ow'amaanyi ng'alina ebyokulwanyisa bw'akuuma oluggya lwe, ebintu bye bibeera mirembe:
22 naye amusinga amaanyi bw'amujjira n'amuwangula, amunyagako ebyokulwanyisa bye byonna bye yeesiga, n'agaba ebintu bye.
23 Ataba nange ye mulabe wange; era atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.
24 Dayimooni bw'ava ku muntu, ayita mu bifo ebitaliimu mazzi ng'anoonya aw'okuwummulira; bw'abulwa agamba nti Ka nzireyo mu nnyumba yange mwe nnava.
25 Bw'ajja, agiraba ng'eyereddwa etimbiddwa.
26 Kale agenda, n'aleeta badayimooni abalala musanvu, ababi okumusinga ye, ne bayingira ne babeera omwo: kale eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo bibeera bibi okusinga eby'olubereberye.
27 Awo olwatuuka ng'ayogera ebyo, omukazi ow'omu kibiina n'ayimusa eddoboozi lye n'amugamba nti Lulina omukisa olubuto olwakuzaala n'amabeere ge wayonkako.
28 Naye ye n'agamba nti Ekisinga, balina omukisa abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyekuuma.
29 Awo ebibiina bwe byali nga bikuŋŋaanira w'ali, n'atanula okugamba nti Emirembe gino mirembe mibi: ginoonya akabonero, so tegiriweebwa kabonero wabula akabonero ka Yona.
30 Kuba Yona nga bwe yali akabonero eri ab'e Nineeve, bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'aliba eri emirembe gino.
31 Kabaka omukazi ow'obukiika obwa ddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, alibasinza omusango: kubanga yava ku nkomerero z'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano.
32 Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'emirembe gino, baligisinza omusango: kubanga beenenya olw'okubuulira kwa Yona; era, laba, asinga Yona ali wano.
33 Tewali akoleeza ttabaaza n'agissa mu bunnya, oba munda w'ekibbo, wabula ku kikondo, abayingira balabe bw'eyaka.
34 Ettabaaza y'omubiri gwo lye liiso lyo; eriiso lyo bwe liraba obulungi, n'omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana; naye bwe liba ebbi, n'omubiri gwo nga gujjudde ekizikiza.
35 Kale weekuumenga omusana ogukulimu gulemenga okubeera ekizikiza.
36 Kale omubiri gwo gwonna bwe gujjula omusana, nga tegulina kitundu kimu kya kizikiza, gwonna gulijjula musana ng'ettabaaza bw'ekumulisiza n'okutangaala kwayo.
37 Awo bwe yali ng'ayogera, Omufalisaayo n'amuyita okulya emmere ewuwe: n'ayingira n'atuula ku mmere.
38 Omufalisaayo bwe yalaba, ne yeewuunya kubanga tasoose kunaaba nga tannalya.
39 Mukama waffe n'amugamba nti Mmwe Abafalisaayo munaaza kungulu w'ekikompe n'ow'ekibya; naye munda yammwe mujjudde obunyazi n'obubi.
40 Mmwe abasiru, oyo eyakola kungulu si ye yakola ne munda?
41 Naye ebiri munda mubiwengayo okuba eby'okusaasira; era, laba, byonna birongoofu gye muli.
42 Naye zibasanze mmwe, Abafalisaayo kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira n'akakubansiri n'enva zonna, naye omusango n'okwagala Katonda mubiyita bbali: ebyo kibagwanidde okubikolanga, na biri obutabirekangayo.
43 Zibasanze mmwe, Abafalisaayo! kubanga mwagala entebe ez'oku manjo mu makuŋŋaaniro n'okulamusibwa mu butale.
44 Zibasanze! kubanga mufaanana amalaalo agatalabika, abantu ge batambulirako nga tebagamanyi.
45 Awo omu ku bayigiriza b'amateeka n'addamu n'amugamba nti Omuyigiriza, bw'ogamba bw'otyo ovuma naffe.
46 N'agamba nti Nammwe, abayigiriza b'amateeka, zibasanze! kubanga mutikka abantu emigugu egiteetikkika, mmwe bennyini gye mutayagala kukomako na lunwe lwammwe.
47 Zibasanze! kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, naye bajjajjammwe be baabatta.
48 Bwe mutyo muli bajulirwa era musiima ebikolwa bya bajjajjammwe: kubanga bo baabatta, nammwe muzimba amalaalo gaabwe.
49 N'amagezi ga Katonda kyegaava gagamba nti Ndibatumira bannabbi n'abatume; abamu ku bo balibatta balibayigganya;
50 omusaayi gwa bannabbi bonna, ogwayiika okuva ku kutondebwa kw'ensi, gubuuzibwe eri emirembe gino;
51 okuva ku musaayi gwa Abbeeri okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w'ekyoto ne yeekaalu: mazima mbagamba mmwe nti Gulibuuzibwa eri emirembe gino.
52 Zibasanze mmwe, abayigiriza b'amateeka! Kubanga mwatwala ekisumuluzo eky'okutegeera: mmwe bennyini temwayingira, n'abaali bayingira mwabaziyiza.
53 Awo bwe yavaayo, abawandiisi n'Abafalisaayo ne batanula okumuteganya ennyo, n'okumukemereza ebigambo bingi;
54 nga bamutega, okutega ekigambo ekinaava mu kamwa ke, balyoke bamuwawaabire.