-
1 Awo oluvannyuma lw'ebyo Mukama waffe n'alonda abalala nsanvu, n'abatuma kinnababirye mu maaso ge okugenda mu buli kibuga na buli kifo gy'agenda okujja ye.
2 N'abagamba nti Okukungula kwe kungi, naye abakunguzi be batono: kale musabe Mukama w'okukungula okutuma abakunguzi mu kukungula kwe.
3 Mugende: laba, mbatuma mmwe ng'abaana b'endiga wakati mu misege.
4 Temutwala nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto; so temulamusa muntu mu kkubo.
5 Na buli nnyumba gye muyingirangamu, musookenga okugamba nti Emirembe gibe mu nnyumba muno.
6 Oba nga mulimu omwana w'emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku ye; naye oba nga si bwe kityo, ate ginaddanga gye muli.
7 Mubeerenga mu nnyumba omwo nga mulya nga munywa eby'ewaabwe, kubanga omukozi w'omulimu asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu okuyingira mu ndala.
8 Na buli kibuga kye mutuukangamu, ne babasembeza, mulyanga buli bye bassanga mu maaso gammwe;
9 muwonyenga abalwadde abalimu, mubagambenga nti Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde kumpi.
10 Naye buli kibuga kye mutuukangamu ne batabasembeza, mufulumanga mu nguudo zaakyo, mugambanga nti
11 N'enfuufu ey'omu kibuga kyammwe, etusaabaanye mu bigere, tugibakunkumulira mmwe; naye mutegeere kino ng'obwakabaka bwa Katonda busembedde.
12 Mbagamba mmwe nti Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku luli okukira ekibuga ekyo.
13 Zikusanze, Kolaziini! zikusanze, Besusayida kubanga, eby'amaanyi ebyakolerwa ewammwe singa byakolerwa e Ttuulo n'e Sidoni, singa beenenya dda nga batudde mu bibukutu n'evvu.
14 Naye Ttuulo ne Sidoni biriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okukira mmwe.
15 Naawe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu ggulu? olissibwa okutuuka e Magombe.
16 Abawulira mmwe, ng'awulira nze; era anyooma mmwe ng'anyooma nze; n'oyo anyooma nze ng'anyooma eyantuma.
17 Awo abo ensanvu ne bakomawo n'essanyu nga bagamba nti Mukama waffe, ne badayimooni batuwulira mu linnya lyo.
18 N'abagamba nti Nnalaba Setaani ng'avudde mu ggulu okugwa ng'okumyansa.
19 Laba, mbawadde obuyinza obw'okulinnyanga ku misota n'enjaba ez'obusagwa, n'amaanyi gonna ag'omulabe: so tewali kintu ekinaabakolanga obubi n'akatono
20 Naye ekyo temukisanyukira, kubanga badayimooni babawulira; naye musanyuke kubanga amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.
21 Awo mu ssaawa eyo n'asanyukira mu Mwoyo Omutukuvu n'agamba nti Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abakabakaba, n'obibikkulira abaana abato: weewaawo, Kitange; kubanga bwe kyasiimwa bwe kityo mu maaso go.
22 Byonna byampeebwa Kitange; tewali muntu amanyi Omwana bw'ali, wabula Kitaffe; newakubadde Kitaffe bw'ali, wabula Omwana, n'oyo Omwana gw'ayagala okumubikkulira.
23 N'akyukira abayigirizwa be n'abagamba kyama nti Galina omukisa amaaso agalaba bye mulaba:
24 kubanga mbagamba nti Bannabbi bangi ne bakabaka baayagalanga okulaba bye mulaba mmwe, ne batabiraba; n'okuwulira bye muwulira ne batabiwulira.
25 Kale, laba, omuyigiriza w'amateeka n'ayimirira ng'amukema ng'agamba nti Omuyigiriza, nkolenga ki okusikira obulamu obutaggwaawo?
26 N'amugamba nti Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Osoma otya?
27 N'addamu n'agamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna; ne muliraanwa wo nga ggwe bwe weeyagala wekka.
28 N'amugamba nti Ozzeemu bulungi; kola bw'otyo, onoobanga n'obulamu.
29 Naye ye obutayagala kuwangulukuka, n'agamba Yesu nti Muliraanwa wange ye ani?
30 Yesu n'addamu n'agamba nti Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng'aserengeta e Yeriko; n'agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba emiggo, ne bagenda ne bamuleka ng'abulako katono okufa.
31 Awo kabona yali ng'aserengetera inu kkubo eryo nga tamanyiridde; kale bwe yamulaba, n'amwebalama n'ayitawo.
32 N'Omuleevi bw'atyo bwe yatuuka mu kifo ekyo, n'amulaba, n'amwebalama n'ayitawo.
33 Naye Omusamaliya bwe yali ng'atambula, n'ajja w'ali: awo bwe yamulaba n'amukwatirwa ekisa,
34 n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu bye, ng'afukamu amafuta n'omwenge; n'amussa ku nsolo ye, n'amuleeta mu kisulo ky'abagenyi, n'amujjanjaba.
35 Awo bwe bwakya enkya n'atoola eddinaali bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba n'amugamba nti Mujjanjabe; n'ekintu kyonna ky'oliwaayo okusukkawo, bwe ndikomawo ndikusasula.
36 Kale olowooza otya, aluwa ku abo abasatu, eyali muliraanwa w'oyo eyagwa mu batemu?
37 N'agamba nti oli eyamukolera eby'ekisa. Yesu n'amugamba nti Naawe genda okole bw'otyo.
38 Awo bwe baali bagenda, n'ayingira mu kyalo: omukazi erinnya lye Maliza n'amusembeza mu nnyumba ye.
39 Naye yalina muganda we ayitibwa Malyamu, eyatuulanga awali ebigere bya Mukama waffe n'awuliranga ekigambo kye.
40 Naye Maliza yabanga n'emitawaana egy'okuweereza okungi; n'ajja w'ali, n'amugamba nti Mukama wange, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? kale mugambe annyambe.
41 Naye Mukama waffe n'addamu n'amugamba nti Maliza, Maliza, weeraliikirira, olina emitawaana egy'ebigambo bingi;
42 naye ekyetaagibwa kiri kimu: kubanga Malyamu alonzeewo omugabo ogwo omulungi ogutalimuggibwako.