-
1 Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ku mirembe gya Tiberiyo Kayisaali, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye wessaza ly'e Buyudaaya, ne Kerode bwe yali nga y'afuga e Ggaliraaya, ne Firipo muganda we bwe yali nga y'afuga Ituliya n'ensi ey'e Tirakoniti, ne Lusaniya bwe yali nga y'afuga Abireene;
2 ne Ana ne Kayaafa bwe baali nga be bakabona abasinga obukulu, ekigambo kya Katonda ne kijjira Yokaana omwana wa Zaakaliya, mu ddungu.
3 N'ajja mu nsi yonna eriraanye Yoludaani, ng'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggibwako ebibi;
4 nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo bya nnabbi Isaaya nti Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge.
5 Na buli lusozi n'akasozi biritereezebwa: N'ekikyamye kirigololwa, N'amakubo agatali masende galitereezebwa;
6 N'abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.
7 Awo n'agamba ebibiina ebyafulumanga okubatizibwa ye nti Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?
8 Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kwogera munda zammwe nti Tulina jjajjaffe ye Ibulayimu: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza amayinja gano okugafuuliranga Ibulayimu abaana.
9 Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti; kale buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, gusuulibwa mu muliro.
10 Ebibiina ne bamubuuza nga bagamba nti Kale tukole ki?
11 N'addamu n'abagamba nti Alina ekkanzu ebbiri, amuweeko emu atalina, n'alina emmere akole bw'atyo.
12 N'abawooza ne bajja okubatizibwa, ne bamugamba nti Omuyigiriza tukole ki?
13 N'abagamba nti Temusoloozanga kusukkiriza okusinga bwe mwalagirwa.
14 Era basserikale ne bamubuuza, nga bagamba nti Naffe tukole ki? n'abagamba nti Temujooganga muntu so temukakanga; era empeera yammwe ebamalenga.
15 Awo abantu bwe baali nga basuubira, era bonna nga balowooza ebigambo bya Yokaana mu mitima gyabwe oba nga mpozzi ye Kristo;
16 Yokaana n'addamu n'agamba bonna nti Mazima nze mbabatiza n'amazzi; naye ajja y'ansinga amaanyi, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ze: ye alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro:
17 olugali lwe luli mu mukono gwe, okulongoosa ennyo egguuliro lye, n'okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika lye; naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira.
18 Era n'ababuulirira ebirala bingi ng'abuulira abantu ebigambo ebirungi;
19 naye Kerode owessaza, bwe yamunenya olwa Kerodiya muka muganda we, n'olw'ebigambo ebibi byonna Kerode bye yakola,
20 ate ku ebyo byonna n'ayongerako kino, n'akwata Yokaana n'amussa mu kkomera.
21 Awo olwatuuka, abantu bonna bwe baali nga babatizibwa, ne Yesu bwe yamala okubatizibwa, bwe yasaba, eggulu ne libikkuka.
22 Omwoyo Omutukuvu n'akka ku ye mu kifaananyi eky'omubiri ng'ejjiba, n'eddoboozi ne lifuluma mu ggulu nti Ggwe mwana wange omwagalwa; nkusanyukira nnyo.
23 Era Yesu yennyini, bwe yasooka okuyigiriza, yali yaakamala emyaka ng'amakumi asatu nga ye mwana (nga bwe yalowoozebwa) owa Yusufu, mwana wa Eri,
24 mwana wa Mattati, mwana wa Leevi, mwana wa Mereki, mwana wa Yanayi, mwana wa Yusufu,
25 mwana wa Mattasiya, mwana wa Amosi, mwana wa Nakkumu, mwana wa Esuli, mwana wa Naggayi,
26 mwana wa Maasi, mwana wa Mattasiya mwana wa Semeyini, mwana wa Yoseki, mwana wa Yoda,
27 mwana wa Yokanaani, mwana wa Lesa, mwana wa Zerubbaberi, mwana wa Seyalutiyeeri, mwana wa Neeri,
28 mwana wa Mereki, mwana wa Addi, mwana wa Kosamu, mwana wa Erumadamu, mwana wa Eri,
29 mwana wa Yesu, mwana wa Eryeza, mwana wa Yolimu, mwana wa Mattati, mwana wa Leevi,
30 mwana wa Simyoni, mwana wa Yuda, mwana wa Yusufu, mwana wa Yoaamu, mwana wa Eriyakimu,
31 mwana wa Mereya, mwana wa Menna, mwana wa Mattasa, mwana wa Nasani, mwana wa Dawudi,
32 mwana wa Yese, mwana wa Obedi, mwana wa Bowaazi, mwana wa Salumooni,mwana wa Nakusoni,
33 mwana wa Amminadaabu, mwana wa Aluni, mwama wa Kezulooni, mwana wa Pereezi, mwana wa Yuda,
34 mwana wa Yakobo, mwana wa Isaaka, mwana wa Ibulayimu, mwana wa Teera, mwana wa Nakoli,
35 mwana wa Serugi, mwana wa Lewu, mwana wa Peregi, mwana wa Eberi, mwana wa Sera,
36 mwana wa Kayinaani, mwana wa Alupakusaadi, mwana wa Seemu, mwana wa Nuuwa, mwana wa Lameki;
37 mwana wa Mesuseera, mwana wa Enoki, mwana wa Yaledi, mwana wa Makalaleeri, mwana wa Kayinaani,
38 mwana wa Enosi, mwana wa Seezi, mwana wa Adamu, mwana wa Katonda.