Makko

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

  • 1 Awo bwe yafuluma mu yeekaalu, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti Omuyigiriza, laba, amayinja gano bwe gali, n'enzimba eno bw'eri.
    2 Yesu n'amugamba nti Olaba enzimba eno ennene? teririrekebwa wano jjinja eriri ku jjinja eritalisuulibwa wansi.
    3 Bwe yali atudde ku lusozi olwa Zeyituuni ng'ayolekedde yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama nti
    4 Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? n'akabonero ki ak'ebyo nga bigenda okutuukirizibwa byonna?
    5 Yesu n'asooka okubagamba nti Mwekuume, omuntu yenna tabakyamyanga.
    6 Bangi abalijja mu linnya lyange nga boogera nti Nze nzuuyo; era balikyamya bangi.
    7 Awo bwe muwuliranga entalo n'ettutumo ly'entalo; temweraliikiriranga: kibigwanira okubaawo; naye enkomerero ng'ekyali.
    8 Kubanga eggwanga lirirumba ggwanga linnaalyo, n'obwakabaka obw'akabaka bunnaabwo: walibaawo ebikankano mu bifo bingi; walibaawo enjala: ebyo lwe lubereberye lw'okulumwa.
    9 Naye mwekuume mwekka: kubanga balibawaayo mu nkiiko: mulikubirwa ne mu makuŋŋaaniro; era muliyimirira mu maaso g'abaamasaza ne bakabaka ku lwange, okubeera abajulirwa mu bo.
    10 Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna.
    11 Era bwe babatwalanga okubawaayo, temusookanga kweraliikirira bwe munaayogera: naye kyonna kyonna kye muweebwanga mu kiseera ekyo, ekyo kye mwogeranga, kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo Omutukuvu.
    12 Ow'oluganda anaawangayo muganda we okumutta, ne kitaawe w'omwana anaamuwangayo; abaana banaajeemeranga abaabazaala, banaabassanga.
    13 Munaakyayibwanga bonna olw'erinnya lyange: naye agumiikiriza okutuusa enkomerero oyo ye alirokoka.
    14 Naye bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza nnabbi Danyeri kye yayogerako nga kiyimiridde awatakisaanira (asomamu ategeere), kale abali mu Buyudaaya baddukire ku nsozi;
    15 ali waggulu ku nju takkanga, so tayingiranga kuggyamu kintu mu nju ye:
    16 n'ali mu lusuku taddanga kutwala lugoye lwe.
    17 Naye ziribasanga abali embuto; n'abayonsa mu nnaku ezo.
    18 Musabe bireme okutuukira mu biro eby'empewo.
    19 Kubanga ennaku ezo ziriba za kulabiramu nnaku, nga tezibangawo bwe zityi kasookedde Katonda atonda ebyatondebwa okutuusa kaakano, so teziriba.
    20 So singa Mukama teyasala ku nnaku ezo, tewandirokose mubiri gwonna: naye olw'abalonde be yalonda yazisalako ennaku.
    21 Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti Laba, Kristo ali wano; oba ali eyo; temukkirizanga:
    22 kubanga bakristo ab'obulimba ne bannabbi ab'obulimba baliyimuka, balikola obubonero n'ebyewuunyo, okukyamya, oba nga kiyinzika abalonde.
    23 Naye mwekuume mmwe: laba, mbabuulidde byonna nga tebinnabaawo.
    24 Naye mu nnaku ezo, okulaba ennaku okwo nga kuwedde, enjuba erizikizibwa n'omwezi tegulyaka musana gwagwo,
    25 n'emmunyeenye ziriba nga zigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galikankana.
    26 Kale ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu bire n'amaanyi amangi n'ekitiibwa.
    27 Awo n'alyoka atuma bamalayika be, alikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'eggulu.
    28 Era muyigire ku mutiini olugero lwagwo: ettabi lyagwo bwe ligejja n'amalagala ne gatojjera mutegeera ng'omwaka guli kumpi
    29 era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bituuse; mutegeere ng'ali kumpi, ku luggi.
    30 Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono okutuusa ebyo byonna lwe birituukirira.
    31 Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono.
    32 Naye eby'olunaku olwo oba ekiseera ekyo tewali amanyi, newakubadde bamalayika abali mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange.
    33 Mwekuumenga, mutunulenga, musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira.
    34 Ng'omuntu eyaleka ennyumba ye n'atambula mu nsi endala ng'awadde abaddu be obuyinza, buli muntu omulimu gwe n'alagira omuggazi okutunula.
    35 Kale mutunule: kubanga temumanyi mukama w'ennyumba w'alijjira, oba kawungeezi, oba ttumbi, oba ng'enkoko ekookolima, oba nkya;
    36 atera okujja amangu ago n'abasanga nga mwebase.
    37 Era kye mbagamba mmwe mbagamba bonna nti Mutunule.