-
1 Awo n'agolokoka n'avaayo, n'ajja mu mbibi ez'e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani: ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali nate; nga bwe yayisanga n'abayigiriza nate.
2 Awo Abafalisaayo ne bajja gy'ali, ne bamubuuza nti Kirungi omuntu okugobanga mukazi we? nga bamukema.
3 Naye n'addamu n'abagamba nti Musa yabalagira atya?
4 Ne bagamba nti Musa yakkiriza okuwandiikanga ebbaluwa ey'okugoba; alyoke agobebwenga.
5 Naye Yesu n'abagamba nti Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe kyeyava abawandiikira etteeka lino.
6 Naye okuva ku lubereberye lw'okutonda, yabatonda omusajja n'omukazi.
7 Omuntu kyanaavanga aleka kitame ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we;
8 nabo bombi banaabanga omubiri gumu: kale nga tebakyali babiri nate, wabula omubiri gumu.
9 Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.
10 Awo ate mu nnyumba abayigirizwa ne bamubuuza ekigambo ekyo.
11 N'abagamba nti Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we, n'awasa omulala, ng'ayenze okumusobya;
12 naye yennyini bw'anaanobanga ewa bba, n'afumbirwa omulala, ng'ayenze.
13 Awo ne bamuleetera abaana abato, okubakomako: abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta.
14 Naye Yesu bwe yalaba n'asunguwala, n'abagamba nti Mukkirize abaana abato bajje gye ndi; so temubagaana; kubanga abafaanana nga bano obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe:
15 Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono.
16 N'abawambaatira, n'abawa omukisa, ng'abassaako emikono.
17 Bwe yali ng'agenda mu kkubo, omu n'ajja gy'ali ng'addukana, n'amufukaamirira, n'amubuuza nti Omuyigiriza omulungi, naakola ntya okusikira obulamu obutaggwaawo? Yesu n'amugamba nti Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda.
18 Yesu n'amugamba nti Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda.
19 Omanyi amateeka, Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Tolyazaamaanyanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.
20 N'amugamba nti Omuyigiriza, ebyo byonna nnabikwata okuva mu buto bwange.
21 Yesu bwe yamutunuulira n'amwagala, n'amugamba nti Oweebuuseeko ekigambo kimu: genda otunde byonna by'oli nabyo, ogabire abaavu, naawe oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.
22 Naye n'atokooterera olw'ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde; kubanga yali alina ebintu bingi.
23 Awo Yesu ne yeetoolooza amaaso, n'agamba abayigirizwa be nti Nga kizibu abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
24 Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo bye. Naye Yesu n'addamu nate, n'abagamba nti Abaana, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
25 Kye kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okukira omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
26 Ne bawuniikirira nnyo, ne bamugamba nti Kale ani ayinza okulokoka?
27 Awo Yesu n'abatunuulira n'agamba nti Mu bantu tekiyinzika, naye si bwe kityo eri Katonda; kubanga byonna biyinzika eri Katonda.
28 Awo Peetero n'atanula okumugamba nti Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera.
29 Yesu n'agamba nti Mazima mbagamba nti Tewali eyaleka ennyumba, oba ab'oluganda, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba abaana, oba ebyalo, ku lwange n'olw'enjiri,
30 ataliweebwa emirundi kikumi mu biro bino ebya kaakano, ennyumba, n'ab'oluganda, ne bannyina ne bannyaabwe, n'abaana, n'ebyalo, n'okuyigganyizibwa; ne mu mirembe egigenda okujja obulamu obutaggwaawo.
31 Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.
32 Baali mu kkubo nga bambuka e Yerusaalemi; ne Yesu yali ng'abakulembedde, ne beewuunya, na bali abaagoberera ne batya: Awo nate n'atwala ekkumi n'ababiri, n'atanula okubabuulira ebigambo ebigenda okumubaako, nti
33 Laba, twambuka e Yerusaalemi; Omwana w'omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n'abawandiisi; balimusalira omusango okumutta, balimuwaayo eri ab'amawanga:
34 balimuduulira, balimuwandira amalusu, balimukuba, balimutta; bwe waliyitawo ennaku essatu alizuukira.
35 Awo Yakobo ne Yokaana, abaana ba Zebbedaayo, ne basembera w'ali, ne bamugamba nti Omuyigiriza, twagala otukolere kyonna kyonna kye tunaakusaba.
36 N'abagamba nti Mwagala mbakolere ki?
37 Ne bamugamba nti Tuwe tutuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu kitiibwa kyo.
38 Naye Yesu n'abagamba nti Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe kye nnywako nze? oba okubatizibwa n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze?
39 Ne bamugamba nti Tuyinza. Yesu n'abagamba nti Ekikompe nze kye nnywako mulinywako; n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze mulibatizibwa;
40 naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku gwa kkono, si nze nkugaba, naye kw'abo be kwategekerwa.
41 Awo ekkumi bwe baawulira, ne batanula okusunguwalira Yakobo ne Yokaana.
42 Yesu n'abayita, n'abagamba nti Mumanyi ng'abo abaalowoozebwa okufuga ab'amawanga babafuza amaanyi; n'abakulu baabwe babatwala lwa mpaka.
43 Naye mu mmwe tekiri bwe kityo: naye buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe;
44 na buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wa bonna.
45 Kubanga mazima Omwana w'omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe okununula abangi.
46 Awo ne batuuka e Yeriko: bwe yava mu Yeriko n'abayigirizwa be, n'ekibiina kinene, omwana wa Timaayo, Batiimaayo, omusabi omuzibe w'amaaso, yali atudde ku mabbali g'ekkubo.
47 Awo bwe yawulira nga Yesu Omunazaaleesi ye wuuyo, n'atanula okwogerera waggulu n'okugamba nti Omwana wa Dawudi, Yesu, onsaasire.
48 Bangi ne bamuboggolera okusirika: naye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Omwana wa Dawudi, onsaasire:
49 Awo Yesu n'ayimirira n'agamba nti Mumuyite. Ne bayita omuzibe w'amaaso, ne bamugamba nti Guma omwoyo; golokoka, akuyita.
50 Naye n'asuula olugoye lwe, n'asituka, n'ajja eri Yesu.
51 Yesu n'amuddamu, n'agamba nti Oyagala nkukole ntya? Omuzibe w'amaaso n'amugamba nti Labooni, njagala nzibule.
52 Awo Yesu n'amugamba nti Genda; okukkiriza kwo kukuwonyezza. Amangu ago n'azibula, n'amugoberera mu kkubo.