Makko

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

  • 1 Awo amangu ago bwe bwakya enkya, bakabona abakulu n'abakadde n'abawandiisi n'ab'omu lukiiko bonna ne bateesa, ne basiba Yesu, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato.
    2 Awo Piraato n'amubuuza nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya? Bwe yaddamu n'amugamba nti Ggwe oyogedde.
    3 Awo bakabona abakulu ne bamuloopa ebigambo bingi.
    4 Awo Piraato n'amubuuza nate, ng'agamba nti Toyanukula n'akatono? laba ebigambo bingi bye bakuloopa.
    5 Naye Yesu n'ataddamu nate kigambo; Piraato n'okwewuunya ne yeewuunya.
    6 Awo ku mbaga yabateeranga omusibe omu gwe baamusaba.
    7 Awo waaliwo omu ayitibwa Balaba, eyasibibwa n'abo abaajeema abatta abantu mu kujeema okwo.
    8 Awo ekibiina ne kirinnya ne kitanula okumusaba okubakola nga bwe yabakolanga.
    9 Awo Piraato n'abaddamu, ng'agamba nti Mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?
    10 Kubanga yategeera nga bakabona abakulu baamuweesezzaayo buggya.
    11 Naye bakabona abakulu ne baweerera ekibiina nti Balaba gw'aba abateera.
    12 Awo Piraato n'addamu nate n'abagamba, nti Kale nnaamukola ntya gwe muyita Kabaka w'Abayudaaya?
    13 Awo ne boogerera waggulu nate nti Mukomerere.
    14 Awo Piraato n'abagamba nti Kazzi kibi ki ky'akoze? Naye ne beeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Mukomerere.
    15 Awo Piraato bwe yali ayagala okusanyusa ekibiina, n'abateera Balaba, n'awaayo Yesu okukomererwa ng'amaze okumukuba.
    16 Awo basserikale ne bamutwala munda mu luggya oluyitibwa Pulayitoliyo; ne bayita ekitongole kyonna okukuŋŋaana.
    17 Ne bamwambaza olugoye olw'effulungu. Ne baluka engule ey'amaggwa ne bagimutikkira;
    18 ne batanula okumulamusa nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!
    19 Ne bamukuba olumuli mu mutwe, ne bamuwandira amalusu, ne bafukamira, ne bamusinza.
    20 Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu olugoye olw'effulungu, ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala ne bamufulumya okumukomerera.
    21 Ne bawaliriza omuntu eyali ayita, Simooni ow'e Kuleene, ng'ava mu kyalo, kitaawe wa Alegezanda ne Luufo, okugenda nabo okwetikka omusalaba gwe.
    22 Ne bamuleeta mu kifo Gologoosa, okutegeezebwa kwakyo nti Kifo kya kiwanga.
    23 Ne bamuwa omwenge ogutabuddwamu envumbo: naye ye n'atagukkiriza.
    24 Awo ne bamukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga babikubirako obululu; buli muntu ky'anaatwala.
    25 Awo essaawa zaali ziri ssatu, ne bamukomerera.
    26 Awo ebbaluwa ey'omusango gwe n'ewandiikibwa waggulu nti KABAKA W'ABAYUDAAYA.
    27 Era n'abanyazi babiri ne babakomerera wamu naye; omu ku mukono gwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono.
    28 Olwo ekyawandiikibwa ne kituukirira, ekigamba nti N'abalirwa awamu n'abasobya:
    29 Awo abaali bayita ne bamuvuma nga banyeenya emitwe gyabwe, nga bagamba nti So, ggwe amenya yeekaalu n'ogizimbira ennaku essatu,
    30 weerokole, ove ku musalaba.
    31 Era bakabona abakulu ne baduula bwe batyo n'abawandiisi bokka na bokka ne bagamba nti Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka.
    32 Kristo Kabaka wa Isiraeri ave kaakano ku musalaba, tulyoke tulabe tukkirize. Ne bali abaakomererwa naye ne bamuvuma.
    33 Awo essaawa bwe zaali ziri mukaaga ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa ku ssaawa ey'omwenda.
    34 Awo mu ssaawa ey'omwenda Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene nti Eroi, Eroi, lama sabakusaani? okutegeezebwa kwakyo nti Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?
    35 Awo abamu ku abo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti Laba, ayita Eriya.
    36 Awo omu n'addukana, n'annyika ekisuumwa mu nvinnyo enkaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amuwa okunywa, ng'agamba nti Leka tulabe nga Eriya anajja okumuwanula.
    37 Awo Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene n'awaayo obulamu.
    38 Awo n'eggigi ly'omu yeekaalu ne liyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi.
    39 Awo omwami w'ekitongole eyali ayimiridde awo ng'amwolekedde bwe yalaba ng'awaddeyo obulamu bw'atyo, n'agamba nti Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda.
    40 Era waaliwo walako abakazi nga balengera: mu abo waaliwo ne Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose, ne Saalome;
    41 abo bwe yali mu Ggaliraaya be baayitanga naye nga bamuweereza; n'abakazi abalala bangi abaalinnya naye e Yerusaalemi.
    42 Awo bwe bwawungeera, kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, lwe lunaku olusooka ssabbiiti,
    43 Yusufu ow'e Alimasaya, omukulu ateesa ow'ekitiibwa, era eyasuubiranga yennyini obwakabaka bwa Katonda; n'aguma n'ayingira eri Piraato nga tatya, n'asaba omulambo gwa Yesu.
    44 Awo Piraato ne yeewuunya bw'afudde amangu, n'ayita omwami w'ekitongole n'amubuuza oba ng'ekiseera kiyiseewo yaakafiira.
    45 Awo bwe yakiwulira okuva eri omwami, n'awa Yusufu omulambo.
    46 Ye n'agula olugoye olw'ekitaani, n'amuwanula, n'amuzinga mu lugoye olw'ekitaani olwo, n'amussa mu ntaana eyasimwa mu lwazi, n'ayiringisiza ejjinja ku mulyango gw'entaana.
    47 Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yose ne balaba we yateebwa.